TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnamba bbiri wa Kitooke acamudde abanene ng'ayanjula

Nnamba bbiri wa Kitooke acamudde abanene ng'ayanjula

Added 2nd April 2012

Lyabadde ssanyu jjereere ng’omuyimbi Hajji Haruna Mubiru Kitooke ayanjulwa kabiite we Hadijah Lumala mu maka ga kitaawe Moses Lumala e Lubaga okumpi ne wooteeri ya Pope Paul.

Bya Josephat Sseguya

Lyabadde ssanyu jjereere ng’omuyimbi  Hajji Haruna Mubiru Kitooke ayanjulwa kabiite we Hadijah Lumala mu maka ga kitaawe Moses Lumala e Lubaga okumpi ne  wooteeri ya Pope Paul.

Mu ngeri eyeewuunyisizza abantu,  Hadijah eyabadde abugaanye essanyu eby’okulinda obukolomooni obukolebwa ennaku zino nga ssenga ateeka ekimuli ku mulenzi ye yakyeteereddeko n’amusitula n’amutwala mu maaso g’abazadde n’amumwanjulira nti: “Ono ye mulenzi wange gwe nsiimye mu bangi era nsaba munzikkirize mufumbirwe kubanga yantegeera nange gwe ntegeera,” olwo enduulu n’ebuutikira ekitundu.

Gwabadde mukolo gwa bbugumu nnyo  ogwasitudde abanene omwabadde abakungu ba Kabaka abaakulembeddwamu Sipiika Kaddu Sserunkuuma, Omulangira Kalifaani Lukanga Kakungulu, abasuubuzi, abayimbi ne bannakatemba.

Lumala eyawummula eby’okuvuga mmotoka z’empaka yabadde abugirizibwa Sipiika ne Hajji Musa Katongole owa UTODA  ng’ate Meddie Nsereko ye yabadde kalabaalaba wa Kitooke.

Zaagenze okukoona ssaawa musanvu ogw’omuttuntu ng’abako, baasonze dda ku ggeeti y’abazadde b’omugole era okwerinda kwabadde kw’amaanyi nga kwakoleddwa abaserikale ba poliisi ne bakanyama.

Abayimbi ba Eagles Production Kitooke gye yavaamu, aba Kream  Production gye yatandikawo n’abalala tebaalutumiddwa mwana.

Oluvannyuma lw’abako okwanirizibwa, emikolo gyatambudde bulungi era abako baaleese ebirabo bingi ng’ebibbo byokka byasobye mu 300 ekyawalirizza aboogezi b’oludda lw’omuwala okubiyimiriza ne badda ku birabo ebirala nga firiigi, entebe ekola masaagi, entebe z’omu ddiiro, loole ya soda ne kalonda omulala.

Kitooke n’omugole baabadde basanyufu bya nsusso  era bwe basemberaganye ne beekwata nga bwe beekuba obwama olwo enduulu ne zitta abalabi.

Kitooke okusiima omugole okumulaga laavu, yamuwadde kalina y’e Kabowa.

Ku mukolo guno Kalifani eyayogeddeko eri abantu yakubirizza Kitooke okutambuliza amakage ku ssemateeka wa Kulaani nti lw’ajja okufuna emirembe ekyakubizza abantu mu ngalo nga waliwo abaasakaanyizza nti “kyekyo Hajji Haruna Kitooke owulidde anti Kulaani ekulagira abakazi bana okyabanjibwayo babiri”.

Nnamba bbiri wa Kitooke acamudde abanene ng’ayanjula

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...