TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni awadde Kiprotich obukadde 200: Amuwaanye

Museveni awadde Kiprotich obukadde 200: Amuwaanye

Added 15th August 2012

PULEZIDENTI Museveni awadde omuddusi Kiprotich ceeke ya bukadde 200 ng''akasiimo okumwebaza okuweesa eggwanga lye ekitiibwa bwe yawangudde zaabu mu mizannyo gya Olympics.

Bya David Kibanga

 

PULEZIDENTI Museveni awadde omuddusi Kiprotich ceeke ya bukadde 200 ng'akasiimo okumwebaza okuweesa eggwanga lye ekitiibwa bwe yawangudde zaabu mu mizannyo gya Olympics.

Museveni yayanirizza Kiprotich mu maka ge e Ntebe ku kyenkya mwe yamuweeredde ceeke ya bukadde 200 okuva mu Banka Enkulu (Bank Of Uganda) era n’amutegeeza nti asobola okuggyayo ssente ezo essaawa yonna w’ayagalira. Era ne yeeyama n'okuzimbira bazadde ba Kiprotich ennyumba ya bisenge bisatu.

Nga yaakamala okumukwasa ceeke, Kiprotich yategeezezza Pulezidenti wakati mu buwombeefu obw’ekitalo nti, “Naye bazadde bange.” Wano Museveni we yasitukidde n’ategeeza nga bw’agenda okuzimbira bazadde be ennyumba
ya bisenge bisatu ebisulwamu.

“Buli munnabyamizannyo anaabeera akoledde eggwanga ebirungi okutandikira wano mu Afrika, n’ebweru waayo tugenda kumuwa kavvu, ate oluvannyuma aweebwe omulimu mu bimu ku bitongole bya Gavumenti nga amakomera, poliisi, amagye n’ebirala. Maama ng’enda kumuzimbira ennyumba ng’erina ebisenge ebisulwamu bisatu mu
kitundu kyonna ky’onooyagala.” Museveni bwe yategeezezza Kiprotich mu kubwatuka kw’engalo.

Bazadde ba Kiprotich basulamu nnyumba ya ttaka wabula olw’obuwanguzi mutabani waabwe bwe yatuuseeko, ebintu kati bigenda kutereera.

Vision Group ekyamusondera; Mu kampeyini ya Vision Group efulumya ne Bukedde okumukung’aanyiza ensimbi,
we bwazibidde eggulo nga yaakakung’aanya obukadde 350 okusinziira ku kitunzi wa kkampuni eno, Susan Nsibirwa.

Bw’ogattako 200 eza Pulezidenti, Kiprotich yaakayiikamu obukadde 550. Kampeyini ya Vision Group ya wiiki nnamba.

Pulezidenti amuwaanye;
“Njagala okwebaza Kiprotich eby’ensusso kuba yasobola okuddukirako mu nsiko e Kenya afune okutendekebwa okumala oluvannyuma lw’okukizuula nti mu Uganda si byangu. Kino kiraga nti mulwanyi wa NRM nnamige.” Pulezidenti bwe
yayongeddeko.

Abantu bamwaniriza ng’omuzira;

Enkuyanja y’abantu okwabadde aba bodaboda, abaavudde e Kapchwora gy’azaalwa, n’abayise ku luguudo lw’e Ntebe, baayanirizza Kiprotich eggulo mu ssanyu eppitirivu. Kiprotich eyabadde mu mmotoka eyeebikkula, bakira alaga abawagizi omudaali gwe yawangudde era abamu obwedda bakuba enduulu y’oluleekereeke nti, “kyekyo mwana waffe”.

Wakati mu nkuyanja y’abantu, yatuusiddwa ku Serena Hotel gye yasuze nga leero ku Lwokuna agenda mu Palamenti.


Museveni ng'ayambaza Kiprotich omudaali gwe yawangudde. Ekif: Silvano Kibuuka


Wano nga Pulezidenti Museveni akwasa Kiprotich ceeke ya ssente obukadde 200. Ekif: Silvano Kibuuka


Pulezidenti , Kiprotich ne bamisita. Ekif: Silvano Kibuuka


KIPROTICH nga bamwananiriza mu maka gw'obwapulezidenti. Ekif: Silvano Kibuuka

 

Museveni awadde omuddusi Kiprotich obukadde 200

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...