TOP

Chameleone abbyeeko Kusasira sho

Added 8th July 2012

JOSE Chameleone ye yasoose ku siteegi mu ‘lonki’ ya Catherine Kusasira n’acamula abantu ne bagwa n’ebigwo ng bw’agamba nti ‘kasita Kusasira kennyini ye yamweyitidde kaamubbeko ‘sho’ ekyataamudde Kusasira eyabadde tannalabika ku sitegi okuva gye yabadde n’asuulamu oluyimba olwasombodde abantu okujja

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

JOSE Chameleone ye yasoose ku siteegi mu ‘lonki’ ya Catherine Kusasira n’acamula abantu ne bagwa n’ebigwo ng bw’agamba nti ‘kasita Kusasira kennyini ye yamweyitidde kaamubbeko ‘sho’ ekyataamudde Kusasira eyabadde tannalabika ku sitegi okuva gye yabadde n’asuulamu oluyimba olwasombodde abantu okujja ku siteegi.

Muno mwe mwabadde omuwagiziwe eyabadde yeetala ku siteegi ng’amufuuwa ssente eyagudde ekigwo ku siteegi abantu ne bafa enseko nga bwe bamulangira kabandabe.

Olwo ekivvulu kya ‘laavu ttenda’ kyabadde kikutte akati. Wabula ekizibu kyavudde ku bawagizi kulemera ku Fred Sserugga eyali bba wa Kusasira ne bakaka Kusasira amuyite ajje ku siteegi n’agaana olwo Kusasira n’atandika kuwaana musajjawe omupya ate abantu ne batandika kumubuuza n’oyo omupya gy’ali.

Oluvannyuma Sserugga yazze n’ayimba ennyimba ezikoona mukaziwe omuli ‘Enkola ya booda’ ne Kusasira nga bw’amuddiza nti, ‘Enkola ya takisi’ n’endala omuli ‘Wafuuka bikadde’ ezassizza abantu enseko. Abagenyi abakulu mwabaddemu Capt. Mike
Mukula, Amelia Kyambadde n’abalala.

Kusasira ne Mayinja nga bakoona ddansi mu lonki ya Love ttenda.

Minisita Amelia Kyambadde ne Capt. Mukula abaabadde abagenyi abakulu.

Chameleone abbyeeko Kusasira sho

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....