TOP

Bawakanyizza omusolo omupya ku waragi

Added 28th August 2012

ABAMAKKAMPUNI agasogola omwenge beemulugunyizza ku misolo gavumenti gye yatadde ku 'waragi' akolebwa mu makolero (spirits) nga bagamba nti gigenda kuvaako abanywi okukendeera olw'ebbeeyi yagwo eyinza okulinnya.

Bya Muwanga Kakooza

ABAMAKKAMPUNI agasogola omwenge beemulugunyizza ku misolo gavumenti gye yatadde ku 'waragi' akolebwa mu makolero (spirits) nga bagamba nti gigenda kuvaako abanywi okukendeera olw'ebbeeyi yagwo eyinza okulinnya.

Bino baabyogeredde mu kakiiko ka palamenti  ak'ebyobusuubuzi bwe baabadde beemulugunya ku misolo egyayongerwa ku mwenge mu bajeti eyasomwa minisita Maria Kiwanuka gye buvuddeko.

Omukungu wa kkampuni ya Uganda Breweries Ltd Richard Wabwire yagambye nti okwongera emisolo ku mwenge kijja kuleetera abanywi okukendeera kikendeeze n'ensimbi amakampuni ze gayingiza.

Gavumenti yayongeza emisolo ku mwenge ogugwa biti bya waragi (spirits) ogukolebwa amakampuni ago okuva mu bikozesebwa ebiri mu Uganda okuva ku musolo gwa bitundu 45 ku buli 100 okutuuka ku 60 buli 100.

Ate omwenge ogukolebwa okuva ku bikozesebwa okuva ebweru emisolo ne girinnya okuva ku bitundu 60 okudda ku 70 buli 100.

Kyokka ababaka abasinga okwabadde ne Tim Lwanga baagambye nti emisolo egyo gyetaagibwa kuba gavumenti eyagala okukola enguudo. Ne bagamba nti okwongera kw'emisolo egyo tekijja kuvaako mwenge gunywebwa kukendeera.

Abasogozi baagambye nti wadde waragi w'omubuveera yawerwa kyokka era akyatundibwa.

Abasoggola omwenge bawakanyizza omusolo omupya ku waragi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...