TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebya Pioneer bbaasi okusaabaza Bannakampala bisalwawo leero

Ebya Pioneer bbaasi okusaabaza Bannakampala bisalwawo leero

Added 29th February 2012

ABABAKA ba Palamenti, beesitudde ne bagenda mu Yaadi, bbaasi za Kampuni ya Pioneer gye zisimbye ne bazekkaanya nga bwe beetegera okusalawo ku Lwokuna ( Enkya) ddi lwe zigenda okutandika okusaabaza Bannakampala.

Bya Ahmed Mukiibi ne Muwanga Kakooza       

ABABAKA ba Palamenti, beesitudde ne bagenda mu Yaadi, bbaasi za Kampuni ya Pioneer gye zisimbye ne bazekkaanya  nga bwe beetegera okusalawo ku Lwokuna ( Enkya) ddi lwe zigenda okutandika okusaabaza Bannakampala.

Bbaasi zino 100, ababaka  b'akakiiko ka Palamenti akavunanyizibwa ku Gavumenti Ez'ebitundu abaakuliddwa ssentebe Florence Kintu (Kalungu) baazisanze mu Yaadi e Naguru n'okumpi n'akatale k'ewa Kisekka.

Abakulira kkampuni ya  Pioneer abaakulembeddwaamu John Masanda be baalambuzza ababaka bano bbaasi ne bategeeza nti beetegefu okutandika okusaabaza Bannakampala.

Aba Pioneer baali bategese okutandika okukola olwa leero ( 01/03/2010) kyokka Palamenti n'ebayimiriza nga bwe banoonyereza era olukiiko olusembayo mu kunoonyereza kw'ababaka lutudde leero ku Palamenti okusalawo ekisembayo.

Olukiiko luno lugenda kwetabwamu aba; Minisitule ey'ebyentambula,  Minisitule ey'ebyensimbi, Minisitule eya Gavumenti Ezebitundu, KCCA, n'aba Pioneer.


Omubaka Betty Nambooze (mu maaso) ne banne nga balambula bbaasi zino. Ekif. Muwanga Kakooza

Bwe baabadde balambula bbaasi  ababaka bano abaasooka okuziwakanya, baasiimye entegeka z'aba Pioneer  kyokka ne babawa obukwakkulizo obulina okusooka okutuukirizibwa omuli minisitule y'ebyentambula okuzirambula ekakase  nti ziri mu mbeera nnungi  okusaabaza abantu.

Ababaka era baagambye nti aba gavumenti z'ebitundu ng'e Mukono n'e Kira bbaasi gye zigenda okuyita balina okwebuuzibwako era ne KCCA okwetegereza endagaano gy'erina ne Pioneer okulaba oba temenya mateeka.

Muky. Florence Kintu yagambye nti  bbaasi bazirambudde kati ekisigadde minisitule kuzeekenneenya okulaba oba ziri mu mbeera ezisobozesa okufuna layisinsi.


Akulira kkampuni ya Pioneer John Masanda (ddyo) ng'alambuza ababaka bbaasi zino. Wakati ye Betty Nambooze. Ekif. Muwanga kakooza

Betty Nambooze (Mukono Munisipaali) yagambye nt ye mumativu na bbaasi zaatereddwa kuba zitwala abantu batono (30). Bbaasi ziwandikiddwaako nti zitwala abantu 30 abatudde n'abalala 30 abayimiridde.

Bino bye bisale  aba kkampuni ya Pioneer  bye bakkaanyizaako n'aba KCCA okusolooza ku nguudo ez'enjawulo nga batandise okukola.

Engendo ennyimpi ezitasukka Kiromita 12 , abasabaaza baakusoloozebwa nga 800/-

  • Kampala, Nakawa, Kyambogo, Banda, Kireka, Bweyogere- 800/-.
  • Kampala, Bugolobi, Kitintale, Luzira-  800/-
  • Kampala, Nakawa Ntinda Bukoto-800/-
  • Kampala, Kibuye Ndeeba Nateete- Busega, Kyengera-800/-
  • Kampala Mengo, Nateete, Busega Bulenga-800/-
  • Kampala, Nakulabye, Kasubi, Namungona, Nansana-800/-

Ebya bbaasi za Pioneer bijulidde lwa nkya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...