TOP

Poliisi eyodde 20 e Nansana

Added 27th July 2012

POLIISI y’e Nansana mu Wakiso ekoze ekikwekweto mw’ eyooledde abavubuka 20 nga muno mulimu abateeberezebwa okubeera abakubi b’obutayimbwa ssaako n’okunyakula ensawo z’abakazi.

JOB NANTAKIIKA

POLIISI y’e Nansana mu Wakiso ekoze ekikwekweto mw’ eyooledde abavubuka 20 nga  muno mulimu abateeberezebwa okubeera abakubi b’obutayimbwa ssaako n’okunyakula ensawo z’abakazi.

Akulira ebikweekweto ku  poliisi eno, Absolomon Wabwire yategeezezza nti kino kyakoleddwa oluvannyuma lw’abantu b’omu Nsumbi okumpi ne Kyebando ne Nansana mu Ocheng Zooni okwekubira enduulu ku poliisi olw’obubbi obususse mu bitundu bino.

Yagambye nti waliwo n’owa bodaboda eyakubiddwa akatayimbwa mu Nsumbi, pikipiki ye ne bagibba.Abavubuka bano baalemeddwa okwennyonnyolako ate abamu baabasanze banywa njaga.

Abamu baategeezezza poliisi nti Gavumenti tefuddeyo kubateerawo mirimu wabula Wabwire bwe yababuuzizza buli omu bye yasoma nga tewali waddealina akapapula k’obuyigirize n’abawa amagezi nti oba ekibuga kibalemye bakwate ebintu byabwe badde mu byalo.

 Wabwire yagambye nti abantu bano bagguddwako emisango omuli ogw’obwakirereese  n’okusangibwa nga banywa enjaga ku fayiro nnamba SD:62/24/07/12 ne SD:65/24/07/12.

 

Poliisi eyodde 20 e Nansana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...