
Bya JOSEPHAT SSEGUYA
OMUGOLE wa Haruna Mubiru owa Kream Productions akubyewo eddenzi.
Hadja Mubiru yazaalidde mu ddwaaliro lya Case Clinic ku Buganda Road mu Kampala ku Lwokubiri ekiro.
Yatuusiddwa mu ddwaaliro ku lunaku lwe lumu n’azaalirawo, era Bukedde we yamutuukiddeko eggulo nga mukoowu nnyo.
Haruna eyasoose okugaana okukuba bbebi n’omukyala ebifaananyi oluvannyuma yakkirizza kyokka era n’alema okusooka okukkaanya ne mukyala we ku mannya ge baba batuuma omwana.
Haruna ayagala atuumibwe Ramadhan Mubiru kyokka ng’omukyala ayagala atuumibwe Haruna Mubiru.
Kitooke nga yeetegereze eddenzi lye. Ekif: Josephat Sseguya
Hadja ku kitanda mu Case Clinic. Ekif: Josephat Sseguya
Oluvannyuma Hajji Ssemmambo Bazirengedde eyasabidde omwana yabataawuludde n’abategeeza nti erya Ramadhan lye lisinga kubanga azaaliddwa mu mwezi omutukuvu ogw’Eki-siibo. Yagumizza Hadja nti akyazaala abaana abalala bangi bajja kubatuuma g’ayagala.
Ebirala.......
..................................................................................................................................................................................
Kitooke bye yasuubiza omuwala w'omugagga Ntakke abivuddeko.
Nnamba bbiri wa Kitooke acamudde abanene ng'ayanjula
Kitooke azimbidde omugole kalina etemya nga omuntu
Kitooke ne Chris Evans ensimbi zibatabudde: Baawukanye
Kitooke alese omugole mu kisenge n'alinnya ebbaati
...................................................................................................................................................................................
Hadja yalemeddeko okukkakkana nga bamutuumye Haruna Ramadhan Mubiru.
Haruna yayanjulwa Hadja ewa kitaawe Mw. Moses Lumala e Lubaga nga March 31, 2012 ku mukolo ogwali ogw’obunkenke n’abakuumi abangi. Mu kiseera kino yali lubuto lwa myezi etaano.
Bbebi bw’afaanana. Ekif: Josdephat Sseguya
Haruna ne Hadja nga baloola mu kwanjula mu March.
Gye buvuddeko omugole yayingidde amaka ge amapya e Kabowa ng’eno y’ennyumba Haruna gy’aludde ng’amuzimbira omugole ono gw’agamba nti yamulaba dda era we yayanjulirwa, yali amaze emyaka nga bakukuta.
Mukyala mukulu,Laudha Mubiru, muwala w’omugagga Guster Lule Ntakke yaakazaalira Haruna abaana babiri.
Omugole wa Kitooke amukudiddewo eddenzi