TOP

Loole ewabye n'erumya babiri mu buliri ekiro

Added 3rd August 2012

Magulu kkumu eyingiridde enju e Makindye,nerinnya abaana 2.

Bya Henry Ssennyondo
LOOLE ey’ekika kya Fuso “magulu kkumi” yayingiridde ennyumba mu Kipamba Zooni e Makindye n’erinnya abaana abaabadde mu buliri nga beebase ne baddusibwa mu ddwaaliro wakati mu miranga nga bali mu mbeera mbi.

Zaabadde ssaawa nga 4:30 ez’ekiro loole eno “magulu kkumi” n’etegulukuka n’eyingirira ennyumba mwe yasanze abaana, Hafswa Nakyeyune (9) ne Ashiraf Kisuule (12) ssaako omuvubuka Joel Kakoma gwe yakutuddekutudde amagulu gombi.

Abaana ababiri baabadde beebase era baabasise mu matoffaali wansi kumpi n’emipiira gya loole eno.
Maama waabwe Muky. Margaret Nakawungu yabadde alina saluuni gye yabadde agenze okulabira amawulire ga BUKEDDE TV “Agataliiko Nfuufu”, kwe kuwulira omusinde gwa loole.
Loole yasookedde ku kayumba aka ‘kiyosiki’ n’ekayitamu n’esibira ku nnyumba. Akabenje kano kaabadde ku luguudo lw’ettaka oluyitibwa Lubega Road okumpi n’olw’e Salaama.

Ennyumba eyakooneddwa ya Abubaker Ssentongo okumpi n’amayumba g’omugenzi Teo Munywamata.
Omutuuze Reagan Paul Nakedde yategeezezza nti kiteeberezebwa loole eno yategulukuse yokka, kyokka waliwo abatuuze abaamuwakanyizza nga balumiriza omuvubuka omu eyabadde ali mu kugiteekako ebisaaniiko eyagiggyeko ekigingi n’etegulukuka.
Aba tulafiki Cpl. Charles Ejiet ne Masereka baatuuse awaabadde akabenje kano ng’abalumiziddwa batwaliddwa mu ddwaaliro.
 

Loole ewabye n’erumya babiri mu buliri ekiro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu