TOP

Poliisi ekubye ababbi amasasi n'etta babiri

Added 31st August 2012

ABABBI ababadde bagenze okubba mu Supermarket e Kyanja okumpi n’essundiro ly’amafuta, poliisi bebalabuukiridde n’ebakubamu amasasi okukkakkana ng’ababiri bafiiriddewo.

Bya Henry Kasomoko

ABABBI ababadde bagenze okubba mu Supermarket e Kyanja okumpi n’essundiro ly’amafuta, poliisi bebalabuukiridde n’ebakubamu amasasi okukkakkana ng’ababiri bafiiriddewo.

Edduuka lya Supermarket lye baabadde bagenze okubba liriraanye amayumba ga Kensington e Kyanja era waliraanye Supermarket ya Prime Shoppers we battira Hajji Kigejjogejjo.

Bino byabaddewo ku ssaawa nga 3:00 ez’ekiro ekyakeesezza Olwokuna abavubuka abaabadde batambulira mu mmotoka ey’ekika kya Ipsum ne bamenya Supermarket ne banyagamu ebintu wabula ne bakomawo ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro nga bali mu mmotoka ey’ekika kya Noah UAR111H ne baagala okunyagamu ebintu ebirala.

Omuserikale akuuma essundiro ly’amafuta bwe yeetegerezza emmotoka eno munda n’alaba nga musigaddemu omuntu omu kyokka ng’akutte emmundu ey’ekika kya AK47 era wano we yatandikidde okutemye ku banne abaabadde bali okumpi ne bategeeza poliisi n’ejja.

Eyabadde asigadde mu mmotoka bwe yalabye poliisi ng’ezze, kwe kukubira banne eng’ombe ng’ayagala baveeyo badduke. Yakubye amasasi ng’agoolekeza aba poliisi ng’agezaako okukubira banne ekkubo badduke n’emmotoka yaabwe.

Aba poliisi nabo baasumuludde ebyasi era mu kuwanyisiganya amasasi okwo, ababbi babiri battiddwa, okusinziira ku akulira poliisi y’obukiikaddyo RPC Musa Nabenda.

Poliisi ekubye ababbi amasasi n’etta babiri

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...