TOP

Omusuubuzi omulala bamussizza masasi

Added 12th July 2012

ABATEMU ab’emmundu bateeze omusuubuzi omulala ng’atuuka mu makaage ne bamukuba amasasi ng’afuluma mmotoka ye okuyingira ennyumba.

Bya JOHN B NIYONZIMA NE LUKE KAGIRI

ABATEMU ab’emmundu bateeze omusuubuzi omulala ng’atuuka mu makaage ne bamukuba amasasi ng’afuluma mmotoka ye
okuyingira ennyumba.

Enzita gye baamusseemu yeefaanaanyiriza gye bazze battamu abasuubuzi mu Kampala okuli Haji Kiweewa Kigejjogejjo owa Supermarket e Kyanja, n’engeri gye baakubyemu omusuubuzi w’e Kyebando William Lubega amasasi ng’ayingira ku ggeeti y’amakaage ku lw’e Gayaza.

Omusuubuzi Henry Kayiira 40, okuttibwa abadde yaakasimattuka enfunda ssatu ng’abatemu bamwegezaamu kyokka ng’abawonera watono kubanga emirundi gyonsatule babadde bamusanga ali ne mukazi we Olive Birungi, eby’embi ku luno yabadde yekka era ne bamukuba ebyasi mu mutwe n’afi ira mu ddwaaliro gye yabadde atwaliddwa okujjanjabwa.

Kayiira abadde n’amaduuka ag’amaanyi mu tawuni y’e Kiboga era nga ye ajenti w’ebintu ebikolebwa kkampuni ya Mukwano mu kibuga ekyo era y’abadde omuwanika wa Klezia y’e Kiboga kyokka abaamusse mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu tebalina kye baatutte.

Mu mmotoka gye baamuttiddeko baaleseemu ensawo eyabaddemu ssente. Birungi agamba nti ku mulundi ogukyasembyeyo, omu ku batemu yeesozze ennyumba ng’ateebereza nti Kayiira alimu yekka wabula bwe yawulidde nga mulimu abantu abalala okulin’abaana ne yeemulula n’adduka ne bamukubira enduulu.

Ku luno Kayiira ye yasembyeyo okunnyuka nga mukyalawe yatuuse dda awaka, era emmotoka yabadde agitambuliddemu bwomu.

Bwe yatuuse ewuwe n’asimba emmotoka era yabadde yaakaggula oluggi afulume, abatemu ne bafubutuka ku nsonda y’ennyumba ne bamukuba ebyasi mu mutwe, n’agwa wansi w’emmotoka. Nnamwandu Birungi eyagattibwa ne Kayiira mu January w’omwaka guno yagambye nti bwe yawulidde okubwatuka kw’amasasi ku ssaawa nga 3:00 ez’ekiro n’atya nnyo era bwe gaasirise n’awulira abantu abadduka kwe kujja mpola okulaba ekiguddewo era amaaso gaatuukidde ku bba ng’amulaba aboyaanira wansi.

Baamusitudde ne bamuteeka mu mmotoka okumutwala mu ddwaaliro e Kiboga wabula n’afa nga yakatuusibwayo. Abatuuze baavudde mu mbeera ne balumba amaduuka ga musuubuzi munne Asuman Mayanja Kasolo nga bamulumiriza okubeerako ky’amanyi ku bwe babadde balina n’omugenzi nga buva ku bizinensi.

Bagezzaako okumugajambula wabula poliisi n’ekuba ttiyaggaasi okumutaasa era n’emuggyayo n’emutwala mu kaduukulu kaayo e Kiboga. baamulumbeyo ekyawalirizzapoliisi okumuggyawo wakati mu kwerinda okw’amaanyi e Bukomero.

Omusuubuzi omulala bamussizza masasi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salvado ne Daphine nga bakung'aanya ebirabo.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Kazannyirizi Salvado akiggadde mu sitayiro. Akubye kabiite we Daphine embaga ne yewaana. '' sikyali mu kiraasi...

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Minisita Betty Amongi

Abasuubuzi be Nakasero bawa...

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole...

Nsereko Mutumba

Hajji Mutumba alabudde abak...

ABADDE omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council Hajji Nsereko Mutumba...

Abatuuze nga bali mu kkooti e Nabweru.

Abakolera ku ttaka lya Gavu...

OMULAMUZI ow'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nabweru, Ssanyu Nalwanga Mukasa akkirizza abantu 17, abaakwatibwa ku...