TOP

Barbie laavu ye ne Bobi agiwandiseemu Akatabo

Added 1st April 2012

BARBIE Itungo mukazi wa Bobi Wine awandiise akatabo ku laavu ye ne Bobi mw’anyumirizza entalo z’alwana n’abakazi abaagala okumusuuza bba ezimutuusizza okumuteekako etteeka kw’atambuliza amakage. ‘Teri kudda waka ssaawa zisukka mukaaga, si kaakubeera muyimbi.

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

BARBIE Itungo mukazi wa Bobi Wine awandiise akatabo ku laavu ye ne Bobi mw’anyumirizza entalo z’alwana n’abakazi abaagala okumusuuza bba ezimutuusizza okumuteekako etteeka kw’atambuliza amakage. ‘Teri kudda waka ssaawa zisukka mukaaga, si kaakubeera muyimbi.

Bw’ozisussa ontegeezaako mangu.’ Ekitabo kino akituumye The Golden Memories of a Village Belle ky’oyinza okuvvunula nti, Nnalulungi w’ekyalo n’ebyafaayo bye eby’omuwendo.

Mu kitabo kino, Barbie alaga nti, mu kusooka bwe yayagala Bobi, abantu bangi omuli n’abawala abaagala okumumusuuza, baabeeranga bamusaasira nga bwe bamugamba nti omusajja gw’agenda okufumbirwa tategeerekeka olw’enviiri z’abarasita nga bagamba nti yandiba omuyaaye wabula yeewuunya bwe bakoze erinnya ate kumpi abantu be bamu be bamubuzaako emirembe nga baagala okweddiza bba.

Mu ngeri y’emu Barbie alaga nti yategeeragana ne Bobi nti abakyala abamutawaanya bonna bakikola lwa kumwegwanyiza
naye nga ye tabaagala era buli lw’akomawo eka ng’ava okukola, kaba kabonero akalaga nti ye yekka, Barbie ye mukazi wa Bobi omutuufu abalala bamwegwanyiza bwegwanyiza.

Mu birala ebiri mu katabo kano beebo be yakula nabo abalowooza nti yafuuka sereebu takyali sayizi zaabwe. Annyonnyola nti buli lw’adda mu kyalo yeegayirira abaana be yakula nabo nti akyali omu ku bo eratalabawo njawulo ku ye nabo wabula bo tebakikkiriza.

ATTOTOLA LAAVU YAABWE GYE YAVA

Muka Bobi Wine, Barbie Itungo Kyagulanyi awandiise ku ngeri gye yasisinkanamu Omubanda wa Kabaka n’attottola n’engeri laavu y’Omubanda bw’emuyisizza mu buwonvu n’obukko okuva lwe baasisinkana emyaka 10 egiyise.

Ekitabo kyatongozeddwa ku bbaala ya Emin Pasha ku Lwokuna ng’omugenyi omukulu yabadde Capt. Mike Mukula. Omulangira David Wassajja yabaddeyo, n’abanene abalala nga Minisita Nakiwala Kiyingi. Abayimbi Juliana Kanyomozi, Peter Miles, Nubian Lee, DJ Davie ono nga ye yakwanira Bobi mukaziwe ono bwe yali amulemeredde, Henry Tigan n’abalala.

Mu baasinze okusanyusa abantu nga babanjudde ye Dr. Mercy Mirembe ne bba Mw. Ntangaare. Mirembe musomesa ku ttendekero lya katemba e Makerere era ye yawandiika omuzannyo ogwakwataganya Bobi Wine ne Barbie bamale baagalane, gwe yatuuma ‘Lady will you marry me’.

Barbie agamba nti mu muzanyo ogwo yali azannya nga maama kyokka nga yeeyita First lady ate nga Bobi azannya nga taata, nga yeeyita lya Pulezidenti. Baali bazannya ebintu ne bikula ne baggyamu omukwano. Mu kiseera ekyo Bobi yali asoma Makerere mu yunivasite nga Barbie ali mu S6 e Bweranyangi e Bushenyi ng’omuzannyo guno gwali gugata aba haaya ne yunivasite.

Ekitabo Barbie akiwandiikidde emyaka ebiri nga kya miko102. Mu katabo kano alaga akattu ke yalimu nga baakakwanagana ng’atya okumwanjulira mikwano gye nti ye muganziwe. Alojja agagambo enkuyanja ge baamunwenweka nga bamubuuza oba omusajja omuyimbi ate nga wa birasita anaamusobola.

Barbie attottola nga bwe yafuna obuzibu obunene naye ng’ate omutima gwe gwali gumaze okusalawo ne gukkiriza Bobi. Alojja kakuyege gwe yakola nga tannamwanjula n’ebirala nkumu ebyewuunyisa. Kyokka akatabo katandika na buto bwa Barbie mw’alojjera ebintu by’azze ayitamu ng’akula by’atayinza kwerabira.

Ku mukolo yategeezezza nti ekirowoozo ky’okuwandiika akatabo yakigye ku kimu ku bitabo bye yali asoma n’alaba nga mulimu ebibulamu ne yeeyama naye okuwandiika ekitabo. Wano Bobi yamulagula nti tajja kukisobola ko ye nti ajja kusobola kubanga eky’okuwandiikako akirina.

Akatabo kalaga effujjio lye yakola mu buto bwe Obuyimba bwe yayimbanga. abantu be yakuliramu ne by’atayinza kubeerabirako n’ebirala ntoko. Barbie yazaalibwa ku kyalo Kyempene mu ssaza ly’e Rushenyi mu disitulikiti y’e Ntungamo. Yasomera mu nasale wansi w’omuti gw’e kkanisa gye bayita Rugarama

Barbie ng’ali n’omusomesa (ku ddyo)eyawandiika omuzannyo ogwabasisinkanya ne Bobi.

Minisita Nakiwala Kiyingi ku kkono ng’ali ne Barbie

Omubanda wa Kabaka,Bobi Wine ng’ayaniriza Omulangira Wassajja ku mukolo.

Barbie ku ddyong’akyali muto wano yali nemwannyina.

Ne bano baabadde mu kutongoza ekitabo.

Abamu ku bagenyi ababaadde ku mukolo.

Barbie aliko saako ng’ali mu ttiimu y’omupiira ku ssomero.

Barbie Kyagulanyi ng’anekaanekanye ku mukolo gwe.

EZIMU KU NTALO BARBIE Z’AZZE ALWANA
1 Amulwanyisizza okuva ku mwenge era yamuwangula.

2 Amuwagira okulwanyisa abanywa ebiragalalagala. Era kontulakiti poliisi gye yawa Bobi okulwanyisa ababinywa, Barbie naye amuyambako bwe yakola n’ekibiina okumuyamba balwanyise omuze ogwo.

3 Obutamansamansa ssente mu nsonga ezitaliimu basobole okwezimba. Kino bakikoze era Bobi alina ebizimbe bingi omuli ne bbiici ya One Love e Busaabala nga Barbie ye maneja waayo.

4 Okukolagana ne bayimbi banne. Luno olutalo agenze aluwangula anti kati Bobi ne Chameleone abaali akabwa n’engo balinnya mu kimu. Kati asigazza lwa Bebe Cool bwe batakkaanya.

5 Olutalo lw’okusoma Ssande. Luno Barbie agamba nti yaluwangula kubanga tayosa okugyako ng’alina ekizibu era kye kyavaako n’okumwuasa embaga mu August wa 2011.

 

Barbie laavu ye ne Bobi agiwandiseemu Akatabo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukazi lwe yeeronda n'atam...

ABASAJJA abamu babeera mu maka nga bali ku maggwa olw’abakazi abeeronda ku buli nsonga. Ab’engeri eno mu kiseera...

Akena ng’alayizibwa ku bwapulezidenti bwa UPC.

Akena alayiziddwa n'awera k...

ABA UPC baayisizza ekiteeso ekikakasa Jimmy Akena ng'omukulembeze wa UPC omuggya ekyongedde okutabula abamuwakanya....

Endabika ya Rema ecamudde a...

BAATANDISE ku Lwakutaano ku Idd, ng'amba abawagizi nga beebuuza engeri sereebu waabwe gy’ajaguzaamu olunaku engeri...

Aba Ebonies bagaanyi Corona...

Dr. Bbosa (mu katono) ng'amannya ge amatuufu ye Sam Bagenda yasinzidde ku mukolo gw'okutongoza enkola empya mwe...

Tanga Odoi ng’ayogera eri bannamawulire ku Lwokubiri.

NRM eggaddewo okugaba ffoom...

AKAKIIKO k'ebyokulonda mu NRM kalagidde buli ayagala obubaka bwa Palamenti n'obwassentebe bwa disitulikiti okusooka...