TOP

Bakutte 100 e Nabweru n'e Bwaise

Added 16th July 2012

POLIISI ekubaganye ne bakanyama abagambibwa okutigomya abatuuze b’e Nabweru ne Bwaise ekituusizza n’ettemu okweyongera mu bitundu bino.

 

Bya JOSEPH MUTEBI 
 
POLIISI  ekubaganye ne bakanyama abagambibwa okutigomya abatuuze b’e Nabweru ne  Bwaise ekituusizza n’ettemu okweyongera mu bitundu bino.
 
Ekikwekweto kino okukolebwa kyaddiridde okutta omusuubuzi w’ewa Kisekka, Matia Ssali gwe baakubye amasasi ku Lwokuna ekiro ng’agezaako okutaasa omutuuze ababbi gwe baabadde babbako emmotoka wiiki ewedde.
 
Aduumira poliisi y’e Kawempe, Siraje Bakaleke yasoose kutuuka mu kitundu ekino ekya kalongooti e Nabweru gye yakubye olukungaana abatuuze ne balumiriza abadde akulira poliisi yaawo Ngabala nga bw’abadde omulagajjavu ne batuuka okuttira omuntu mu maaso ga poliisi.
 
Bakaleke yavudde mu mbeera n’akwata omuserikale n’amuggalira n’abawa omupya Aggrey Wakabi  n’agamba nti Ngabala  bagenda kumutwala mu kkooti ya poliisi n’ey’abantu baabulijjo amuvunaane okulagajjalira obulamu bw’abantu be yalayira okukuuma.
 
Oluvannyuma abatuuze baategeezezza poliisi ng’emmundu bwe ziyitiridde mu kitundu kino ng’ate ezimu abantu bazipangisa ku bapoliisi ekiro ne batigomya abantu.
 
Dorothy Nankya omu ku bakulembeze mu kitundu kino  yakulembedde poliisi n’agitwala mu bibanda eby’enjawulo mwe baakwatidde abavubuka abasoba 100 ng’abamu bavudde mu mbeera ne bakubagana ne poliisi ebikonde nga beetaasa obutabatwala kubaggalira.  

Bakutte 100 e Nabweru n’e Bwaise

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...