TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayizi b''e Makerere bakoze ekyuma ekiketta bbomu

Abayizi b''e Makerere bakoze ekyuma ekiketta bbomu

Added 4th June 2012

ABAYIZI abakayingizibwa mu yunivasite e Makerere bakoze Robot gye esibwako ekyuma ekiketta bbomu ng’akikozesa takikutteeko wabula okukitambuliza ku kompyuta.

Bya Benjamin Ssebaggala

ABAYIZI abakayingizibwa mu Yunivasite e Makerere bakoze Robot esibwako ekyuma ekiketta bbomu ng’akikozesa takikutteeko wabula okukitambuliza ku kompyuta.

Abasatu bano ye Alvin Kabwama, David Tusubira ne Nigel Kinyera Okot nga baatudde S.6 mu St. Mary’s College Kisubi omwaka oguwedde era bagamba nti mu kaweefube w’okuukiriza ekirooto kyabwe kino bayambiddwako Prof. Tickodri Togboa ow’ettendekero lya tekinologiya e Makerere.

Abasatu bagamba nti kibazibuwalidde okuzimba ekyuma kino okukimaliriza kubanga tebalina ssente zimala kugula bikozesebwa ebiri ku buseere ate nga n’ebimu tebiri mu ggwanga.

Ekyuma baakiraze mu lukung’aana lw’abamawulire e Makerere ku Mmande. Tusuubira n’ategeeza nti ekyuma kisobola okukola emirimu naye tebalina ssente zigula kyuma ekiketta bbomu kye bagamba nti kigula ssente ezisukka mu mitwalo esatu egya ddoola.


Okuva ku ddyo: Alvin Kabwama, David Tusuubira ne Nigel Kinyera Okot abaakoze Robort. Ekif: Benjamin

Ekyuma kirina zi mmota ezikitambuza, kirina eryanda, kiriko magineeti esobola okukwata ekyuma n’ekisitula, kiriko emipiira 4 gye kitambuza, kiweta amakoona n’okutambula eky’ennyumannyuma, bakifugira ku kompyuta nga bakozesa amayengo ga 'Bluetooth'.

Kabwama agamba nti tekinnaba kusobola kusitula bizito wabula nga bwe babeera bayambiddwa okufuna ebikozesebwa basobola okuzimba ekinene ekisobola okukola emirimu egy'amaanyi.

Abavubuka nga bagezesa 'Robot' gye baakoze. Wano baabadde Makerere ku Mmande. Ekif: Benjamin Ssebaggala

Bonsatule baaweereddwa ebifo e Makerere okusoma ebya tekinologiya okutandika n’olusoma olujja.

Abayizi b''e Makerere bakoze Robot

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...