TOP

Aba KCCA baboye ebintu by'abasuubuzi

Added 2nd August 2012

ABASUUBUZI ababadde bakomyewo ku nguudo ne mu paaka za takisi empya n’enkadde beenyoodde n’abaserikale ba KCCA abaabazinze ne babowa eby’amaguzi baabwe.

Bya Hannington Nkalubo

ABASUUBUZI ababadde bakomyewo ku nguudo ne mu paaka za takisi empya n’enkadde beenyoodde n’abaserikale ba
KCCA abaabazinze ne babowa eby’amaguzi baabwe.

Abaserikale banyiize ne basalawo babowe ebintu nga beemulugunya nti abasuubuzi basussizza emputtu.

‘Twabagoba dda ku nguudo ne mu paaka kyokka bakimanyidde ddala nti we bakolera tebakkirizibwaawo era enguudo bateekwa kuzireka nga nnyonjo naye tebakkiriza. Kati tugenda kutandika n’okutwala ebintu byabwe ate nabo tubatwale mu kkooti lwa butawulira,” omwogezi wa KCCA, Peter Kauju bwe yagambye.

Ekikwekweto kyabaddewo ggulo ku nguudo: Burton, Luwum, Ben Kiwanuka ne paaka enkadde. Kyakuliddwa Brian Wasswa. Yagambye nti bataddewo ekibinja ekyenjawulo okutambula nga bayigga n’okukwata abavubuka abalemedde ku
nguudo.

Kyokka abasuubuzi beemulugunyizza nti beewuunya KCCA. ‘Batugamba nti bataddewo ssente ezitugulira ebifo babizimbe
tusengukireyo kyokka tetumanyi gye byaggweera. Ebintu byaffe biboyebwa ate tebabituddiza , kati ffe tudde wa?” Omuvubuka Henry Kiwanuka bwe yagambye.

Yawagiddwa banne abaagambye nti nabo tebaagala kukolera nnyo ku nguudo zino naye tebalina kya kukola kubanga tebalina ssente zipangisa maduuka ate ebintu bye babatwalako babiggya ku bagagga be babitundira nabo bafuneko
ssente.

Wasswa yalabudde nti ebikwekweto bigenda kufuuka byabuli lunaku okukwata buli agezaako okukomawo ku luguudo ne mu paaka.
 

Aba KCCA baboye ebintu by’abasuubuzi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...