TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Kyebando balumiriza poliisi okubasaba ssente

Ab'e Kyebando balumiriza poliisi okubasaba ssente

Added 10th July 2012

ABATUUZE b’e Kyebando Kisalosalo bakukkulumye olw’abaserikale ba poliisi y’omu kitundu be balumiriza okubasaba ssente okuli ez’entambula okusobola okukola ku nsonga zaabwe.

Bya Eria Luyimbazi

ABATUUZE b’e Kyebando Kisalosalo bakukkulumye olw’abaserikale ba poliisi y’omu kitundu be balumiriza okubasaba ssente okuli ez’entambula okusobola okukola ku nsonga zaabwe.

Bino baabitegeezezza akulira ekitongole kya poliisi ekitabagana n’omuntu waabulijjo mu Kampala n’emiriraano, Anatoli Muleterwa gwe baagambye nti abaserikale bano basussizza okubasaba ssente basobole okubakwatira abazzi b’emisango.

“Kyennyamiza okugenda ku poliisi n’oggulawo omusango ng’omuntu yeetaaga okukwatibwa naye ate abaserikale ne basooka bakusaba ez’entambula simanyi oba kikkirizibwa,” Rose Namara bwe yeebuuzizza mu lukiiko olwatudde ku Lwomukaaga.

Yagambye nti kino kibalemesezza okuddayo ku poliisi okuggulawo emisango ku bantu abakyamu kuba tebaba na ssente zaakubasasula.

Yategeezezza nti ebiseera ebimu bayita abaserikale okugenda awali obuzibu kyokka ne balwawo okusitukiramu nga kino kireetedde obumenyi bw’amateeka n’ettemu okweyongera.

Wabula Muleterwa yategeezezza abatuuze nti  tewali ssente yonna erina kuweebwa muserikale kuba baliwo kuweereza bantu nga babakuuma n’ebyabwe ng’asaba ssente aba amenye mateeka era yeetaaga kukangavvula.

“Temuddayo kusasula baserikale ssente yonna kuba baliwo kubaweereza era abawaayo ssente mwe mubamanyiizizza era mukikomye,” bwe yagambye 

Yagasseeko nti abaserikale abamu tebaagala kukola era nga be bamu abasaba ssente n’ategeeza nti abamu babazzizzaayo mu ttendekero lya poliisi e Masindi bongere okubangulwa.

Yategeezezza nti mu nteekateeka  empya ze balina, buli Muluka oguli mu Kampala gugenda kufuna poliisi eyeetongodde nga kino bakikoze okusobola okusembeza empeereza za poliisi okumpi n’abantu. 

Yasabye abantu obutasirikira bakozi ba bikolobero n’okuloopa abaserikale ababayisa obubi basobole okubakangavvula.

Ab’e Kyebando balumiriza poliisi okubasaba ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa Sipiika wa Pala...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n’entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti...

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...