TOP

Abantu basazeewo eggoye ku Bebe ne Bobi

Added 5th May 2012

OLUTALO lwa Bebe Cool Munenemunene ne Bobi Wine pulezidenti wa Ghetto, na buli kati lukyali ku mimwa gy’abantu era lawundi esooka yawedde eyawudde omusajja mu balenzi.

Bya Edward Sserinnya

OLUTALO lwa Bebe Cool Munenemunene ne Bobi Wine pulezidenti wa Ghetto, na buli kati lukyali ku mimwa gy’abantu era lawundi esooka  yawedde eyawudde omusajja mu balenzi.

Engeri gye baayingiddewo

Bobi ye yasoose okutuuka ku ssaawa 1:45 ez’akawungeezi nga yajjidde mu baasi ya Pioneer nnamba UAR 581J ne Fire Base ye yonna.

Waayiseewo eddakiika 10 zokka Bobi ng’amaze okuyingira ne Bebe n’ayingirawo mu Hummer ye eriko ebigambo ‘Big Size’ ng’ali mu luseregeende lwa mmotoka ezikulembeddwaamu kabangali ya miritale nnamba H4DF 1135, obwedda eyerula ekkubo mw’ayita.

Bweruba lutalo lwa kuyiiya wano Bobi yalagiddewo nti musajja muyiiya. Bwe luba lutalo lwa kulaga mukwano na bawagizi be n’okulaga nti abantu be we baba naye w’abeera era Bobi wano yaliddewo munenemunene.

Bwe kuba kulaga bunene ani big size, ekitiibwa Bebe kye yajjiddemu kyaliddewo omubanda eyajjidde mu Pioneer.  

Bwe kuba kulaga  buli omu ky’alinawo mu bugagga Bebe eyajjidde mu Hummer yaliddewo Omubanda wa Kabaka. Kati ggwe kiki ky’otwala nga ekikulu buyiiya na kulaga nti oli wamu n’abawagizi bo oba kulaga kitiibwa n’emmaali? Ggwe osalawo.

Bwe batuuse emabega wa siteegi, buli omu yabadde yeebuluunguluddwa abakuumi nga tewali asobola kusala kudda mu nkambi ya mulala. Bobi yabadde ne bakanyama ne be ne Bebe bwatyo.

Okucamula abawagizi

Abawagizi b’enjuyi zombi baabadde bali kintabuli, naye nga tewali alwana. Bobi bwe yasuddeemu Omukwano Gunyuma, Nnyimbira Kabaka Wange, Singa, Kadingo abantu baacamuse nnyo okwo kw’ossa okubayimbya entakera.

Ye Bebe olwasuddemu Never Trust  All People, Chemical Reaction, Bafudde ne Abakyala Bampangula tewali muwagizi yasigadde mu katebe. Era olutalo lw’okucamula oli bw’agamba nti benkanye taba mukyamu.

                         Bebe Cool ng’attunka n’omuwala. Yakkirizza nti ye Mr. Kataala eryamuweebwa Bobi.

Ennyambala

Bebe  kumpi buli mulundi gwe yalinnye ku siteegi ng’akyusa, era yakyusizza enfunda musanvu ate munne Bobi yakyusizza emirundi esatu gyokka. Bobi yayambadde lumoolo enzirugavu, n’asiba ettaayi enjeru, ekkooti enjeru n’essaati enzirugavu.

Bebe yayambadde ekitengi ekiddugavu, olumu n’ajjira mu mujoozi omweru n’empale enjeru n’ebirala. Wano mu kukyusa n’okulaga ebyambalo ku siteegi tewali kuwanaanya Bebe olutalo yalumezze.

Okukuba emiziki

Bebe ye yasoose ku siteegi ku ssaawa 3:43 n’atandika okukuba emiziki, kyokka ng’akubira ku CD ng’eno DJ we Brian amuteraamu ebirungo. Yamazeeko eddakiika 12 zokka.

Ku 3:55 Bobi n’ayingirawo, yasoose kukuba luyimba lwa Buganda olwo n’asumulula ekyuma layivu ng’eno Bebe akyali ku CD, okutuusa Bobi lwe yacwanye n’agamba taddamu kuyimba okugyako nga Bebe avudde ku bya kaliyoki n’akuba layivu, kino Bebe teyakikoleddewo naye oluvannyuma yatandise okukuba layivu.

Olutalo lwa lawundi 11 ezaasoose nga Bobi akuba ekyuma layivu ate nga Bebe ali ku CD, kino kirabwa n’ayonka nti Bobi yaluwangudde.

Ku ssaawa 5:17, Bebe yatandise okukuba ekyuma layivu, yagguddewo n’oluyimba lw’eggwanga n’azzaako Ekitiibwa kya Buganda olwo n’akuba ennyimba nnya okuli ‘Ani y’ani’, ‘Bafudde’, ‘Abakyala Bampangula’ ne ‘Kyokka Mukwano’ nga tasirisizza ndongo ekyalese nga buli muwagizi amunyeenyeza mutwe era eno lawundi teyalabizza ku Bobi.

Bobi obwedda ennyimba ze azoogereramu nnyo era ng’ebigambo bye ebisinga bijerega Bebe, wano bangi baamusaze obubonero ne babuwa Bebe kuba ye teyayogedde nnyo ng’abantu abakuba muziki.

Bobi Wine omubanda wa Kabaka naye yakkirizza nti ye Kadingo eryamuweebwa Bebe

Kyokka abamu bagamba nti Bebe okugenda nga olutalo terunnaggwa nti yapanze kakodyo na poliisi ng’ennyimba zimuweddeko ate nga ye Bobi yabadde tannamalayo zize ekyamuwalirizza n’okulemera ku siteegi. Bw’obuuza ani asinza ennyimba ennyingi, Bobi alyawo Munenemunene.

Empisa:
Bebe yasinzeeko ku mubanda wa Kabaka mu kwolesa empisa kubanga Bobi bwe yalemedde ku siteegi, abaserikale ne bamwebungulula, Bebe yavuddeyo n’agamba nti kale bwe kuba kusinga onsinze, naye va ku siteegi ne yeetoowaza ku lw’emirembe.

BebeCool ng’atuuka mu mmotoka ye eya Hummer.

Bobi Wine yajjidde mu bbaasi ya Pioneer okulaga nti atambula n’abantu

Naye ate mu lutalo bw’okkiriza nti bakuwangudde era baba bakuwangudde.

Enkomerero y’olutalo 
Abalwanyi buli omu yabadde akyawaga, kyokka poliisi n’eyimiriza olutalo ku ssaawa 9:26 ng’aduumira poliisi mu bugwanjuba bwa Kampala Moses Muluya, okuluyimiriza yagambye nti obudde buweddeko. Era singa si ekyo, abalwanyi baabadde bamalirivu okukeesa nga beeraga emiziki.

Bobi ye yasoose okugamba nti agudde mu lukwe lwa Bebe ne poliisi okukomya olutalo, naye n’agamba nti singa poliisi egezaako okukikola, waakiri bajja kumuttira ku siteegi naye tajja kuvaawo kuba akyayimbira bantu be.

Wano Bebe we yaviiriddeyo n’agamba nti, ‘Mundaba ennyambala, eraga nti nkyasobola okugenda mu maaso n’olutalo, naye nze ndi musajja mukulu, Bobi mwana muto mu kukuba emiziki ne mu myaka.

Ekirala omusiru takusiriwaza, kale Bobi tasobola kunsiriwaza ntuuke n’okujeemera poliisi, kye mmulazeeko kimala era nja kwongera okumukakasa e Ntebe”,  Bebe bwe yagambye. Olwamaze okwogera bino n’alinnya Hummer ye n’agenda.

Bebe Cool yakyusizza emirundi musanvu engoye.

Barbie muka Bobi Wine ng’awagira bba. Bobi Wine yakyusizza emirundi esatu olwo n’akuba abawagizi emiziki.

Wano abawagizi ba Bobi kwe kuleeekanira waggulu nga musajja waabwe bw’awangudde nti era Bebe atidde.
Wadde Bebe yabadde amaze okuwanika, Bobi yasigadde ku siteegi, kye yagambye nti amaze okumegga, kati ali mu kuluma.

Okwoleka okuluma kwe, olutalo yaluggye ku Bebe gwe yabadde agamba nti adduse mu lingi n’aluzza ku poliisi okugigoba ku siteegi naye nayo n’eremerawo kwe kutandika okuyimba nga n’abaserikale bali ku siteegi bagugulana ne bakanyama be.

Gye byaggweeredde ng’ayongedde n’ayimbayo ‘Kagoma ka lulendera’, ‘Kataala’ naye zino yayimbyeko kitundu n’amaliriza n’oluyimba lwa ‘Nnyimbira Kabaka wange’ olwaggaddewo olutalo ku ssaawa 9:28, olwo n’alinnya mmotoka Prado ng’eno abawagizi be bwe bagyerippyeko okutuusa lwe yafulumye ekisaawe.

Olulimi
Bebe yayimbye ennyimba eziwerako mu Lungereza, era obwedda agamba nti ‘Bannange Oluzungu luzibu’ kino kyayombezza abantu bangi omuli n’abawagizi be nti by’ayimba tebabitegeera. Kyokka ye Bobi yayimbye Luganda lwokka, ekyalaze nti yabadde amanyi ekikula ky’abantu b’ayimbiramu, wano nawo Bobi yawangudde.

Bobi Wine ng’ali ne Paasita Bugembe ku siteegi

Ebyayolese obunene bwabwe

  • Bebe buli lawuundi obwedda ayimba ennyimba wakati w’essatu n’ettaano.
  • Bobi obwedda awaga era abawagizi ne bakuba enduulu n’okukuma ebiriroliro, ate Bebe ng’abantu tebacamuka nnyo.
  • Bebe yakubye lawundi ya nnyimba nnya nga tasirisizzaamu .
  • Bebe yabadde n’abazinyi abasajja n’abakyala.
  • Buli omu yazze ne bakannyama era buli lawuundi obwedda ze bayimba nga bakannyama baabwe ku siteegi babaawo.
  • Bobi baamuleetedde entebe ey’enjawulo ku siteegi, nga olumala okukooka ng’agwa muli n’awummula.
  • Bobi yabadde ne ba MC basatu okuli Esco Kizito, Dicanio n’omulala ate Bebe yabadde na Mulangira Ndausi.
  • Gagamel Band eya Bebe ye yamukubidde ebidongo, ate Bobi yabadde na Solid Band.

Bebe Cool ne ng'ali ne Paasita Bugembe ku siteegi

Ennyimba ze bayimbye
3:43 Bebe yatandise ne Okunsunansuna, Mambo mingi, He is the Protector ne Talimba Yesu.

3:55 Bobi yakubiddewo layivu, yayingiddewo ne Mazzi mawanvu, Kiwaani ne Ghetto Naziggala.

4:17 Bebe yakomyewo ne Kaamungolo, Ngenderera, If I Wish, Sanyu Lya Mutima Gwange, Kusukusu, Gaetano n’avaawo.

4:28 Bobi n’ayingizaawo In The Dance, Anegaanyi, baayimbye ne Tigan. Olwamaze ne yeecanga nti ne Bebe alina okukuba layivu olwo alyoke addemu ayimbe.

4:39 Bebe akomawo ne Never Trust All People, Fire burns, Kiba kibi luno baaluyimbye ne Sweet Kid, I was in Prison ne Chemical Reaction.

Baanabawala nga batuuka e Lugogo. Wakati Ono mwanamuwala yanyumiddwa endongo n’azibiriza. Bano  abadigize nga batema ddansi mu kivvulu.

Abawagizi ba Bobi Wine nga balaga obuwagizi  bwabwe.

4:50 Bobi yazze ne Maama Mbiire. Wano yeermye okuddamu okuyimba okutuusa nga Bebe akubye layivu waya. 5:00 Bebe yaleesa abaana ba Katalemwa b’ayamba.

5:08 Bobi, kirungi okuyamba abaana ng’abo abali mu bwetaavu naye leero lutalo lwa kuyimba si kusondera baana ssente. Bebe jangu oyimbe totya.

5:17 Bebe yatandise okukuba layivu n’akuba ennyimba nnyanga tasirisizza (Non Stop) okuli Ani y’ani, Bafudde, Abakyala Bampangula ne Kyokka Mukwano era lawundi eno bagyogerako nga mweyasinze okukubira ennyo Bobi.

5:27 Bobi yatandise ne Ono omwana ayagala balaasi lwokka n’adda mu kulumba Bebe.

5:40 Bebe akomawo ne Going so Higher, Obulamu bunyuma ssente.

5:50 Bobi yaymbye Kansubize ne Singa.

Mukyala mukulu omuziki gwamutabudde butabuzi.

6:04 Bebe n’ayimba Born in Africa, Maama w’abaana bange ne Mumugambe.

6:18 Bobi, yasuddemu Oli Musajja nabaki ne Kabaseke.

6:32 Bugembe ajja ku siteegi nga bali ne Bebe n’oluyimba Nangirira, Bamuyita Yesu n’abawa essaala n’agenda.

6:55, Bugembe ate ajja ne Bobi n’oluyimba lwabwe Nandyagadde n’ensaba ku Ssande ne Biriba Bitya nga luno Bugembe yaluyimbye yekka. Yabadde agenda Bobi kwekumugamba ‘Paasita nange mpaayo akasaala, kuba k aka chali tekandyako omukisa, naye nako kasabire ennyumba yaako eggwe’

7:08 Bebe ajja ne Eddie Yawe ku siteegi, n’ayimba OMusajja mu makage. Yawe kwekugamba nti bonna Bebe okuyimba era bonna baana ku ye. Yayimbye Tomuswaza, Trouble ne Guminkiriza.

Abawagizi nga babinuka

7:31 Bobi ne Taata w’abaana, Omukyala bw’akunobangako ne Omukwano gunyuma.

7:49 Bebe ne Bbogolako ne Big Size.

8:02 Bobi ajja ageegenya Bebe, mbu agenze… ayimba Bad man From Kamwokya, Number One ne Njagala obagambe nti nze nkwagala.

8:17 Bebe ayaingirawo ne If you Love me, Akapale ko mwe muli eddogo lyo ne Omwana asunda amata.

8:30 Bobi ajja ne Tube bayonjo ne Kadingo.

8:41 wano yaleese Butchman, Bebe n’ayimba Byolaba Ntuuyo zange ng’eno Butch bw’awuliriza.

8: 53 Bobi yayimbye Mundeke Mbeewo ne Kikomando.

9:14, Bebe yazze ku siteegi n’asiibula abawagizi be n’abagamaba beegweko ku Sande nti kuba poliisi eyimirizza polutalo obudde buweddeko.

9:26 Bobi ayimba Mr. Money, Kataala ne Nnyimbira Kabaka wange. Luno lwa wedde ssaawa 9:32 olutalo ne luggwa.

Bebe Cool ng'ayimba ne Burcherman eyaliko mu Fire Base Crew

Olutalo lw’ebigambo

Olutalo lw’ebigambo olwabaluseewo wakati waabwe Bobi ye yasinze okulufunamu .

Buli obwedda alinnya ku siteegi avuluga munne, Bobi ye yasoose oyo chali Kataala. Ko Bebe, gwe oli Kadingo.

Bobi: ‘Enjaga bw’ekukuba, egenda n’ekulimba nti oli ng’akutte mmundu ng’olowooza akutte fimbo, kino si kyabulimba nammwe mwakirabako gwe jjukira Bebe, manya Kataala gwe baalya Amanda…’

Bebe: Kadingo agamba nti Zuena yagenda lwa bwenzi bwa Bebe, naye Zuena tebamusuuliranga ku mwana. Ko Bobi nti omusajja naawe nga bwe mubimanyi ayinza okugendako ebbali naye, nze Radio wa Goodlyfe simukolimira.

Bobi: Ekitone si bigambo, ye lwaki oyo temumukuba amasasi, abavubuka abakuba ebyuma bafulumya eddoboozi eriringa ery’amasasi.

Bobi: Obadde oyogera bingi ku leediyo, na kati jjangu oyogere nga ndi mu maaso go.

Bobi: Ntandise okwagala Bebe kuba muwagizi wange anti oluyimba lwange kadingo mwe yaggya erinnya ly’ampita.

Bebe: Saagala kalenzi ako, kuba nakayamba nnyo naye tekampa kitiibwa oba lwaki tekamanyi bakulu baako?

Bobi Wine ng’assa abalabi essanyu.

Bobi: Oyo chali asula mu kayumba kabi yasiraana, oba bamutwale mu Goodlyfe. Bebe yalina ssente naye nga mu mukwano fala era bwatyo ne Zuena n’agenda mu goodly...

Bebe: Oluzungu luzibu okuyimba ky’ova olaba nga oyo Kadingo talusobola.

Bebe: Obulamu bunyuma ssente nze Bebe  nnyirira ssente, Bobi asiiwuuse lwa butaba na ssente. ngula mmotoka ezitavaako bampa lwa ssente.

Bobi: Bebe agezze amanakunaku, Bobi gye mbeera walaga ssente, e Busabaala walaga ssente. Ye abeera wa Dadi e Kiwatule.

Bebe Cool ng’azina amazina Amaganda.

Bobi: Barbie yagaana abaana ba minisita bonna n’asalawo okugenda n’omulaasi.

Bobi: Oli yala, tolina mpisa ate olina emirimu gy’otokola, kino kye kyavaako Zuena okugenda. Chamili yawulira n’akyusa kyokka Kataala agamba nze nvaako.

Bebe: Zuena ali mu Amerika agenda kuzaala mwana wa Bebe.

Omuwanguzi alangirirwa nkya ku Resort bbiici e Ntebe.
                                     

Abantu basazeewo ku Bebe ne Bobi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo alonded...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...