
MUGANZI w’omuwala Doreen Adikini eyasangiddwa ng’attiddwa mu muzigo poliisi emututte kumukebera bwongo.
Hillary Oketch yakwatiddwa ku Ssande ayambeko poliisi ku kubuuliriza ku kuttibwa kwa Doreen abadde omuyizi mu ttendekero ly’ebyobusuubuzi e Nakawa.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Mw. Ibin Ssenkumbi yategeezezza nti Oketcho yatwaliddwa akeberebwe okukakasa nti omutwe gwe gukola bulungi.
Mw. Ssenkumbi yagasseeko nti waliwo omusajja omulala eyategeerekeseeko erinnya erimu erya Samuel.
Ebirala.....
Omuvubuka asse muganzi we owa Yunivasite n'amubbako fiizi
Omuwala asse muganda we lwa musajja
.....................................................................................................................................................................................................................
Muganzi w’owa Yunivasite eyattiddwa bamukebera mutwe