TOP
  • Home
  • Amawulire
  • KIPROTICH: Vision Group emukwasizza obukadde 300

KIPROTICH: Vision Group emukwasizza obukadde 300

Added 1st September 2012

KKAMPUNI ya Vision Group olwaleero ( Lwakutaano) ekwasizza omuddusi Stephen Kiprotich ceeke ya bukadde 300 okumwebaza okuwangulira Uganda omudaali gwa zaabu mu mizannyo gya Olympics e London nga August 12.

Bya SILVANO KIBUUKA

  • Kabushenga amukuutidde okwewala abakazi abakuuzi. 'Sigala ne mukyalawo agumidde ennaku'
  • Amenya likoda y'okuba omuzannyi akyasinze okufuna ssente ennyingi ez’ekirabo ky’omudaali gwa zaabu mu nsi yonna ku okukira abalala abaawangudde emidaali mu mizannyo gya Olympics  e London ekya Bungereza
  • Asuubuzza okufunira Uganda emidaali emirala.

KKAMPUNI ya Vision Group olwaleero ( Lwakutaano) ekwasizza omuddusi Stephen Kiprotich ceeke ya bukadde 300 okumwebaza okuwangulira Uganda omudaali gwa zaabu mu mizannyo gya Olympics e London nga August 12.

Ssente zino zivudde mu kaweefube eyatandikibwawo kkampuni  Vision Group Bannayuganda okubako kye baddiza omuddusi ono eyateeka Uganda ku maapu n'asobozesa oluyimba lw’eggwanga wamu ne bbendera okulabibwa abantu obuwumbi mukaaga ku fayinolo ya Olympics mu London ekya Bungereza.

Akulira Vision Group Robert Kabushenga ng'akwasa Stephen Kiprotich ceeke ya bukadde 300. Ekif: Silvano Kibuuka

Abakulira amakampuni gonna agaasonze ssente baabaddewo ku kabaga kano era nga Shudir Rupaleria eyasoka okuwaayo ddoola 10,000 yayongeddeko mu bulowi ddoola endala 5,000 okuweza obukadde 300 be ddu.

Akulira Vision Group Robert Kabushenga yannyonnyodde entandikwa y’okusonda ssente zino era n’akubiriza amakumpuni amalala gaveeyo okwongera okuyamba ekibiina ekiddukanya emizannyo gya Olympics Uganda okusobola okutwala abazannyi abangi mu mpaka za Olympics endala ezinaddako e Brazil mu 2016.

  Stephen Kiprotich  ng'abikkula amawulire bwe yabadde alambuzibwa ekyuma ekikuba amawulire. Ekif: Henry Kasomoko

Pulezidenti wa UOC, William Blick yagambye nti olw’omudaali guno, Uganda yamalira mu kifo kya 50 ku mawanga 252 ageetaba mu mizannyo gino, ate n’emalira mu kya mukaaga mu mawanga aga Afrika, songa mu mizannyo gy’okudduka mu kisaawe (abaddusi abalala abatali Kiprotich) y'amalira mu kya 17.

Kaminsona wa Prisons Samuel Akena eyakiikiridde ekitongole ekyo yategeezezza nti bakkirizza ekiragiro kya Pulezidenti Museveni okukuza Kiprotich okuva ku ddaala lya Private okudda ku lya Assistant Commissioner nga kitiibwa kye kimu ekyaweebwa omugenzi John Akii Bua ab’ekitongole kya Police bwa yawangula zaabu mu 1972.

 Kiprotich ng'ali mu situdiyo ya leediyo ya Bukedde. Wano ng'omu ku baweereza akayisanyo Olanya Colombus ne muwereza ne Terah Kaaya ( ku kkono) bamwanirizza. Ekif: Henry Kasomoko

Kiprotich yalambuziddwa kkampuni ya Vision Group okuva mu byuma ebikuba amawulire, situdiyo za leediyo ne ttivi za Vision Group.

Yasiimye amakampuni gonna agakyusizza obulamu bwe era n’asuubiza nti yatandise dda okwetegekera empaka endala, n’asaba amakampuni amalala okwongera okuteeka ssente mu mizannyo Uganda efune emidaali emirala ne bwe gitaba gya zaabu.

Abamu ku bakungu b'amakampuni agaasondedde Kiprotich ssente n'ebintu ebikalu. Ekif: Silvano Kibuuka

Kiprotich amenya likoda nti ye muzannyi akyasinze okufuna ssente ennyingi ez’ekirabo ky’omudaali gwa zaabu mu nsi yonna ku bawanguzi bonna abaafunye emidaali mu mizannyo gya Olympics e London. Yawezezza obukadde 500 (okuli n’gogasseeko obukadde 200 ezaamuweebwa Pulezidenti Museveni).

Kiprotich ne Sudir Ruparelia wamu Pulezidenti wa UOC, William Blick .Ekif: Silvano Kibuuka. Ekif: Sivano Kibuuka

Amakampuni gamugguliddewo akawunti.

Amakampuni nga gakulemberwa Vision Group gagguliddewo Kiprotich akawunti era ne bateekawo n’akakiiko akagenda okumuwabula aleme kuddamu kwavuwala ng’abazannyi abalala abafuna ssente ne bazoonoona.

Kabusenga akubirizza Kiprotich obutaawukana na mukyala we bwe babadde mu nnaku, n'amugamba alabire ku  bagagga abalala abakuumye eby'obugagga byabwe ne bakyala baabwe.


Akulira Vision Group Robert Kabushenga ng'alambuza Kiprotich ofiisi za kkampuni eno. Ekif: Arthur Kintu

Crane Bank ne Ruparelia Foundation ye yasinze okuwaayo bwe yatodde doola 15,000.

Abawaddeyo doola 10,000 mwe muli Vision Group, NSSF, MTN, Crown Bevereges, DFCU Bank, Mukwano Industries.


Akulira abawandiika ebyemizannyo mu New Vision ng'akwasa Kiprotich ekirabo. Ekif: Arthur Kintu

Abaawaddeyo obukadde 10 mwe muli Bank of Uganda, Standard Chartered Bank ate abaawaddeyo obukadde butaano mulimu Kampala Cassino, White Snowmans Ltd, Rutungu Investiments, Eco Bank, Roofings Limited, SMS Media, Panamera Bar and Lodge ne Star Times TV.

KIPROTICH: Vision Group emukwasizza obukadde 300

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...