TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti etadde abaleppuka n''ogwobutujju ku by''e Bugerere

Kkooti etadde abaleppuka n''ogwobutujju ku by''e Bugerere

Added 11th April 2012

LYABADDE ssanyu n''amaziga ku kkooti enkulu mu Kampala eggulo omulamuzi Ralph Ochan bwe yayimbudde bana ku basibe abakwatibwa mu kwekalakaasa lwe bagaana Kabaka okugenda e Bugerere mu 2009.

Bya Benjamin Ssebaggala

LYABADDE ssanyu n'amaziga ku kkooti enkulu mu Kampala eggulo omulamuzi Ralph Ochan bwe yayimbudde bana ku basibe abakwatibwa mu kwekalakaasa lwe bagaana Kabaka okugenda e Bugerere mu 2009.

Okubayimbula kyaddiridde oludda oluwaabi okutegeeza kkooti nti abajulizi abaali balina okubalumiriza baafa nga bwebatyo baabadde tekyalina bujulizi kwe basinziira kubassaako musango.

Abaayimbuddwa kuliko:Paul Kikulwe ow'e Sunga, Adad Kibuuka w'e Kibanga mu Mawokota nga baamukwatira Nateete, Bashir Mutyaba ne Bob Kakembe.

Wabaddewo katemba abaateereddwa bwe baafubutuse ku kkooti nga baakayimbulwa olw'okutya nti bayinza okuddamu okukwatibwa. Ye Kibuuka omulamuzi olwasomye erinnya lye nti aggyiddwako omusango n'atulika n'akaaba.

Adad Kibuuka omu baateereddwa ng'amaziga gamaze okumuyitamu. Ekif: Benjamin Ssebaggala

Okuva ku (kkono), Kamada Nsubuga ne Sekatawa abamu ku baziddwaayo e Luzira. Ekif: Benjamin Ssebaggala

Abamu ku basibe nga bali mu kkooti. Ekif: Benjamin Ssebaggala

Okuyimbula bano abalala musanvu okwabadde:Martin Bisaso, James Nuwagaba, Sevveewo Meddie basoose kusimbibwa mu kkoti nabo basomerwe omusango wabula omuwaabi wa gavumenti n'asaba omulamuzi aleme kubasomera musango kubanga bannabwe okuli Pius Yawe, Muhammed Kiddu ne Bukenya kkooti yabakkiriza okweyimirwa nga tebaabaddewo.

Omulamuzi ogwabwe yagwongeddeyo okutuusa nga April 18  bonna lwe balina okulabikako mu kkooti abaabaddewo ne bazzibwa e Luzira. Omulamuzi era yalagidde abakulira ekkomera batwale Livingstone Jesero mu ddwaliro e Mulago afune obujjanjabi.

Adad Kibuuka ng'akaaba amaziga g'essanyu oluvannyuma lw'omulamuzi okumwejjeereza ogw'obutujju. Kibuuka ne banne abalala basatu omulamuzi be yejjeereza ogw'obutujju. Ekif: Benjamin Ssebaggala

BAZZIDDWA E LUZIRA
Oludda oluwaabi eggulo lwaleese abajulizi mu kkooti okulumiriza abakwatibwa era bonna baabadde ba ofiisa ba poliisi. Vincent Okurut eyali akulira  okubuuliriza ku misango ku poliisi e Katwe yategeezezza nti sitetimenti gye yasooka okuwandiika mu 2009 yaddayo ew'omuwaabi wa gavumenti ne bagikyusa.

Abamu ku bazziddwaayo mu kkomera e Luzira ; okuva ku kkono  Robert Ssekabiri ne Livingstone Jesero (ku ddyo) akyaliyo wabula Jesero mulwadde era waakutwalibwa e Mulago afune obujjanjabi. Ekif: Benjamin Ssebaggala

Ne banno bazziddwayo e Luzira. Okuva ku kkono, Musa Ssengendo ne Akim Lwanga ku ddyo. Ekif: Benjamin Ssebaggala

Okurut yagambye nti yayitibwa munnamateeka Vincent Wakikona eyamwegaanye kyokka ye n'alumiriza nti yagendayo n'abukyusa era omulamuzi wano yacwanye n'anenya Okurut okutta obujulizi wano munnamateeka w'abawawabirwa Medard Sseggona n'awa Okurut etteeka n'alisoma nga liragira omuntu ayonoonye obujulizi asibwe emyaka egitakka wansi wa musanvu.

Munnamateeka w'abawawaabirwa Medard Seggona asooka ku (kkono) ng'ayogeraganya n'abamu ku baabadde mu kkooti okwabadda Loodi meeya Erias Lukwago ne Moses Kasibante. Ekif: Benjamin Ssebaggala

Abalala abaawadde obujulizi ye Lauben Wasiima eyali akulira poliisi y'e Nateete we bagyokyera ne Rose Nabakooza eyali akulira okubuuliriza ku misango ne balumiriza Robert Sekabira, Musa Seng'endo ne Kamada Nsubuga okwetaba mu kwokya ekitebe kya poliisi y'e Nateete n'emmotoka ezaali mu luggya.

Abamu ku bavunaanibwa ogw'obutujju nga boogereganya ne looya waabwe. Ekif: Benjamin Ssebaggala

Abazziddwa e Luzira kuliko:Robert Sekabira, Musa Seng'endo eyeeyita Kakono, Kamada Nsubuga, Hakim Lwanga, Richard Kijjambu, Jumah Sekyanzi ne Sam Semambo. Abalala ye;Jesero Livingstone, Hakim Ntanzi, Sadat Luswata Bunyungo, John Gafumba, Rogers Zinda, Joseph Katamba , Muzafaru Mugisha eyeyita Junior,Salim Magoba, Elisa Mujuni, Muhammed Sekatawa ne Meddie Nsubuga.

Kyokka omulamuzi yalabudde abayimbuddwa nti essaawa yonna basobola okuyitibwa nga gavumenti ebagguddeko omusango omulala.

Kkooti etadde abaleppuka n''ogwobutujju ku by''e Bugerere

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Anite ku ddyo ng'atwalibwa mu mmotoka ya poliisi eyamututte e Mukono

Eyatemudde mukwano ggwe n'a...

POLIISI eyogezza omukazi eyasse mukwano gwe n’amubbako omwana e Mukono n’amutwalira muganziwe mu bizinga by’e Kalangala....

Balooya ba Kyagulanyi, George Musisi (ku kkono) ne Fredrick Robert, muganda wa Kyagulanyi, Fred Sentamu Nyanzi (wakati), omuwandiisi wa NUP, Gen. David Lewis Rubongoya, n;omwogezi wa NUP, Jowel Senyonyi (ku ddyo).

Poliisi by'esazeewo ku kuva...

POLIISI ekkirizza okuva mu maka ga Kyagulanyi wabula n'etegeeza nti yaakusigala ng'emutambulizaako amaaso. Omwogezi...

Pulezidenti Museveni lwe yatongoza ekkolero lya METUZHONG erikola bbaasi e Namanve nga March 9, 2019.

Gavumenti by'egenda okukola...

OKUTANDIKA okukolera wano ebintu ebibadde bisuubulwa ebweru w’eggwanga n’okwongera ku bungi bw’ebintu ebitundibwa...

Fred Enanga.

Poliisi eyigga omuwala eyag...

POLIISI etandise okunoonya omuwala, Unique Kobusigye gw’erumiriza okusaasaanya amawulire ku kyasse Omusumba w’e...

Isreal

Boogedde bye balabye mu mya...

Micheal Orahi Osinde, omwogezi w’omukago ogutaba ebibiina byobufuzi byonna mu ggwanga ogwassibwawo mu 2010 agamba...