TOP

Abatujju lwe baakuba bbomu mu Kampala

Added 11th July 2012

Abebyokwerinda baamanya ebula ennaku 2, lwaki tebaatulabula!

LEERO nga July11 lwe giweze emyaka ebiri, bukya batujju ba al-Shabaab batega bbomu ezatta abantu 81 mu Kampala n’okulumya abalala bangi.

Kalondoozi wa Bukedde alaga ebiwaatwa egiri mu byokwerinda bya Uganda ebyavaako abantu abangi bwe batyo okuttibwa. 26 Bukedde Lwakusatu July 11, 2012 Zaali essaawa nga 4:00 ez’ekiro, abantu nga bagenze okulaba fayinolo wa World Cup wakati wa Netherlands ne Spain ku olwo olwa July 11, 2010 bbomu ne zibakuba!

Abaagenda oklw’essanyu, olunaku we lwazibira nga batono abaali bagenze e Lugogo mu Kyadondo Rugby Club oba e Kabalagala ku Ethiopian Village abaategeera nti Spain yali ewangudde 1-0.

Eggwanga lyonna lyali ku bunkenke, bakomando abatendeke mu bukodyo bw’okunoonya abatujju baayiibwa mu Kampala, abalala baava Amerika nga baweerezeddwa ekitongole kya FBI, ekimanyiddwa mu mulimu gun. Abantu 81 be baafa ku olwo, abalala bangi ne batuusibwako ebisago eby’amaanyi, na buli kati bakyanyiga biwundu.

Poliisi yakwata abantu 19 n’ebavunaana emisango 89 mu maaso g’omulamuzi Deo Sejjemba mu kkooti e Nakawa kyokka we twogerera bino nga 12 bokka be bakyavunaanibwa.

Ku 19, babiri bakkiriza omusango ne babasiba, bataano waabulawo obujulizi ne babejjeereza. Ebyokwerinda bikyuseemu Ebifo awakung’aanira abantu abangi nga ppaaka za takisi, eza bbaasi, obutale, amasinzizo, ebifo ebisanyukirwamu, amaduuka amanene n’ebirala byassibwako obukuumi obwenjawulo.

Buli ayingira asooka kwazibwa, wabula wadde baaza kulinga kwa kiguumaaza! Bw’otunuulira obutale nga Owino omuyingira abantu abasoba 10,000 buli lunaku, ddala singa bbomu etulika nga mw’oli osobola okuwona?

Ppaaka za takisi naddala enkadde, buli wamu wasobola okuyingiza omuntu bw’obeeramu obulamu bwo bubeera wa? Bbaasi ezizze mu Kampala era ezisaabaza abantu abangi ani azikuuma?

Oluvannyuma lwa bbomu okutta abantu mu 2010, Poliisi yatandika okusomesa abantu babulijjo ebikwata ku bbomu, engeri gye zirabikamu n’engeri y’okwetaasa era n’eraga n’ebintu omusinga okutambulizribwa bbomu omuli essimu, amasaawa, ensawo, ebintu omuyiibwa kasasiro, engatto, kamera, ebimuli, enkoofiira, keesi z’oku mikolo n’ebirala.

Wabula w’osomera bino nga ne kaweefube oyo yakoma! abaakulira oku tega bbomu bak yal ya butaala Abakugu mu byokwerinda bagamba nti bannalukalala ba al-Shabaab bakyali ba bulabe eri eggwanga, wabula ate ffe twekuuma twesaasira!

Ensonda mu Poliisi zaategeezezza nti okuva mu May w’omwaka guno, bannalukalala baayingira Uganda era nti bali muno bagezaako kussaawo bubondo bwabwe bwe bajja okweyambisa gye bujja okutega bbomu, okuketta ebyama n’okumanya engeri gye bayinza okutukosaamu.

Era wiiki ewedde, bannalukalala bataano okuva e Pakistan abaali bayingidde Uganda baabakwata, kyokka abalala baasigalamu!

Omu eyali afulumye Uganda ayitibwa Omrah Erdogan, atera okweyita Imran al-Kurdy oba Salahaddin al-Kurdy, omu ku bajja muno mu May baamukwatidde Tanzania ng’adduka ekibabu mu Uganda! Ekibi nti n’abaakulira obutujju obwakasuka bbomu ezatta abantu 81 mu 2010 tebannakwatibwa! Bano kuliko Ahmed Khalid Andreas ne Martin Muller, naye bakyalya butaala.

‘Abagwira 60 tubagobye mu Uganda’

OLUVANNYUMA lw’emyaka ebiri Banayuganda tuyize ki? Bw’otunuulira embeera eriwo Banayuganda twerabira mangu, tuli balagajjavu oba tetufaayo kubanga byonna ebyassibwawo okutangira abatujju okuddamu okutirimbula abantu byavaawo dda!
Omwogezi wa UPDF, Col. Felix Kuraigye agamba nti amagye tegakyusangamu mu nkola yaago oy’okufutiza abatujju ba Al Shabaab.

“Amagye gakola omulimu gwa maayi e Somalia. Tukolaganira wamu ne poliisi n’ebitongole ebirala ebikuumaddembe era nga eno y’ensonga lwaki kusobola okukwata abatujju ababeera bayingidde mu ggwanga,” bwe yagambye.

Aduumira Poliisi mu Kampala, AIGP Andrew Kaweesi agamba nti Poliisi egenda kussaawo enkola nga buli kifo ekiyingirwamu abantu abangi balina kusooka kukebererwa kubanga abatujju bakyagenda mu maaso n’okutiisatiisa okututusaako obulabe. Akanisa, emizikiti, ebifo ebisanyukirwamu, ebisaawe n’ebifo ebirala byonna birina okufuna obuuma obukozesebwa okukebera abantu,” bwe yagambye. Wabula weebuuze nti nga wayise emyaka ebiri bukya batujju batukuba bbomu, kino kikyetaagisa okulagaalaganya!

MINISITA W’ENSONGA Z’OMUNDA YING. HILARY ONEK:
Olw’embeera y’abatujju n’okukakasa nti buli muntu ali mu ggwanga alimu mu butuufu, twatandika dda ebikwekweto okufuuza abagwira bonna abatalina biwandiiko bibakkiriza kubeera kuno era tubazza ewaabwe.

Ebikweekweeto bino bikolebwa mu ggwanga lyonna era Ying. Onek agamba nti abagwira abasoba mu 20 bamaze okuzzibwa ewaabwe.

Ensalo ezingira Uganda zonna zigenda kunywezebwa ng’omuntu okuyitawo oba okuyingiza ekintu kyonna olina kusooka kukakasibwa. Bannansi bonna baakuweebwa densite kaadi okulaga nti ddala oli munnansi nga kino kyakuyamba okusunsula mu bantu nga tukolaganira wamu n’aba LC mu bitundu.

Ebibuuzo ebitaddibwamu ku bbomu za 2010

BW’OTUNUULIRA ekikangabwa kino, olaba nga waaliwo obunafu ku poliisi n’ebitongole ebirala ebikuumaddembe. Olunaku
lw’ebikijjuko ng’ebya World Cup ne Poliisi lw’emanyi nti luba lwa bbugumu, ate nga yali ekimanyi nti Uganda erina amagye e Somalia lwaki tebassaawo bukuumi bwanjawulo?

Bwe kiba ng’abatujju bakola obulumbaganyi buno nga balanga Uganda kutwala magye Somalia, lwaki ne kaakano ebyokwerinda bikwatiddwa mu ngeri ya kisaazisaazi?

Kigambibwa nti ebitongole by’eggwanga ebikessi byali bifunye amawulire agakwata ku by’okutega bbomu zino ng’ebula olunaku lulamba. Era e Kenya, ebitongole ebikuumaddembe byali bitegedde nti waaliwo abatujju bana abaali bayingidde eggwanga.

Kijja kitya nti Poliisi yaffe yalemwa okukolera ku kulabulwa kuno? Andrew Soloweni, eyali omuduumizi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano mu 2010 agamba nti waaliwo amawulire agaasooka agaategeeza nti yategeera nga wakyabulayo essaawa nnya bbomu zibaluke, ky’agamba nti si kituufu.

“Olw’ebikujjuko twagezaako okusomesa abantu engeri y’okwerinda abatujju nga tubasuubira naye tewali yali akakasa nti baakutukuba.

Ate Poliisi tesobola kukuuma bantu buli wamu, nabo balina okutuyambako nga bakola obukuumi obusooka,” bwe yagambye. Embeera eriwo ya kuba nti Bannayuganda kati buli lwe balaba Abasomaali babekengeera.

Mu Kisenyi mu Kampala mulimu Abasomali abasoba mu 400 naye bayingira na nkoko olw’okutya bannayuganda okubatuusaako obulabe! Omumyuka w’akulira ekibiina ekibagatta, Abdulahi Hassan Robley agamba nti singa Pulezidenti Museveni n’omuduumizi wa Poliisi, Lt. Gen. Kale Kayihura tebaabayamba kukola ku bantu baali babatulugunya osanga singa bali bubi nnyo. “Kati twongedde amaanyi mu kuketta abantu ababi abatwerimbikamu.

Era bammemba baffe tubawandiisa, omupya bw’ajja kitwala akaseera katono okumanya ebimufaako,” bwe yagambye. Agamba nti abalwanyi ba al-Shabaab abasinga babaggya Yemen, Afghanistan, Amerika, Bungereza n’e Kenya.

Abatujju lwe baakuba bbomu mu Kampala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...