
Bya Robert Mutebi
EMBEERA y’omubaka Nabilah Naggayi Sempala ow’abakyala mu Kampala ekyali mbi era abasawo bategeezezza nga bwe bategeka okumuzzaayo mu byuma okumukebera n’okumukuba ebifaananyi bazuule obuzibu we buva.
Nabilah ku Lwokutaano akawungeezi mmotoka ye mwe yabadde ng’ayisa ebivvulu yatomereganye n’eza poliisi bbiri ezaabadde zimutangira okweyongerayo mu kibuga ng’ayisa ebivvulu, ye ne banne abeegattira mu mukago gwa A4C bwe baabadde bava mu lukung’aana lwe baakubye mu kisaawe e Wankulukuku.
Akabenje kano kaaguddewo mu bitundu by’e Mengo ku luguudo lwa Namirembe mmotoka za poliisi bbiri ezaabadde zirondoola Nabilah ne Dr. Kiiza Besigye bwe zeekiise mu maaso ga mmotoka omwabadde omubaka Nabilah nga zigezaako okumutangira okuyingira mu kibuga olwo ne zitomera eya Nabilah.
Nabilah yakoonye ekifuba ku mmotoka oluvannyuma n’atalantuka n’akuba omutwe ku mmotoka mwe yabadde n’addusibwa mu ddwaaliro lya Kampala Internatioanl Hospital ng’ali mu mbeera mbi.
Omusasi we yatuukidde mu ddwaaliro nga Nabilah tasobola kwogera wadde okutunula kyokka mugandawe ali ku gw’okumulabirira n’ategeeza nga okuva lwe baatandise okumukolako bw’atannaba kutereera wadde okuddamu okutunula. Abadde akyalumizibwa nnyo mu kifuba ne mu mutwe era nga tannaba kudda ngulu kubanga tayogera wadde alinga awulira era tatunula,” bwe yategeezezza.
Bo abasawo mu ddwaaliro lino baategeezezza nga bwe bakyalindako eddagala lye baawadde Nabilah likendeereko balyoke baddemu okumwekebejja.
Atwala poliisi mu Kampala n’emiriraano, Felix Kaweesi yategeezezza Bukedde Ku Ssande nti mmotoka ya Nabilah mwe yabadde ye yatomedde eyaabwe ekyavuddeko akabenje kano.
Omubaka Nabilah ali mu mbeera mbi