
AKULIRA ekibiina kya Uganda Federal Alliance, alumbye ababaka ba palamenti ababbye ssente ezaabaweereddwa okugula mmotoka kyokka ne bazizza mu byabwe.
Muky. Betty Kamya bw’abadde ayogerera mu lukung’aana lwa Bannamawulire lw’atuuzizza ku kitebe ky’ekibiina e Kabuusu yagambye nti kyennyamiza okulaba ng’ababaka ba palamenti abalina okubeera abasaale mu kulwanyisa enguzi ate badda ku ssente z’omuwi w’omusolo ne badiibuuda.
Kamya anenyezza ababaka ku by’emmotoka