
Bya Benjamin Ssebaggala
ABASUUBUZI n’abatuuze mu Kasule Zooni e Katwe n’abaliraanyewo poliisi be yakubyemu ttiyaggaasi ng’egumbulula abakabiina ka A4C n’abawagizi baabwe ku Lwokubiri bakyasinda obuvune bwe baafunye ng’omukka ogubalagala gubayingidde.
Abamu baafunye obuzibu mu kussa, abalala amaaso gakyababalagala. Tutunuulidde obutabanguko obulala wamu n’engeri poliisi gy’ezze egumbululamu abawagizi mu nkung’aana ez’enjawulo.
EBITUNDU EBIRALA AWABADDE AKAVUYO:
Wiiki ewedde e Mubende poliisi yakubye omukka mu bantu okubagumbulula nga bawerekera Besigye ne banne era kigambibwa nti waliyo abaalumiziddwa, e Kawempe kigambibwa nti abantu basatu be baalumizibwa okuli: Martin Byomuhangi, Yusufu Matovu ne Mutyabula Kayondo.
Kireka olukung’aana lwaggwa abantu ne bawerekera Besigye ne babakubamu ttiyaggaasi e Banda poliisi n’ezingiza Besigye ku URA e Nakawa ng’emugaana okuyita mu kibuga wakati. Namung’oona olukung’aana olwaggwa Besigye n’atambula okudda e Kasubi ng’ali n’abantu poliisi kye yagaana n’ekuba omukka n’amasasi n’ayitira ku Northern Bypass.
Aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi yagambye nti poliisi bw’erabula abantu bave mu kifo ne bagaana oli ne bw’aba w’asula bw’afiira mu kavuyo poliisi tevunaanyizibwa.
“Bannabyabufuzi balwanyisa etteeka erifuga enkung’aana kuba likirambika bulungi nti omuntu yenna ategeka olukung’aana bwe lumulema okutereeza abantu abafiirwa ebyabwe abeera avunaanyizibwa okubaliyirira” Kaweesi bwe yaggumizza.
Abantu kye bagamba
Ssenga Mariam alina akaduuka ku kasaawe: Bwe nnalabye embeera etandise okutabuka ne neggalira mu kaduuka kange naye akakebe ka ttiyaggaasi baakasudde ku mulyango ne nziyirira munda. Kati mpulira okulumizibwa mu kifuba. Mbeera awo ne mpulira ng’olususu lumbalagala.
Mercy Namukwaya wa ku kasaawe e Katwe: Omukka gukuyingira mu maaso ne gaziba, ennyindo ne zizibikira n’ekifuba okutandika okuzitowa kati nze nnafunye obuzibu mu kussa mpulira nkaluubirirwa. Nsaba bannaffe enkung’aana bazikube awalala kubanga poliisi olwakubye omukka Besigye ne bamuyoola okumuteeka mu mmotoka ffe abanaku batuleka nga tutaawa.
Jamirah Nabbanja ow’e Katwe: Nze nnakolodde nnyo mu bwangu ne nfunirawo ssennyiga akyannuma okutuusa olwaleero kyokka abaserikale olwamaze okukuba omukka mu bantu ne balyoka beeyongerayo. Ffe tukyali mu kubonaabobona.
Jariya Nakate alina akaduuka ku kasaawe e Katwe:Ttiyaggaasi yannyingidde mu maaso ne gannuma okutuusa we nneebakidde naye kati mpulira galinga agaliko amabwa era gansala ng’amayiweko enfuufu. Ono mwawufu ku waabulijjo kubanga alumya ekifuba ne ku mumiro mpulira akyankolokoota. Nze ndaba poliisi yandibadde ebaleka.
Siraje Semugooma ssentebe wa LCI atwala ekitundu: Tusaba abakulira poliisi batudduukirire buli abantu bano lwe bajja kuba bakozesa kaabuyonjo yaffe kati ejjudde waakiri batukwatireko okugiyoola kubanga wano tebazzeewo mulundi gumu.
Sowed Nkata muweesi: Nsaba Besigye aleme kuwummula kituli mu luwombo lwaffe, pulezidenti yaakamala okutuwa ettaka naye buli lwe beegugungira we tukolera bayinza okulowooza nti ffe twekalakaasa. Bayinza okutumma ekyapa kyaffe. Besigye agende yeegugungire ewuwe e Kasangati we tukolera yeesonyiwewo.
Abasuubuzi beekokkola enkung’ana za Besigye