TOP

Ssekandi ye musika wange - Museveni

Added 25th April 2012

PULEZIDENTI Yoweri Museveni ayanukudde abamusoomooza okubalaga omusika bw''asitudde omumyuka we Mw.Edward Kiwanuka Ssekandi n''amusongako olunwe nti ye musika we, singa aba avudde mu bulamu bw''ensi eno.

Bya Ahmed Kateregga

PULEZIDENTI Yoweri Museveni ayanukudde  abamusoomooza okubalaga omusika bw'asitudde omumyuka we Mw.Edward Kiwanuka Ssekandi n'amusongako olunwe nti ye musika we, singa aba avudde mu bulamu bw'ensi eno.

"Singa mba nfudde nga munnaffe Bingu wa Muthalika owa Malawi bwe yafudde ng'ekisanja kye tekinaggwaako, omusika wange alambikiddwa bulungi mu ssemateeka nga ye mumyuka wange ono Edward Kiwanuka Ssekandi," bwatyo Pulezidenti bwe yasonze ku Mw.Ssekandi, n'agattako nti alayizibwa n'asigirwa obwapulezidenti okumala emyezi mukaaga nga bwe bategeka okulonda, ate bw'eba ebulayo omwaka gumu ekisanja kigweeko, n'afugira ddala okutuuka ku kulonda kwa bonna.

Yabadde ayanukula omu ku bamyuka ba ssentebe wa NRM atwala Kampala Capt.Francis Babu, eyasoomozza Pulezidenti alage omusika.

Guno gwe mulundi ogw'pkubiri nga Pulezidenti asonga ku mumyuka we nti ye musika we, nga ssemateeka wa Uganda bw'agamba  ng'ogwasooka gwali mu 2005 bwe yasonga ku Polof.Gilbert Bukenya.

Bino byabadde mu lutuula olw'okubiri olw'okukiiko olw'okubiri olufuzi olwa NRM olwatudde mu maka g'obwapulezidenti e Ntebe ku Lwokubiri.

Okuteesa kwabadde kwa kyama naye omumyuka w'omwogezi wa NRM Mw.Ofwono Opondo yategeezezza eggulo nti Pulezidenti yagambye nti ye ne banne baweebwa ekisanja kya myaka etaano ekiggwaako mu 2016 nti era eby'okuteesa ku kkomo ku kisanja bya kulinda biteesebweko mu 2015 nti wabula bwe waba nga waliwo bekisiiwa ennyo, basobola okusaba ne kissibwa ku lukalala lw'eby'okuteesaako mu October w'omwaka guno olukiiko olufuzi lwe lunaddamu okutuula.

Mw.Ofwono yasambazze ebyagambiddwa nti Pulezidenti yavuvubye abantu ne balemwa okuteesa ku by'ekisanja n'agamba nti ng'olukiiko lutandika nga ne bannamawulire bakyalimu, yasabye ababaka oba baabadde baagala okubaako kye bongera ku lukalala lw'ebyokuteesaako nti kyokka teri yanenyeze nti era ne Capt.Babu ensonga yakubyeewo nkube.

Bwe yabuuziddwa ku babaka ba Paalam,enti aba NRM abagambibwa nti bakununkiriza mu 100 abaawagira ekiteeso ky'okuzzaawo ekkomo ku kisanja kye baatutte edda ewa Sipiika, Ofwono yagambye nti bwe kinaaba tekimaze kuteesebwako mu kabondo ka NRM, ababaka abo basobola okugobwa mu kibiina oba okuyimirizibwa.

Akakiiko akwasisa empisa akakubirizibwa omumyuka asooka owa ssentebe Al Haji Moses Kigongo kaayongeddako abantu basatu ababadde bakabulako; Dr.Beatrice Wabudeya, Mw.Mike Sebalu ne Muky.Lilian Abalo Ongom.

Mu lukiiko lwe lumu, abababaka baagulumye ku kya Katikkiro wa Uganda Mw. Amama Mbabazi okulekulira obwaasaabawandiisi bwa NRM oba obutalekulira era ne baabuka nga tebalikna kye basazeewo. Baakirekedde Pulezidenti Yoweri Museveni ayongere okwebuuza abawe byaliba afunye bwew baliddamu okutuula.

Eggulo omumyuka wa Ssaabawandiisi wa NRM Muky.Dorothy Samalie Hyuha, omwogezi Muky.Mary Karooro Okurut n'omumyuka we Mw.Ofwono Opondo baayogedde eri bannamawulire ku kyaddondo Road mwe baasomedde ebiteeso 11 ebyayisiddwa olukiiko omuli okunweza endowooza ya NRM, okukwasisa amateeka n'ebiragiro, okkuuma empisa mu kibiina, okuggulawo account mu Housing Finance Bank No. 0121152263500, okunassibwa ensimbi z'pokuzimba Movement House era ng'akakiiko akakulirwa omuwanika Muky.Amelia kyambadde, kaayongeddwaako Mw.Stephen Bamwanga, Muky.Dorothy Kisaka, Muky.Victoria Busingye Rusoke ne Muky.Jesca Alupo.
 

Ssekandi ye musika wange - Museveni

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...

Ebyakwasizza Dr Lulume mu k...

OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga...

'Siri mwangu buli ankubyeek...

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo...

Ssaabasumba asabye Gavument...

SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza...