TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Maureen Nantume by'asubiddwa olw'obutakula na kitaa we

Maureen Nantume by'asubiddwa olw'obutakula na kitaa we

Added 3rd July 2012

DENNIS Sekiziyivu (54) musuubuzi mukuukuutivu e Mityana era musajja eyeesobola mu by’ensimbi. Ssemaka awedde emirimu anti alina abakyala basatu, amaka asatu n’abaana 18.

Bya KIZITO MUSOKE
 
DENNIS Sekiziyivu (54) musuubuzi mukuukuutivu e Mityana era musajja eyeesobola mu by’ensimbi. Ssemaka awedde emirimu anti alina abakyala basatu, amaka asatu n’abaana 18.
 
Kati omusajja nga Ssekiziyivu, azaala atya omwana, omwana n’akula n’afuna ettutumu mu ggwanga n’atuuka n’okuzaala mwana munne,  nga taata ( Ssekiziyivu) tamanyi nti alinayo omwana era omwana oyo ow’ettutumu ddala mwanawe?
 
Oba olowooza nti tekisoboka buuza Ssekiziyivu kubanga muwalawe  omuyimbi Maureen Nantume, owa  Eagles Production, yaakamuzuula nti muwalawe ddala wano jjuuzi mu 2010.
 
Mu maka ga Sekiziyivu agasangibwa ku kyalo Kibibigalaji e Mityana, nasanze mutimbiddwaamu ebifaananyi bya Nantume ng’ali ne baganda be.
 
Sekiziyivu bw’omubuuza ku bya famire ye, akunyumiza n’essanyu  bakyala be abasatu n’abaana 18. 
 
Agamba nti “ Nzaalibwa ku kyalo Bukanaga mu ggombolola y’e Busimbi mu disitulikiti y’e Mityana. Bazadde bange be bagenzi Henry Kiggundu ne Tereza Nakanwagi.
 
Kitange okuweerera yali takutwala nga nsonga, era mmange ye yalwananga okulaba ng’atunoonyeza fiizi ze yaggyanga mu kuyiisa omwenge. Bwe natuuka mu P.6,  ssente ne ziggwaawo era okusoma kwange we kwakoma.
 
Olwokuba ewaffe kumpi n’ennyanja Wamala, natandika okwenyigira mu buvubi nga bwe nsala n’emiti. Bwe nalaba ssente ziwezeewo kwe kutandika okusuubula ebyennyanja nga bwe mbitunda mu  Mityana.
 
Mu 1987 natandika edduuka mu Mityana kwe nagatta emmotoka ekola sipensulo anti atega ogumu taliira.
 
Mu kiseera ekyo mu myaka gya 1990, nali musambi wa mupiira kafulu mu tiimu ya Mityana Express, era kino kyampa nnyo ettutumu mu bantu.
 
                                                                                                                 Muganda wa Nantume eyayanjula
 
Kati ntunda dduuka lya birime kuno kwe ngattiriza n’okulima.
 
Ekisinze okunnyamba kwe kuba nga amazima ge nkulembeza mu mulimu gwange. Ebiseera ebimu abantu bampa ebyamaguzi byabwe ne sibasasula oluvannyuma ne banona ssente zaabwe.
 
Ekirala obugumiikiriza kikulu, kuba okutuuka  wano we tuli tukoledde emyaka egiwera 30. Abavubuka mbakubiriza obutanyooma mirimu, kuba tomanya Mukama ayinza okuba mwe yakutegekera okukuyisiza.
 
‘Abaana bange amala okusoma y’ayanjula’
 
 “Nnina abakyala basatu abatongole n’abaana 18, era bakyala bange bonna bannyanjula mu bakadde baabwe. 
 
Bato ba Maureen Nantume nga bali ku mukolo gw’okwanjula.
 
Mukyala mukulu ye Rose Sekiziyivu abeera e Bukanaga, Rebecca Sekiziyivu abeera ku kyalo Kibibigalaji ne Agnes Nakayiza ow’oku kyalo Kigoogwa.
 
Nnina okwenyumiriza mu baana bange, kuba mbaweeredde bonna era nga mu kiseera kino abakulu abana baafuna diguli, abasatu balinze kutikkirwa, ababiri bakyali ku yunivasite ate ng’abalala basatu bagenda Makerere omwaka guno.
 
Okuva kitange bwe yagaana okumpeerera, nasalawo okuweerera abaana okukitwala nga kikulu, kuba nakizuula  dda nti  obutasoma buluma okuze. Mukama akyannyambye kuba mu baana bange tewali agaanyi kusoma era ng’asembayo obuto wa myaka ebiri.
 
Ekirala abaana bange bonna Katonda annyambye amala okusoma y’ayanjula kuba bw’aba agenda ku yunivasite mmukuutira okufuna omusajja, okusinga okumala ne batandika okutawaanya bak’abandi, oba okukulira awaka nga kinneetaagisa kubanoonyeza ababawasa.  
 
Mu maka gange abaana bonna mbakuzizza nga bali omuntu omu. Nakisalawo nti emikolo gyonna egikolebwa tugiteeka mu maka gamu g’e Bukanaga, kuba ge maka amakulu era nga njagala nnyo gibeere ku kyalo kwe nzaalwa nabo banyumirwe.
 
Sejjusa kuwasa bakyala bangi kuba bakuzizza bulungi abaana yadde buli omu namuzimbira amaka agage, yonna bamanya nti waabwe era beetaaya. 
 
Okusoomozebwa Maureen Nantume kw’alina ku kika ekiggya:
 
Nantume azze nga mukazi mukulu alina n’omwana alina obuzibu bw’okukyusa erinnya, anti erya Nantume lya Mbogo, era Ssekiziyivu yakkirizza nga bwe yamutuuma erinnya eddala ery’Enkima kyokka nga tayagala kulyogera.
 
Baganda ba Nantume bayivu ba diguli, alina okusoomoozebwa okulaba nga ye eyakoma mu S.3, afuna engeri gy’abagyamu.
 
Alina omukisa nti ekika ky’azzeemu, kya bantu bafunyi era nga naye tali bubi mu byenfuna, wabula engeri y’okweyabiza abantu b’olabye obukulu nga baganda bo si kyangu.
 

Maureen  Nantume n’abamu ku bato be.
 
Baganda ba Nantume abatakyasoma, bonna baafumbirwa era ne banjula, kino kitegeeza nti Nantume alina ebbanja ly’okulaga omusajja mu bazadde be. Nantume gye buvuddeko yategeeza Bukedde nga bw’atali mufumbo era tanoonya era ng’ekiseera kye eky’okufuna omusajja bwe kiriba kituuse alimubalaga.  
 
Engeri Nantume gye yazuulamu kitaawe
 
Nantume ne kitaawe bombi tebaagala kwogera ku ngeri gye baazuulaganamu nti taata na mwana. Abamu ku bantu abali ku lusegere lwa famire bantegeezezza nti Sekiziyivu yatuuka n’okusasula Nantume agende ayimbe ku mukolo gwa muwalawe omu eyali ayanjula nga tategedde nti gw’asasudde okuyimba muwalawe! Bagamba nti omukolo guno gwabayamba kuzuulagana kyokka lwatandika ng’olugambo ng’abantu bagamba nti omugole afaanana omuyimbi (Nantume).
 
Wano mwannyina wa Sekiziyivu, ssenga wa Nantume ensonga yasalawo okuziyimiriramu ng’ayagala omwana adde ku kika.
 
Kigambibwa nti Sekiziyivu yasooka kugaana era okumukkirizisa baamala kugenda ku musaayi ne gukakasa nti ddala Nantume muwalawe.
 

Maureen Nantume ne muwala we.
 
Ebibuuzo ebitaanukulwa
  • Nantume ne kitaawe Sekiziyivu okugaana okwogera ku nsonga eno kireka ebibuuzo bino wammanga nga tebiddiddwamu.
  • Nantume okulwawo okuzuula kitaawe musango gw’ani?   
  • Nsonga ki ddala eyagaana nnyina wa Nantume, Regina Nakitende okwogera kitaawe wa Nantume, bazadde be n’abooluganda ne bamubuuza kyokka n’agaanira ddala okwogera ku musajja Munnamityana ow’erinnya bw’ati?
  • Kyajja kitya Sekiziyivu okupangisa Nantume amuyimbire ku mukolo ewuwe, mu bayimbi bonna abali mu ggwanga abayimba ku mbaga? Kaali kakodyo ke okusembeza omwana gwe yali yagaana edda mu famire?
  • Sekiziyivu kiki ekyamugaana okulondoola omusaayi gwe, omwana n’atuuka okukula n’azaala mwana munne nga tamumanyi nti wuwe?
  • Nantume ne kitaawe Sekiziyivu okugaana okwogera ku ngeri gye baasisinkanamu, kiki kye bakweka? 
  • Kiki ekyanyiiza nnyina wa Nantume  n’atuuka okufa nga tayogedde musajja gwe yazaalamu mwana era nga Nantume bw’anyumya buli jjajjaawe lwe yabuuzanga nnyina ebikwata ku kitaawe (owa Nantume) nga nnyina anyiiga? Omuzadde ddala kiki ekiyinza okumutuusa ku kino? 
  Ggwe omusomi olowooza otya? Wandiika ekigambo FAMIRE olekewo akabanga ozzeeko ekirowoozo kyo okiweereze ku 8338.

Maureen Nantume by’a subiddwa olw’obutakula na kitaa we

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...