
Bya Benjamin Ssebaggala
ABASUUBUZI abakolera okuliraana enkulungo e Nakulabye bakedde kukulukusa maziga oluvannyuma lwa nnabbambula w'omuliro okusanyaawo obuduuka n'emidaala gyaabwe mu kiro ekikeesa Olwokubiri emmaali yaabwe n'eteta.
Abaafiiriziddwa ebyabwe kuliko obuduuka bw’engoye, ssaaluuni, ebirabo by’emmere n'obuduuka obutunda cakalacakala era omuntu omu eyabadde mu dduuka n'asimattuse okufiiramu abadduukirize bwe baamenye oluggi ne bamutaasa.
Omuliro gwakutte mu kiro ekikeesa Olwokubiri ku ssaawa 7:00 nga we gwatandikidde amasannyalaze tegaabaddeko. Abantu baategeezezza nti kyandiba ng'omuliro gwavudde ku bafumbira emmere mu kifo kino okulekeko essigiri nga zaaka.
Abadduukirize ne poliisi nga bazikiriza omuliro Ekif.Benjamin Ssebaggala
William Kizito omu ku baasoose mu kifo yategeezezza nti baalengedde omuliro nga gwaka kwe kusembera baagenze okutuukawo ng’ennimi z’omuliro zifuuwa okuva mu kirabo ky’emmere.
Poliisi n'abadduukirize nga balwanagana omuliro Ekif.Benjamin Ssebaggala
Emmanuel Mugisha eyasimattuse omuliro yategeezezza nti yabadde yakeebaka ng’amasannyalaze tegaliiko kwe kuwulira ekiziyiro n'asituka kyokka nga takyasobola kulaba mulyango gumufulumya olw'omukka omungi era abadduukirize be baamenye oluggi okumutaasa.
Abamu ku baafiiriddwa ebyabwe nga balwanagana n'omuliro, Ekif.Benjamin Ssebaggala
Poliisi ezikiza omuliro we yatuukidde ng’abadduukirize bakola ekisoboka okuzikiriza omuliro obutakwatiramu bizimbe ebiriraanyeewo.
Mugisha eyasimattuse ng'akuuma ebintu bye yataasizza, Ekif.Benjamin Ssebaggala
Abamu beefudde abadduukirize ne bayingira akaduuka ka Havana aka Mobile money ne babbamu ‘airtime’ ne ssente enkalu ezitategeerekese muwendo.
feg