
Bya Ahmed Kateregga ne Paul Watala
KATIKKIRO wa Uganda, Amama Mbabazi atuuse e Buduuda mu Bugisu gy’atumiddwa mukama we Pulezidenti Museveni okukubagiza abafiiriddwa abaabwe mu kubumbulukuka kw’ettaka.
Ebimotoka bya tingatinga eby’ekitongole ekikola enguudo nabyo bituuse e Buduuda okuyiikuula ettaka okuggyayo emirambo gyonna egyaziikiddwa oluvannyuma lw’okuggyayo abantu abalamu 10 bokka.
Minisita avunaanyizibwa ku bigwa bitalaze Dr. Stephen Malinga yategeezezza Palamenti eggulo nti olukiiko lwa baminisita olwatudde eggulo lwataddewo akakiiko nga kakubirizibwa omumyuka owokusatu owa Katikkiro, Lt. Gen. Moses Ali kakole ku nsonga eno.
Yagambye nti abantu 18 be baakakasiddwa nti battiddwa mu maka 15 olw’okuba ettaka lyabumbulukuse ku lunaku lw’akatale ku Mmande, ng’abantu abasinga baabadde bagenze mu katale ate nga n’abaana baababadde ku ssomero.
Amaka 70 ge gamaze okwetegerezebwa ne galagirwa okusenguka, ate ng’abantu 220 be baasigadde nga tebalina we bayegeka luba.
Tingatinga zituuse e Buduuda okuggyayo emirambo egyabuutikiddwa ettaka