Bya J.B MULYOWA
KU Lwokutaano oluwedde, Cabineti yatudde n’esemba okukutula mu Disitulikiti ey’e Rakai okufunamu Disitulikiti endala eyeetongodde nga Pulezidenti Museveni bwe yasuubiza Kamuswaaga wa Kooki, Apollo Sansa Kambumbuli.
Kamuswaga yasaba Kooki eyeetongole okuva ku masaza amalala okuli: Kakuuto ne Kyotera agabadde gakola Disitulikiti y’e Rakai.
Ku Lwomukaaga Minisita wa Gavumenti Ezeebitundu, Adolf Mwesige yagenze e Rakai okusisinkana abakulembeze ba Disitulikiti okubanjulira amawulire gano era ne bakkiriziganya nti Disitulikiti etuumibwe Kyotera Disitulikiti ng’ekitebe kyayo kyakubeera mu kitebe ky’Essaza e Kasaali okumpi ne Kyotera Town Council.
MINISITA YEETONDERA KAMUSWAGA
Minisita Mwesige yasoose kusisinkana Kamuswaga mu Lubiri lwe e Rakai n’amwanjulira obubaka okuva ewa Pulezidenti nti Cabineti, yakkirizza Disitulikiti nga kati ekisigadde kutwalibwa mu Palamenti era n’amusuubiza nti Disitulikiti yaakutandika mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja.
Minisita yeetondedde Kamuswaga ku butakkaanya obubaddewo wakati we n’abakulembeze b’ekibuga kye Rakai nga kino kyaava mu bakozi ba Gavumenti abaakulemberwa Town Clerk Dan Ssamula okulumangana naye nga baagala okumulemesa okusala embaawo mu miti egiri mu kibira ekiri okumpi ne Disitulikiti kw’ossa okwagala okumugaana okuzimba ekizimbe nti talina pulaani kyokka nga by’akola bikulaakulanya bantu be.
Minisita ng’ayogera eri abakulembeze ba Disitulikiti y’e Rakai. Addiriddwa Ssentebe Mugabi (ku ddyo). Ku kkono ye RDC Kaboyo.
ENKAAYANA ZITANDISE
Enkaayana ezitandise ku kugabana ebifo naye olutalo olw’amaanyi luli wakati wa Katikkiro wa Kooki, Ananius Sekyanzi n’abamu ku batuuze n’abakulembeze mu magombolola okuli Kifamba ne Kibanda nga gano mu byobufuzi gabadde mu Ssaza ly’e Kakuuto kyokka mu byobuwangwa gali mu Kooki era Kamuswaga agamba galina kubeera ku Disitulikiti y’e Rakai esigalawo kyokka abatuuze baagala kugenda Kyotera!
EKITEBE
ABAKULEMBEZE mu Kyotera ne Kakuuto beevumbye akafubo ne boogera ebisongovu ng’abamu baagala ekitebe kibeere Kasasa mu Kakuuto ng’abava e Kyotera baagala Kasaali mu Kyotera. Bakkaanyizza kibeere Kyotera ne bawera okusitula olutalo mu kugabana ebifo by’obukulembeze.
Kooki efunye Disitulikiti