TOP

6 bafiiridde mu bubenje

Added 17th July 2012

ABANTU mukaaga okuli n’abaana babiri bafiiridde mu bubenje obw’enjawulo obugudde mu Kampala ne ku luguudo lw’e Masaka.

Bya S. NALUBWAMA, H. KASOMOKO, V. KATO, A. KIZZA, A. MUGONZA NE K. NAMBAWUBYE

ABANTU mukaaga okuli n’abaana babiri bafiiridde mu bubenje obw’enjawulo obugudde mu Kampala ne ku luguudo lw’e Masaka.

Ku bafudde kuliko abavubuka basatu ababadde basomba ebintu nga babiggya ku dduuka eriri ku Muteekanga Stage e Kamwokya mu Kampala mu ssaawa z’oku nkya eggulo, emmotoka ekika kya Costa ebadde egenda okunona abaziisi n’eremerera omugoba waayo n’eyingirira edduuka n’ebasaabala ne bafiirawo.

Abaafudde kuliko Richard Asiimwe 30, Ibrahim 20, n’omulala eyabadde tannategeerekeka mannya ate abalala babiri ne balumizibwa nga kuno kuliko ddereeva wa Costa UAB 800A eyakoze akabenje eyafubutuse n’adduka n’ebisago n’omugoba wa Pick-up UAP 332Q eyabadde esimbiddwa okumpi n’edduuka.

MAYA

Akabenje akalala kagudde Maya ku luguudo lw’e Masaka bbaasi ekika kya Horizon UAR 482X bwe yagoyezza emmotoka entono ey’ekika kya RAV4 eyabadde evugibwa Robert Sejje ow’e Masaka.

Sejje yafiiriddewo mu kabenje kano akaaguddewo mu kiro ekyakeesezza eggulo ate ddereeva wa bbaasi Sam Tinomuzume n’adduka.

Akulira pollisi y’oku nguudo e Nsangi, Charles Dabanja  yategeezezza nti  akabenje kano okugwawo abavuzi b’emmotoka bombi baabadde mu nsobi kubanga  baabadde bayisa nga tebamaze kwetegeereza kiri mu maaso.

MPIGI

Ate e Mpigi, emmotoka eyabadde ereese omugenyi yalinnye omwana wa muliraanwa ng’eweta okuddayo, n’afa. 

Akabenje kano kaagudde ku kyalo ky’e Buwama A ku luguudo lw’e Masaka mmotoka Pajero UAJ 858V bwe yalinnye Gorret Patrisi 3, ng’ali mu luggya azannya.

Abatuuze bategeezezza nti mmotoka eno yabadde ezze kukyala wa Ssettaba Mukasa muliraanwa wa Judith Kyogabire abadde alabirira Patirisi. Yamulinnye omutwe n’egubetenta era n’afiirawo.

Aduumira Poliisi y’ebidduka mu disitulikiti y’e Mpigi, Ediso Twebaze yagambye nti baakutte Ssali annyonnyole ku kabenje kano omwafiiridde omwana.

KYENGERA

Ate Omwana omulala afiiridde e Kyengera okuliraana ebbaala eyitibwa Kikankane. Ashley Obama ow’emyaka 2 n’ekitundu yafudde mu kiro ekyakeesezza eggulo.

Nnyina Nuuru Namuli nga ye nnannyini bbaala ya Kikankane yabadde azze mu Kampala okukola ku wooteeri gy’alina ku Wilson Road wabula omwana n’agenda n’omukozi w’awaka ku bbaala n’ababulako; baagenze okuwulira ng’akuba omulanga era okumutuukako ng’amaze okufa.

Abamu bagamba nti yawanuse ku lubalaza n’akubawo omutwe ekyamuviiriddeko okufa, ate abalala bagamba nti ddereeva wa mmotoka Canter UAQ 564D ye yamukoonye.

KAWEMPE

Ate mmotoka endala Fuso UAL 327N eremeredde omugoba waayo n’etomera eduuka lya sipeeya mu Katooke B ku luguudo olugenda e Bombo. ,center>

6 bafiiridde mu bubenje

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Luwalira ng'asimba omuti.

Ekkanisa ne bwekwata omulir...

Omulabirizi w'e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde...

Bisaka

Kiikino ekiraamo kya 'katon...

OWOBUSHOBOZI Bisaka yalese alaamye omulambo gwe bagukaze buli mugoberezi anaagenda ng’okusaba agulabeko ng’ekijjukizo....

Omujaasi Namutebi ku nnyumba ye gye baakoonye.

Omujaasi wa UPDF ali mu maz...

OMUJAASI wa UPDF ali mu maziga. Nnannyini ttaka amukoonedde ennyumba n’egwa ku ttaka ng’agamba nti tamwagala ku...

Omubaka Sserubula ne mukyala we nga babasabira.

Be baawangudde mu kalulu te...

SSAABADINKONI w'obusaabadinkoni bwa Lugazi, Canon George William Kityo agumizza abeetabye mu kalulu ne babawangula...

Zaake ng'alaga ekisipi ekimuyambako okugumya ekiwato

Zaake alumirizza abaserikal...

Omubaka wa munisipaali y’e Mityana Francis Zaake alumirizza abaserikale abaamutulugunyiza e Kireka okuddamu okumutulugunya...