
- Gavumenti yaakusasula buli awangula omudaali - Mbabazi
Bya Ahmed Kateregga
KATIKKIRO wa Uganda Mw. Amama Mbabazi alangiridde nti Pulezidenti Yoweri Museveni yalagidde Gavumenti okusasulanga omusaala buli muzannyi wa Uganda anaagiwanguliranga omudaali.
Ate Minisita w'ebyensimbi ategeezezza nga Gavumenti bw'eggye omusolo ku buli kintu kyonna ekinaatonerwa Stephen Kiprotich olw'okuwangulira Uganda omudaali ogwa zaabu.
Yagambye nti omulanga gwa New Vision gwakavaamu Doola za Amerika 100,000 nti kyokka eyagala ziwere 500,000.
Bino byabadde mu Paalamenti eggulo ng'eteesa ku kiteeso ky'okusiima ebirungi enkumu Kiprotich by'akoledde Uganda bwe yagiwangulidde omudaali ogwa Zaabu mu mpaka za Olympics.
Ku mukolo guno n'omudaali gw'omugenzi John Akiibua gwe yawangulira Uganda mu 1972 nagwo baaguleese ate ne Docus Inzikuru eyawanagulira Uganda omudaali gwa Zaabu mu Common Wealth, naye yabaddewo.
Ekiteeso kyayanjuddwa Minista w'ebyenjigiriza n'ebyemizannyo Hon. Jesca Alupo ne kisembebwa ababaka abawerako. Basoose kulaba vvidiyo eraga engeri Kiprotich gye yaddukamu n'awangula.
Minisiti omubeezi ow’ebyenjigiriza Dr. JC Muyingo ( ku ddyo) ng'abuuza ku Kiprotich mu Paalamenti eggulo. Ekif: Muwanga Kakooza
Kiprotich yatuukidde mu Paalamenti mu kitiibwa n'asisinkana Sipiika, eyamukkirizza okutuula mu kisenge omutuulwa ababaka bokka, era yabadde awerekeddwako omuduumizi w'abaserikale b'amakomera Dr. Johnson Byabashaija.
Bazadde be nabo baabaddewo, awamu ne b'ofiisa n'abaserikale b'amakomera abaakubye ebitundu by'onsatule eby'oluyimba lw'eggwanga ku ntandikwa ne ku nkomerero. Oluvannyuma Sipiika n'amugabula ekijjulo makeke.
Dr. Johnson Byabashaija omuduumizi w'abaserikale b'amakomera ( ku kkono). Wakati ye Stephen Kiprotich. Wano baabadde bayimba luyimba lwa ggwanga. Ekif: Muwanga Kakooza
Ababaka b'e Sebei; Chemutai Pahyllis (Kapchorwa) ne Chelangat Tete Evelyn (NRM Bukwo) beefuze akazindaalo ne basaba ekitundu kyabwe kirowoozebweko olw'okuzaalira Uganda abazira abagiwangulira emidaali.
Evelyn Tete yawambye akazindaalo ka bamiknisitra n'agamba nti ye kw'ajja okwogereranga era n'amaliriza nga yeewuunya Pulezidenti obutamulonda ku bwaminisita ng'ate y'akiikirira eyawangulidde Uganda emidaali.
Wano ng'awuubira ku babaka ba Paalamenti abaamwanirizza. Ekif: Muwanga Kakooza
Yasabye Stephen Kiprotich ne Moses Kipsiro babbulwemu enguudo mu Kampala, Gavumenti ereme kukoma ku kuzimbira bazadde ba Kiprotich nnyumba wabula efune weesenza abantu baayo bonna nti kubanga b'akamala okuggyibwa mu bibira gye baali beekukumye. Kino Katikkiro Mbabazi yasuubizza nti kigenda kukolwako.
Kiprotich ng'awandiika mu kitabo ky'abagenyi mu Paalamenti eggulo. Ekif: Muwanga Kakooza
Mbabazi yasiimye Kenya okutendeka Bannayuganda n'asaba amawanga ataano ag'obuvanjuba bwa Africa; Uganda, Kenya, Tanzania, Rwanda ne Burundi gakole tiimu emu kitusobozese okuwangulira East Africa emidaali mingi.
Paalamenti yasoose kukungubagira abajaasi b'eggye lya Uganda ary'omu bbanga abaafiiridde mu kabenje k'ennyonyi e Kenya nga bagenda e Somalia.
Ebirala ku Kiprotich........................
Museveni awadde Kiprotich obukadde 200: Amuwaanye
KIPROTICH asabye ebisuubizo bya Gavt. bireme kukoma mu bigambo
Aba NRM e Bungereza bawadde Kiprotich kakadde
Nze naggya Kiprotich mu kyalo - Bigingo
Kiprotich kati alya nga mulimi
Weegatte ku Vision Group tudduukirire Stephen Kiprotich
Kiprotich ayogedde ebyamuyambye okuwangula zaabu
Ekirabo ky'amefuga: Kiprotich kyawadde Uganda
.........................................................................................................................................................
Palamenti esiimye Kiprotich