TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka acamudde Obuganda ng''atongoza egy''amasaza

Kabaka acamudde Obuganda ng''atongoza egy''amasaza

Added 7th May 2012

OMUPIIRA ogwaguddewo empaka z’amasaza, gwavuddemu obukadde 30. Ensimbi ezo zigenda kwongerwa okuyamba mu kumaliriza ekisaawe kya Ssingo.

Bya LWANGA KAMERE

Ebikulu ebyabadde mu mipiira gy’amasaza

1. OMUPIIRA ogwaguddewo empaka z’amasaza, gwavuddemu obukadde 30. Ensimbi ezo zigenda kwongerwa okuyamba   mu kumaliriza ekisaawe kya Ssingo.

2. Ttiimu ya bammemba ba palimenti ab’akabondo ka Bunganda eyakulembeddwa ssentebe waabwe, Godfrey Kiwanda yalemaganye n’eya baddiifiri (1-1) mu gwaggye abagenyi ekifu ku maaso. Muhammad Nsereko (Kampala Central) yateebye ey’ababaka ate Fred Kasenge n’atebeera baddiifiri.

3. Omubaka omukazi (Luweero), Brenda Nabukenya yalaze ekitone mu ggoolo bwe yasirisizza ennyanda n’asanyusa Ssaabasajja n’abagenyi abalala.

4. Abawagizi ba Buweekula baajereze Ssingo nti essira baasinze kulissa mu kuzimba kisaawe ne beerabira okuzimba abazannyi abandibatuusizza ku buwanguzi era kye baavudde baswala mu maaso ga Beene.


Abawagizi b’omupiira nga bawagira ttiimu zaabwe. Ekif: Benjamin Ssebaggala


Ssaabasajja ng’asika abazannyi ba Buweekula mu mikono. Ekif: Silvano Kibuuka

5. Akabondo k’abawagizi ba Ssingo baatabukidde omutendesi waabwe, Wasswa Bbosa olw’okutendekera ttiimu yaabwe mu Kampala kye bagamba nti kyabaviiriddeko okuwangulwa kuba abazannyi tebamanyidde kisaawe ekyo.

6. Abawagizi abaafuye ffirimbi  be baaviiriddeko Buweekula  okuteeba ggoolo eyookubiri, abazanyi ba Ssingo baabadde balowooza nti ddiifiri Brian Nsubuga, y’afuuye nti waliwo akuumye kyokka Baker Lukoya (Buweekula) n’ateeba ggoolo.


Kabaka ng’abuuza ku bazannyi ba Ssingo. Ekif: Benjamin Ssebaggala

7. Ebiyitirirwa 32 bye byazimbiddwa okuva e Busega okutuuka e Mityana owaabadde omupiira.

8. Anaasinga okuteeba mu mpaka zino waakufuna poloti y’ettaka sso ng’anaasinga empisa waakubuukayo n’eggaali empya.


Omuteebi wa Buweekula (ku kkono) ng’attunka n’owa Ssingo. Ekif: Silvano Kibuuka


Omubaka Muhammad Nsereko ng’atonteza omupiira. Ekif Silvano Kibuuka


Abawagizi ba Buweekula nga basitudde omuzannyi waabwe oluvannyuma lw’okuwangula Ssingo. Ekif: Silvano Kibuuka

9. Omuzannyi wa Ssingo, Solomon Lwanga yawadde Ssaabasajja ebbaasa  ng’alambula ennyiriri naye abeebyokwerinda  ne bamulyawo kyokka oluvannyuma baamutadde ne bamulabula obutaddamu kuwa Beene birabo.
 

Ebikulu ebyabadde mu mipiira gy’amasaza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu