
Bya Hannington Nkalubo
KCCA eronze abakulembeze ba UTODA ne DACCA ku kakiiko bagiyambeko okutereeza entambula ya takisi mu Kampala n’okulondoola badereeva abatayagala kusasula ssente 120,000/- ezaabagerekebwa bakwatibwe.
Dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi Ssemakula yalangiridde nti ebbanga lye bawadde badereeva okwetegekeramu okusasula ssente za Gavumenti 120,000/- liweddeko era ebikwekweto bitandise leero.
“Tugenda kuyambibwaako akakiiko kano okutereeza siteegi, okukwasisa badereeva empisa, okulondoola takisi ezitasasudde n’okuyamba ku basaabaze mu paaka okutambula obulungi,” Musisi bwe yagambye.
Yabadde mu lukiiko lwa bannamawulire lwe yatuuzizza eggulo ku City Hall.
“Eno si ttenda wabula ntegeka gye tutandiseewo okutereeza entambula mu Kampala nga tukolera wamu n’ebibiina bya badereeva ebiriwo,” Musisi bwe yagambye.
Yalangiridde nti akakiiko kakulirwa kansala Joyce Achan. Katuulako aba UTODA abakulembeddwa ssentebe Musa Katongole, Charles Kamya, Paul Kalegeya, John Ndyomugyenyi, William Katumba, Wilson Mwanje ne Hajat Yudaaya Nabirye. Aba DACCA erudde nga erwanyisa UTODA kuliko: Bbaale Kalid, Aloysius Ddamulira Stephen Luzindana, Abbey Luwagga, Yasin Ssematimba, Baker Kazibwe ne Paul Waiswa.
Aba KCCA kuliko Meeya Benjamin Kalumba owa Nakawa, Phoebe Kamya akulira ebyensimbi mu KCCA, Caleb Mugisha ne Ezra Ssebuwufu.
Jennifer Musisi yagambye nti bangi babadde beegwanyiza okubeera ku kakiiko kano naye kawedde okulondebwa era kati katandise okussa mu nkola ebikalagiddwa.
“Buli dereeva ateekwa okusasula ssente mu budde. Bannabyabufuzi ababadde bababuzaabuza nti tebasasula ssente zino (120,000/- ) kati betegeke okubayambako okuggyayo takisi zammwe ezigenda okukwatibwa kubanga ebikwekweto bitandise,” Musisi bwe yagambye.
Yawagiddwa bameeya Godfrey Nyakana, Joyce Ssebuggwawo owa Lubaga, Benjamin Kalumba owa Nakawa ne Ian Clark owa Makindye eyasindise omumyuka we nti ebikwekweto bitandike.
‘Tumuleeta abantu abanaatukuba emiggo’
Hassan Mugabi: Omulimu gwetaagamu obukulembeze gye tuyinza okuddukira nga tufunye obuzibu kuba obumu tusobola okubugonjoola nga tetutuuse ku poliisi. Teri mulimu gutaliimu bukulembeze era sifaayo ku balondeddwa kasita tebatutulugunya.
Richard Kayemba: Ekintu kyayabika okuva lwe baabaggyako okusolooza ssente era nze nkiwagira tuziteeke mu banka naye tekigasa okuteekawo akakiiko nga tetunnaba kukkaanya ku muwendo gwa ssente gwe tulina okusasula.
Tulinda ddoboozi lya Loodi Meeya nga kanso emaze okusalawo tumanye ze tulina okusasula.
Suman Mulondo: Akakiiko kagenda kutunyigiriza, nze nneewuunya kubanga Meeya yayita olukiiko tukkaanye ku muwendo gwe tulina okusasula tebaalabikako naye kati bateekawo bukiiko kusolooza nga tetukkaanyanga ku muwendo gwonna ssente tusobola okuzisasula nga tewali kulwana naye boogere omuwendo omutuufu.
Hassan Mugabi: Omulimu gwetaagamu obukulembeze gye tuyinza okuddukira nga tufunye obuzibu kuba obumu tusobola okubugonjoola nga tetutuuse ku poliisi. Teri mulimu gutaliimu bukulembeze era sifaayo ku balondeddwa kasita tebatutulugunya.
Christopher Kateregga: Nze ssaagala kuwulira linnya UTODA mu kintu kino, nnasanyuka ng’eggyiddwawo nga mmanyi nti KCCA y’egenda okutusolooza. Ssaagala kuwulira linnya Katongole omuntu gwe baggyawo ate gwe bazza atutulugunye.
Mudasiru Ssemugenyi: Batuyambe ekiseera kino kye twetaaga si UTODA ne DACCA wabula Muky. Musisi ayite baddereeva tukkaanye ku muwendo gwe tulina okusasula mu kifo ky’okuleeta abagenda okutukuba emiggo.
Musisi alonze akakiiko kalabirire takisi