TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaana 5 abaayidde: Kabenje oba fitina y'amasomero!

Abaana 5 abaayidde: Kabenje oba fitina y'amasomero!

Added 28th June 2012

POLIISI olutuuse ku ssomero n’ekwatirawo nnannyiniryo ne heedimasita ng’ebalanga ebigambibwa nti baasibidde abayizi mu kisulo ng’omuliro gutuntumuka bwe baabadde bagezaako okuguzikiza mu nkukutu era abadduukirize geeti baagimenye bumenyi.

Bya ALI MAMBULE

POLIISI olutuuse ku ssomero n’ekwatirawo nnannyiniryo ne heedimasita ng’ebalanga ebigambibwa nti baasibidde abayizi mu kisulo ng’omuliro gutuntumuka bwe baabadde bagezaako okuguzikiza mu nkukutu era abadduukirize geeti baagimenye bumenyi.

Mu ngeri y’emu abakulira ebyenjigiriza ne poliisi kyabakubye encukwe bwe baakizudde nti abamu ku bayizi abaasangiddwa abaafudde baabadde ba nnasale nga ba myaka mito nnyo ekintu ekitakkirizibwa mu byenjigiriza bya Uganda. 

AMANNYA G’ABAAAFUDDE

Bo abayizi abaafiiriddewo  mu nabbambula w’omuliro eyakutte essomero lya Leo’s Junior PS erisangibwa mu Nyendo mu kibuga ky’e Masaka bali bataano. 

 Abaafudde  be ba:  Sedrak Zziwa (4)  mutabani wa Isaac Kazibwe ne Ernest Ssali (4) mutabani wa Richard Kawuki bano bombi nga ba nnasale.  

Musaazi Kyobe (7) mutabani wa Margaret Ddungu, Mathias Galiwango mutabani wa Paulo Musoke ow’e Kyabadaaza ne Timothy Nsubuga mutabani wa Kizito Kanyike ow’e Budda, Bokomansimbi.

Bano babadde basula mu kisulo kya Constance n’ekya Damian byombi ebyakutte omuliro nga bano baasiridde kumpi kufuuka bisiriiza.

Ebisulo bino byombi bya bayizi abasoma ekibiina ekisooka era babadde basukka mu 180 era nga kino n’eky’okuggala ggeeti ne baagala okukola ebintu mu nkukutu byaggye omuduumizi wa poliisi mu bukiikaddyo, Simon Peter Wafana mu mbeera n’alagira omukulu w’essomero ne nnannyiniryo bombi okukwatibwa obunnambiro.

AKULIRA POLIISI AYOMBA   “Buno obulagajjavu obwekika kino tetujja kubukkiriza era bombi bateekeddwa okubaako ne bye bannyonnyola ku ngeri gye babadde basuzaamu abaana bano,” Wafana bwe yakangudde ku ddoboozi bw’atyo n’alagira basajja be okukwata Leonard Sserwanja nnannyini ssomero ne Elly Kiyingi alikulira era bombi ne batwalibwa ku kitebe kya poliisi e Masaka okwennyonnyolako.

Ebisulo by’abayizi b’essomero lino birimu ebitanda ebifuutiike ennyo nga kyenkana buli kimu kiri ku kinnaakyo Wafana ky’agamba nti tekisobola kuwa mukisa baana kusimattuka kufa singa wabaawo akabenje konna ne bwe katabeera ka muliro.

“Guno gwabadde mukisa bukisa okulaba ng’abaana baafudde bataano bokka kyokka okusinziira ku kyendabye bandifudde n’abangi okusukka kw’abo,” bwe yakkatirizza.

Omudduukirize attottola Omu ku baasoose okutuuka ku ssomero lino ng’omuliro gwakakwata, Joseph Sewannyana, yategeezezza Bukedde nti bakira abaana bafulumira mu butuli obwassibwa mu madirisa agali ku bisulo bino.

 “Kyokka metulooni w’abaana bano, Asiimwe, yakoze kinene nnyo okutaasa obulamu bwabwe era abasinga ye yalwanye okukakasa nga bafuluma nga tebatuusiddwako bisago,” Sewannyana bwe yategeezezza.   Asiimwe apooceza mu ddwaaliro e Masaka n’ebiwundu eby’amaanyi nga byavudde ku muliro guno.

Kiyingi yategeezezza nti baagezezzaako okulwanyisa omuliro nga bakozesa akuuma akapika amazzi mu ttanka z’ebisulo bino era nga kino baakikoze luvannyuma lwa kulinda poliisi ezikiriza omuliro nga terabikako.

Kyokka Wafana bwe yamukazizza okwogera ennamba za poliisi ze yakubyeko nga tazirina kwekukakasa ebyabadde bigambibwa abatuuze nti abaddukanya essomero lino baagezezzaako okugulwanyisa nga basibyewo tebakkiriza muntu yenna kubayamba era ne tebaabuulidde poliisi okutuusa lwe gwamaze okubalemerera

“Eyo y’emu ku nsonga lwaki nsazeewo okumukwata ne nannyini ssomero lino era nga kye njagala bayige obuvunaanyizibwa ate babeere eky’okulabirako eri abaddukanya amasomero amalala,” Wafana bwe yagambye.

Bbo abamu ku bazadde ng’abaana baabwe tebaakoseddwa mu muliro guno baasazeewo okubazza eka era we bwawungeeredde nga ku bayizi abasoba mu 1,000 abali mu ssomero lino wasigaddewo nga 200.

Leo’s Junior PS ly’erimu ku masomero agasinga okukola obulungi mu Masaka Munisipaali mu bigezo bya PLE era ng’abazadde b’abaana abasomerayo omuntu be yandigambye nti baliko bwe bali mu ngeri ya ssente.

Abatasulayo ku ssomero bbo babeera na bbaasi ezibavuga okubanona mu maka g’abazadde baabwe okubatwala ku ssomero ate ne zibazzaayo ekawungeezi nga bamaze okusoma.

Guno mulundi gwakubiri ng’essomero lino likwata omuliro era omulundi ogwasooka lyaggya mu mwaka gwa 2010 era olusoma lwali lwakubiri kyokka nga ku mulundi ogwo tewali mwana yenna yafiiramu.

 

Omumyuka wa Pulezidenti Edward Ssekandi ng’alambula ekisulo ky’abayizi ekyayidde.

Omukulu w’essomero lya Leos Junior Elly

Kiyingi (ku kkono) ne nannyini lyo LeonPoliisi

n’abadduukirize ard Serwanja nga batwalibwa ku poliisi .


 

Abaana 5 abaayidde: Kabenje oba fitina y’amasomero!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...