TOP

Baddereeva bagobye KCCA mu ppaaka

Added 22nd May 2012

BADDEREEVA ba ttakisi mu paaka enkadde n’empya bavudde mu mbeera ne balemesa abakozi b’ekitongole kya KCCA abaabadde basindikiddwa okuddamu okusolooza ssente za lisiiti.

Bya Eria Luyimba zi ne Henry Ssennyondo

BADDEREEVA ba ttakisi mu paaka enkadde n’empya bavudde mu mbeera ne balemesa abakozi b’ekitongole kya KCCA abaabadde basindikiddwa okuddamu okusolooza ssente za lisiiti.

Abakozi ba KCCA baakedde kukwata bijegere ne baggala emiryango gyonna egifuluma paaka zombi ne batandika okubuuza baddereeva lisiiti z’okusasula ssente 120,000/- eza buli mwezi.

Kino kyaggye baddereeva mu mbeera basindikiriza abakozi ba KCCA ne babagoba ku miryango nga bagamba nti baawaaba omusango mu kkooti nga beemulugunya ku ssente zino kyokka nga baalabiddewo nga babaagaza okusasula
ssente.

Ssentebe w’ekibiina kya baddereeva ne bakondakita, Mustapha Mayambala yagambye nti ye ne banne baatwala omusango mu kkooti nga beemulugunya ku ssente emitwalo 12 wabula KCCA ebadde tennawaayo kwewozaako kwayo ate ezze mu kusolooza ssente.


Dudu eyakutte omuliro mu paaka enkadde ku siteegi y’e Mengo.

Yagambye nti omusango guno baagutwala mu kkooti nga May 17 nga bayita mu balooya ba Matovu & Matovu Co. Advocates nga bagamba nti ssente emitwalo 12 KCCA z’ebaggyako tezaayita mu mateeka ng’ate n’akakiiko akakola ku kukuzisolooza tebaakakkaanyaako kuba abasinga tebakola mu ttakisi.

Oluvannyuma abakozi ba KCCA eby’okusolooza ssente baabivuddeko ne bagamba nti ensonga baabadde basazeewo kuzitwalira bakama baabwe.

Ate baddereeva ba takisi ne bakondakita baabunye emiwabo takisi ey’ekika kya “Dudu” nnamba UAE-910R ku siteegi y’e Mengo bwe yakutte omuliro n’esaanawo. Poliisi y’ekitongole ekizikiriza omuliro we yatuukidde ng’emmotoka esaanyeewo.

Baddereeva bagobye KCCA mu ppaaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...