Bya ANTHONY SSEMPEREZA NE VIVIAN NANKYA
Emyaka 30 mu bufumbo naye laba ebyokufuna bwe bibatabudde omu n’atuuka n’okuyita munne omupakasi gw’asasula amukolere emirimu gye!
Abagagga b’e Katwe abamaze emyaka egisoba mu 30 nga bafumbo era nga balina abaana bataano batabuse, omusajja bw’akizudde nti ebyobugagga bye byonna omukazi yabissa mu mannya ge era nga kati abimugobamu. Ssemaka ono agamba nti abadde nkubakyeyo nga ssente z’akola aziweereza mukyalawe agulemu ebintu nga ebizimbe n’ettaka. Kyokka ye omukyala agamba nti ebintu bibye era ono omwami abadde mukoziwe nga ye (omukazi) y’amutuma ebweru agende akube ekyeyo.
Abafumbo bano abatuuze b’e Namasuba bamaze e yezi mukaaga nga balina obutakkaanya obwavaako n’okwawukana. Omwami ye Haji Nasifu Nsubuga ate mukyalawe ye Hajati Madiina Nsubuga akola omulimu ogw’okutunda obutimba bw’ebyennyanja n’ebirala ku Bus Terminal mu Kampala.
Haji Nasifu Nsubuga atutte omusango ku poliisi y’e Katwe oguli ku fayiro SD:50/30/12/11 ng’agamba nti mukyalawe Madiina Nsubuga yeefunza emmaali ye yonna n’aleeta ne bakanyama ne batikka ebintu bye byonna eby’omu nnyumba.
Haji Nsubuga gwe balangidde obupakasi.
Haji Nsubuga annyonnyola:
Nzize nninnya mukyala wange Hajati Madiina Nsubuga akagere okuva lwe yatikka ebintu byange byonna mu nnyumba, ne nkizuula nti aliko akazigo k’omusajja Muhammed Kaggwa e Bukesa gye yabissa ate ng’ono yali mukozi waffe okumala ebbanga.
Ebyobugagga bino tubikoledde ebbanga lya myaka 30 okuva lwe namuwasa okuva e Ruharwe e Mbarara. Namwanjula ne mmuwoowa n’abajulizi bonna mbalina ku nsonga eyo era n’amahare agaali ag’ensimbi mu biseera ebyo nagawaayo wadde nga tezaali nnyingi kubanga n’embeera yange teyali nnungi.
Ensimbi ze twasooka okusuubulamu mmange yampa ekyalaani ekitunga amaliba ne nkitunda ne nfuna kapito eyannyamba ne ntandika okugenda e Tanzania okusuubula. Mbaddenga nsuubula ebintu ng’omukyala y’abitunda.
Bizinensi bw’egenze egaziwa ne ntandika okusuubula emitala w’amayanja era nga bwe mbeera eyo ne mpereeza emmaali eri Hajati era nga buli kintu ky’agenda okukola anneebuuzaako ne mmugamba nti ekyo kigule. Oluvannyuma nakizuula nti, ebintu byonna bye tugula abiteeka mu mannya ge yekka.
Kino saasooka kukitwala nga ekikulu kubanga namanya nti yekka gwe nninamu abaana ng’ebyobugagga bino by’abaana baffe kyokka kyambuuseeko ng’atandise okwagala okutunda ebintu ebyatutuuyanyanga. Mu kiseera kino abaana bange basula mu mikwano gyabwe kubanga amaka gaffe baagatugobamu nga Hajjati agatunze, kino sisobola kukikkiriza”.
Nnyazaala ayogedde
Haji Nasifu ng’ennaku ejula okumutta aleese ne nnyina okuwa poliisi obujulizi okukakasa byonna by’ayogera ku Hajati we Madiina.
Nnyina wa Nasifu agamba nti mutabani we okuwasa omukazi ono yali akyabeera waka era yali asula mu muzigo gumu n’abalekera omuzigo omulala baggyengamu ensimbi zibayambenga. Kuno kwe yagatta ekyalaani kye ekyatunganga amaliba kye yabawa ne bakitunda olwo ne basobola okuggyamu ensimbi ezaabayamba okutandika okusuubula e Tanzania. Agamba bino byonna yabigattako okubawa poloti mwe baazimba agamu ku mayumba mu kiseera kino agalimu abapangisa era ng’omukazi y’abadde agasoloozangamu ensimbi.
Hajati akwatibwa
Poliisi yakutte Hajati nga yamusanze ku Shell y’e Kibuye kyokka yasoose kwesibira mu mmotoka ye n’agaana omuserikale yenna okumukwatako. Yagenze okulaba ng’abantu batandise okukung’aana kwe kukkiriza n’aggulawo oluggi lwa mmotoka olwo n’atwalibwa ku poliisi n’emuggalira okumala essaawa nnya. Yasoose kugaana kukola sitatimenti kyokka poliisi n’emugamba nti tebasobola kumuwa bond nga tannaba kugikola.
Hajati yalabiseeko ku poliisi ng’azze okweyanjula ogwokubiri ng’ali n’omusajja Kaggwa agambibwa nti ye bba era n’akakasa Haji Nasifu nti ono ye bba gw’alina kati nti ye takyayagala kumanya bimukwatako wadde okumuwuliza kubanga mu kiseera kino akimanyi nti ayagala kumubbako bintu bye, era nti Haji yali mupakasi we nga gw’atuma ebintu emitala w’amayanja.
Hajati olwamubuuziza abaana gye yabateeka yagambye nti, mu kiseera kino abaana bonna buli omu asula wa mukwano gwe era nti ky’ekimu ku byamuggyisa ebintu mu nnyumba asobole okugitunda era anoonya baguzi nga ne Haji Nasifu alina okuvaamu anoonye gy’asula.
Akulira poliisi e Katwe Apolo Kateeba agamba ensonga z’abafumbo bano bagenda kuziweereza mu kkooti.
Agamu ku mayumba g'abapangisa agaleese obuzibu.
Ebyobugagga ebibatawaanya
Ebimu ku byobugagga abafumbo bano bye balina mwe muli ekizimbe kya Madiina Investment, amayumba g’abapangisa agasangibwa e Namasuba, kalina eriraanye we babeera ne bizinensi ku Bus terminal.
Haji Nasifu yagambye nti, ensonga azitwala mu kkooti kubanga ebintu yabituuyanira omukazi tasobola kumala gabitwala ate n’abissaamu omusajja abadde omupakasi waabwe.
“Kati nze gw’afudde omupakasi we kino sisobola kukikkiriza, ate alina okukimamya nti ebyo by’aliko ‘Allah’ tabikkiriza kubanga ekyo ky’akola kati eba ‘Zinah’ bwenzi.
Oli mupakasi bupakasi Hajati alangidde bba lwa bintu