TOP

Kakoma afudde akyabanja ez'oluyimba lw'eggwanga

Added 8th April 2012

Polof. George Kakoma, eyayiiya oluyimba lw''eggwanga afudde omutima gumwennyise!!.

Bya Ahmed Mukiibi

PULOFEESA George Wilberforce Kakoma, Munnayuganda eyayiiya oluyimba lw'eggwanga afudde omutima gumwennyise!!.

Afudde tannasasulwa ssente obukadde 500 ze yasaba gavumenti okumusasula mu luyimba lwe; 'Oh Uganda, Land of Beauty'.lwe yayiiya, gavumenti n'erufuula oluyimba lw'eggwanga  mu 1962 nga Uganda efuna obwetwaze.

Mu luyimba lwe,  Kakoma yawa Uganda omusingi ogw'okutya Katonda, obwamwooyo gw'eggwanga, obumu, buli muntu okulya ku ntuuyo ze, okusa ekitiibwa ku ddembe ly'obuntu n'okukuuma obutonde.

Oh Uganda, Land of Beauty'. Bannayuganda bangi balukoolobya mu ngeri ebakwata omubabiro kyokka abamakulu agalulimu abantu bagaleka we baluyimbira, buli omu n'akola bibye, ekintu lumu Kakoma kye yagamba nti kimuyungula amaziga.

Pulofeesa Kakoma yandibadde kyakwenyumirizaamu kyamaanyi ku mikolo egy'okujaguza emyaka 50 agy'ameefuga wabula kakusaalirwa nti erinnya lye lijja kusomwa mu g'abo  abookujjukira oboolyawo ab'oku emidaali egy'obuzira nga bamaze kufa.

Kakoma ow'emyaka 89, yafudde ku Pasika eggulo ku ssaawa ku ssaawa 12 ez'okumakya oluvannyuma lw'okulwalira emyaka kumpi ebiri. Kakoma yazaalibwa 1923 e Masaka.

Nnamwandu Maria Tereza Kakoma

Namwandu Maria Thereza yategeezezza nti bba yafiiridde Kololo mu maka ga muwala we, w'abadde ajjanjabirwa obulwadde obwamusannyalaze obwongo mu August 2010..

Yaweebwako ekitanda mu ddwaaliro e Nsambya  mu February 2011 ne Nakasero Hospital mu April 2011 kyokka embeera n'egaana okulongooka, abasawo ne basalawo azzibwe awaka gy'aba ajjanjabirwa.

Okuva lwe yasiibulwa mu Nakasero Hospital, Kakoma teyaddamu kutereera era  abadde by'asiba bikutuka. Abadde tayogera, ekintu Nnamwandu Thereza kye yagambye nti kyava ku bulwadde obwamusannyalaze obwongo. Mu February 2012  yabikwa nako.

Pulofeesa Kakoma abadde asizza ku kyuuma kya 'Oxygen' ebbanga lyonna ly'abadde ajjanjabirwa awaka,   abasawo we babadde bamusanga okumwekejja era abaddeko Nnansi abadde tamuva ku lusegere.

Ku ntikko lw'obulwadde bwe,  gavumenti yawa Famile ye obukadde 25 okukola ku bujjanjiba oluvannyuma lwa Nnamwandu  Thereza okutegeeza nti ssente ez'obujjanjabibwa ze baali betaaga zaali nnyingi.

Thereza yategeeza nti buli wiiki babali basaasaanya ssente ezisukka mu kakadde kamu okugula eddagala gattako ne ssente emitwalo 54 ze babadde basasula Nnansi buli mwezi.

Kakoma yakoma okulabika mu lujjudde ku mikolo gy'okukuza ameefuga ag'omulundi aga 48  nga October 9, 2010 ku kisaawe e Kololo. Okuva olwo embeera y'obulamu bwe ezze eddobonkana era kyakusaalirwa nti emikolo mulindwa egya Uganda okuweza emyaka 50 egy'ameefuga tagituuseeko.

Wafiiridde ng'omusango gwe yawawaabira gavumenti olwobutasasulwa ssente mu luyimba lwe gukyagenda mu maaso.

Kakoma yajulira ng'awakanya ensala ya kkooti enkulu eyasalawo mu 2009  okumulirira obukadde 50 zokka mu luyimba lwe.

Munnamateeka we Joseph Bbosa yategeezezza eggulo nti  omusango gwabadde gwakulirwa mu kkooti ejulirwamu ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde nga April 4, 2012 kyokka abalamuzi nebatalabikako ne gwongezebwayo.

Yagambye nti wadde Kakoma afudde, omusango gwakugenda mu maaso  ne bwekinaaba kyetaagisa kutuuka mu kkooti ey'oku ntikko. Baagala wakiiri obukadde nga 500 kubanga oluyimbwa lwa Kakooma gavumenti erukozesezza emyaka kumpi 50 nga terusasulanga.

Kakoma yayiiya oluyimba luno mu 1962 luvannyuma lwa  Gavumenti y'abafuzi b'amatwale okulanga mu lupapula lw'amawulire olwa Uganda 'Argus' nga bayita bannayuganda okwetaba mu mpaka ez'okuyiiya oluyimba lw'eggwanga.

Oluyimba lwa Kakoma 'Oh Uganda, Land of Beauty', lwe lwawangula, ne lufuulibwa oluyimbwa lw'eggwanga nga lusikira olwa Bungereza; God save the Queen' olwali lukozesebwa ku mikolo gy'eggwanga okuva 1894  okutuuka October 8 1962.

Kakooma na'weebwa akabaasa ya Ssiringi 200/- wabula yasigazza obwannannyini (Copyright). Waliwo enteeseganya ne gavumenti ya Obote 1, Kakoma ng'asaba  Siringi 5000/- okugiwa Copyright kyokka Amin n'awamba obuyinza nga tebannakaanya, Kakoma n'addukira mu buwanganguse okutuusa mu 1986 lwe yadda mu ggwanga.

Yawawaabira gavumenti mu 2008, omusango ne gusalwa mu 2010 nga kkooti emuwadde obukadde 50 zokka n'azigaana kwe kujulira.

Kakoma yasomera  mu Kings College e Buddo gye yava n'agenda e Kenya  mu East Africa Conservatoire of Music School gye yafuna Satifekite mu kuyimba mu 1947. Yeeyongerayo e Bungereza mu Royal College of Music mu 1952 ne mu Durham University gye yafunira obwa Pulofeesa mu kuyimba

sdfs

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Micheal Kinene Akomyewo na ...

Micheal Kinene Akomyewo na Nkuba mpya Omuyimbi Micheal Kinene akomyewo na nkuba mpya oluvannyuma lw'okumala...

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...