TOP

Abadde afera ab'e Kyebando mukwate

Added 14th February 2012

OMUSAJJA eyabadde yeefudde omukozi wa disitulikiti asolooza empooza ku maduuka yawonye okugajambulwa abatuuze oluvannyuma lw’omusuubuzi omu okugaana okumuwa ssente ng’alemereddwa okukakasa nti ava mu kitongole ekisolooza emisolo.

Bya Job Nantakiika

OMUSAJJA eyabadde yeefudde omukozi wa disitulikiti asolooza empooza ku maduuka yawonye okugajambulwa abatuuze oluvannyuma lw’omusuubuzi omu okugaana okumuwa ssente ng’alemereddwa okukakasa nti ava mu kitongole ekisolooza emisolo.

Dickson Mubiru omutuuze w’e Nansana mu Wakiso ye yawonye okuttibwa abantu abaamuguddemu nti mufere. Mubiru yakedde ku dduuka eritunda  amata e Mutuyannye mu Wakiso  n’ategeeza  gwe yasanzeemu nti asolooza mpooza ku maduuka.

Yamuwadde  lisiiti ya 10,000/- n’amutegeeza nga bwe baabadde tebalinawo ssente mu kiseera ekyo n’amugamba addeyo akawungeezi.

Akawungezi, Mubiru  yazzeeyo okukima ssente era omusuubuzi yamuwadde akatebe munda mu dduuka ye n’agenda  ayita abatuuze nti alina omufere eyabadde amuzinze. Abatuuze baagenze ku dduuka lino ne batandika okumukuba okutuusa poliisi y’e Kyebando bwe yazze okumutaasa.

Mubiru yategeezezza nti yaakamala emisomo gye mu Yunivasite e Makerere wabula embeera embi ye yamuwalirizza okukola ekikolwa kino. Yatwaliddwa ku poliisi y’e Kyebando.

Mu kifaananyi, Mubiru (ku kkono) nga bamutwala ku poliisi. 

Kigambibwa nti Mubiru yafeze abantu abawera  e Mutuyannye ne Kyebando okuli omukazi eyitibwa nga maama Abbey ow’ e Kyebando atunda mata ng’ono yamuggyeko 10,000/-.

Maama Abbey yagambye nti Mubiru yasoose kutambula ku kyalo ng’ayambadde ekyambalo kye batikiramu abayizi abamaze emisomo oluvannyuma n’akiggyamu n’atandika okutambula nga bwabasolozaamu ssente.

Abadde afera ab’e Kyebando mukwate

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmanuel Sserunjogi meeya we Kawempe.

'Gavt enoonyereze ku nfa ya...

MEEYA w'e Kawempe asabye gavumenti okunoonyerezza ku ngambo eziyitingana ku nfa ya Ssaabasumba n'okulekulira kwa...

Lumu omusomesa w'e Gayaza ng'ayimba.

Omusomesa w'e Gayaza Junior...

  Omusomesa wa Gayaza Junior School   Richard Lumu ayiiyiiza oluyimba olukungubagira Ssaabasumba Cyprian Kizito...

Fr.Sserugga ng'abatiza omwana.

'Mwegendereze amannya ge mu...

Abazadde bakubiriziddwa bulijjo okubeera  abegendereza ennyo ku mannya ge batuuma abaana baabwe beewale okumala...

Omulabirizi Tamale n'abamu ku bannaddiini mu kusaba kwa Paasika.

Okufa kwa Ssaabasumba kutuk...

OMULABIRIZI wa West Buganda, Rt. Rev Henry Katumba Tamale ye yakulembeddemu okusinza kwa Paasika mu Lutikko ya...

Ssaabasumba Jonah Lwanga ng'asaba ku Paasika.

Eklesia y'Abasodokisi mu Ug...

EKLESIA y'Abasodokisi mu Uganda esabidde Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng'Obuganda bw'etegekera okujaguza amazaalibwa...