TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Tullow basabye omusango ogubavunaanwa gugobwe

Aba Tullow basabye omusango ogubavunaanwa gugobwe

Added 31st January 2012

KKAMPUNI ya Tullow oil esabye kkooti enkulu okugoba omusango ogwatwalibwayo munnamateeka Hamada Mulumba ayagala eyimirize gavumenti okussa mu nkola endagaano ze yakola nayo ez’okusima amafuta.

Bya Prossy Nanziri

KKAMPUNI ya Tullow oil esabye kkooti enkulu okugoba omusango ogwatwalibwayo munnamateeka Hamada Mulumba ayagala eyimirize gavumenti okussa mu nkola endagaano ze yakola nayo ez’okusima amafuta.

Mulumba yatwala Tullow mu kkooti ng’agamba nti layisinsi y’okusima amafuta  yagiwebwa mu bukyamu, kubanga gavumenti teyagoberera mateeka agafuga okugula n’okutuuda ebintu bya gavumenti.

Kyokka mu kwewozaako aba Tullow bagamba nti amateeka agafuga okugula n’okutunda ebintu bya gavumenti si ge gagoberera mu bya wooyiro, nga  byo bifugibwa tteeka erikwata ku wooyiro.

Gavumenti tennasaayo kwewozaako kwayo, naye Mulumba asabye kkooti eyimirize endagaano zonna okugenda mu maaso okutuusa ng'emalirizza okuwulira omusango guno.

Omusango guwulirwa nga March 5 mu maaso g’omulamuzi Eldad Mwangushya.

gfb

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...