TOP

Bamukutte n'ebiso ebibunye omusaayi

Added 4th August 2012

POLIISI egudde ku kibondo ky’ababbi e Nakulabye omu ku bo n’emusanga n’ebijambiya n’ennyondo ebiriko omusaayi nga kirabika babadde bamala kutemula abamu ku bantu be babba.

BYA BENJAMIN SSEBAGGALA  

POLIISI egudde ku kibondo ky’ababbi e Nakulabye omu ku bo n’emusanga n’ebijambiya n’ennyondo ebiriko omusaayi nga kirabika babadde bamala kutemula abamu ku bantu be babba.

Wilson Tusemererwe ye yakwatiddwa n’ebijambiya bino n’ennyondo mu nnyumba mw’abadde asula n’emisumeeni gye babadde bakozesa okusala kkufulu. Baamukutte ne Abubakar Ssemwogerere wabula omulala ategeerekeseeko erya Ronnie ye yabuuse ekikomera  n’adduka.

Steven Kalema atwala ebyokwerinda mu zooni 6 e Nakulabye yategeezezza nti baabadde balawuna ne banne ku ssaawa 10:00 ekiro ne balaba bodaboda ng’ereeta omukazi eyabadde alina omufaliso ne kkeesi ate mu kiseera kye kimu omutuuze n’amukubira essimu nti bamubbye ebintu mu nnyumba.

“Twagenze okutuuka ku nnyumba ya Tusemererwe ng’omufaliso guli ku mulyango ne tuyita poliisi eyakuumye ekifo okutuusa obudde okukya ne tutandika okwaza ennyumba mwe tukwatidde ebintu ebirala ebibbe,” Kalema bwe yannyonnyodde.

 Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano wabula obudde olwakedde abantu ne batandika okukung’aana olwo abamu ne basonga ku bintu byabwe bye baasanze ewa Tusemererwe okuli ne baliraanwa be abapangisa ku nnyumba eziri mu kikomera mwennyini mw’abadde asula.

Ebintu bye baakwatiddeyo kwabaddeko: emifaliso, leediyo, tivvi, DVD, firiigi, kabada n’ebirala wabula Tusemererwe yeewozezzaako nti ye tabibba wabula abigula buguzi ku bantu beyamenye okuli n’erinnya lya Isma abatuuze gwe balumiriza nti mubbi walulango.

Atwala poliisi y’e Nakulabye, Muhammed Kirumira yategeezezza nti omwezi oguwedde Tusemererwe baamukutte n’ebintu ebibbe ne bamutwala mu kkooti ku LDC e Makerere wabula babbi banne ne bamweyimirira era olwakomyewo n’atandikira we yakoma.

Tusemererwe abadde apangisa ebisenge bisatu ebinene ku nnyumba y’omugenzi Faaza Kasole eri ku nsalo ya zooni 6 ne zooni 8 e Nakualabye esangibwa mu kikomera munda mw’abadde asula ne Ronnie. 

 

Bamukutte n’ebiso ebibunye omusaayi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...