TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebyokwerinda binywezeddwa nga Kabaka alambula Ssingo

Ebyokwerinda binywezeddwa nga Kabaka alambula Ssingo

Added 22nd April 2012

Abantu balaze essanyu nga baaniriza Kabaka ng’alambula essaza ly’e Ssingo.

Bya Luke Kagiri ne Benjamin Ssenaggala

Abantu balaze essanyu nga baaniriza Kabaka ng’alambula essaza ly’e Ssingo.

Baakedde kweyiwa ku mbuga y’essaza e Mityana, Kabaka mwe yasuze mu nnyumba ye entongole “Matutuma” okumubugiriza ng’agenda ku ssomero lya MUMSA High School e Mpanga ku luguudo lw’e Mubende awaabadde emikolo emikulu.

Emikolo gyatandise ku ssaawa 3:00 ez’oku makya g’Olwomukaaga n’okuyisa ekivvulu mu kibuga Mityana.

Ebyokwerinda byanywezeddwa nga bikolebwako abapoliisi n’abajaasi abakuuma Kabaka, okwewala abayinza okutaataaganya emirembe. Bakira baziyiza buli muntu eyabadde agezaako okusemberera Kabaka Ronald Mutebi II era abamu baabayisizzaamu empi.


Kabaka ng’alambula ekibuga Mityana wakati mu kwerinda okwamaanyi. Ekif: Benjamin Ssebaggala


Bannamityana nga beetegese okwaniriza Ssaabasajja. Ekif: Benjamin Ssebaggala

Kino we kijjidde nga poliisi yaakagugulana n’abantu abaabadde ku mukolo gw’okujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja ag’emyaka 57 e Kisubi, era abamu ku bantu ne bakuba aba poliisi amayinja nga bawakanya eky’okubasibira ebweru ne balemesebwa okutuuka awaali emikolo.

Ku mikolo gino egyabaddewo wiiki ewedde, abantu abamu baafunye ebisago ne baweebwa ebitanda oluvannyuma lw’okukubibwa abaserikale mu kanyoolagano akaabaddewo ku mulyango oguyingira ku ssomero lya St. Mary’s College Kisubi.


Abantu nga beeyiye ku nguudo okwaniriza Ssaabasajja. Ekif: Luke Kagiri


Ssaabasajja ng’atuuka mu e Ssingo ku Lwokutaano akawungeezi. Ekif: Luke Kagiri

Okugenda e Ssingo, Kabaka yasimbudde mu Kampala akawungeezi k’Olwokutaano era abantu baamulindidde mu buli kabuga ku luguudo lw’e Mityana okuli; Busega, Buloba, Jjeza, Kiwawu, Zigoti, Ttanda, Wabigalo ne mu kibuga Mityana awaabadde ebiyitirirwa.

E Busega n’e Buloba, Kabaka yavudde mu mmotoka n’atambuza ku bigere nga bw’awuubira ku bantu abangi abaabadde bamulindiridde.


Bannassingo nga bali mu mbuutu ezaaniriza Beene. Ekif: Luke Kagiri


Oluseregende lw’emmotoka olwawerekedde Kabaka ng’ayingira Ssingo. Ekif: Luke Kagiri

E Mityana yatuuseeyo ku ssaawa 2:00 ez’ekiro era yayaniriziddwa Mukwenda Godfrey Mbalire n’omumyukawe asooka, Joseph Kawuki era ono nga ye mukulu w’essomero lya MUMSA Kabaka we yakoledde omukolo omukulu ng’essomero likuza emyaka 10 bukya litandikibwawo.

Kabaka: Ebyokwerinda binywezeddwa ng’alambula Ssingo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...