TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Chameleone asuze ku kitebe kya Tanzania lwa Paasipooti

Chameleone asuze ku kitebe kya Tanzania lwa Paasipooti

Added 27th July 2012

JOSE Chameleone agumbye ku kitebe kya Tanzania mu Uganda n’ategeeza nga bw’atagenda kuvaawo okutuusa nga bamuddizza paasipooti ye eyawambibwa gye buvuddeko e Dar es Salaam ekya Tanzania.

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

JOSE Chameleone agumbye ku kitebe kya Tanzania mu Uganda n’ategeeza nga bw’atagenda kuvaawo okutuusa nga bamuddizza paasipooti ye eyawambibwa gye buvuddeko e Dar es Salaam ekya  Tanzania.

Kigambibwa nti paasipooti ya Chameleone yawambibwa oluvannyuma lwa Munnayuganda okufera Gavumenti ya Tanzania abaali baagala Chameleone ayimbe ku mukolo gwabwe ogw’eggwanga n’ababbako doola 35,000 ze baali baweerezza Chameleone ayimbe.

Paasipooti ya Chameleone yawambibwa n’endala bbiri okuli eya DJ we Black n’omuyimbi we owa Leone Island ayitibwa Kalimi.

Bonna baali mu kibuga Dar es Salaam ekya Tanzania nga  July 8, 2012, omusajja gwe baayise Eric Shigongo n’abakuyega bamuwe paasipooti zaabwe azookyemu ne bazimuwa olwo n’abategeeza nti balina kusooka kusasula doola ze baababbako e Kampala balyoke bazibaddize.

Chameleone yeemulugunya nti tayambiddwa Gavumenti ya Tanzania wadde eya Uganda kubanga yabayamba n’akwata omusajja George Mugabe agambibwa okufera Abatanzania. Kyokka yabadde Rwanda ng’ayimba Mugabe gwe yaleka ku CPS y’e Kampala n’amusangayo n’amwewerera nga bw’ayinza okumutuusaako ekikyamu olw’okumusibisa.

Agamba nti yasabye omubaka wa Tanzania mu Uganda amuyambe asobole okufuna paasipooti ye nti wabula , engeri gye yamuzzeemu yamumazeemu amaanyi, ng’alinga amugamba abyekolereko.

Kino kye kyamuwalirizza okugumba ku kitebe kyabwe okumpi ne wooteeri ya Serena mu Kampala era agamba nti tagenda kuvaawo okutuusa lw’anaafuna paasipooti ye.

Yategeezezza nti bukya bawamba paasipooti ye yalina ebivvulu ebibalirirwamu obukadde 42 ze bamubanja olw’obutayimba.

Ensonga za Chameleone zaayingiddwamu aduumira poliisi, Lt. Gen. Kale Kayihura eyasoose okumwetondera olwa poliisi obutamuyamba. Yagambye nti ensonga agenda kuziyingizaamu poliisi y’ensi yonna okulaba ng’afuna paasipooti ye mu bwangu.  Wabula Chameleone yagambye nti tagenda kuva ku kitebe kya Tanzania okutuusa nga baleese paasipooti ye. 

Chameleone asuze ku kitebe kya Tanzania lwa Paasipooti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....