
POLIISI yeetondedde Omubaka wa Kampala Central Muhamad Nsereko olw'ebyafulumidde mu mawulire eggulo nga biraga nti poliisi emuyise akole sitatimenti ku ngeri gye yafunamu obukadde obukunukkiriza mu 300 okuva mu Crane Bank.
Aduumira poliisi mu Kampala James Ruhweza ategeezezza nti byonna ebyafulumidde mu mawulira nga biraga nti Nsereko yeetagibwa poliisi obutasukka 6 September 2012 yabadde nsobi.
Eggulo Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emirirwano Ibin Ssenkumbi yategeezezza aba'amawulire nti akulira ba mbega ba Poliisi mu Kampala n'emirirano Charles Kataratambi ye yawandikiddeNsereko ebbaluwa emulagira okweyanjula ku CPS ku Lwokuna lwa wiiki eno nga September 6 akole sitatimenti wamu n'okwongera okutangaaza poliisi ku mivuyo gino.
Kino kyaddiridde omubaka Nsereko okwetwala ku poliisi n'atalinda ku Lwokuna lwe yabadde asuubirwa ng'agamba nti ayanukudde okusaba kwayo kweyakoze ng'egamba nti yabadde emwetaaga okubaako by'abannyonnyola
Nsereko eyabadde awerekeddwako abawagizi be yatuuse ku CPS ku saawa 5:00 ez'okumakya n'agamba nti okwereta ku poliisi yamaze kuwulira ng'omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano ategeza nga poliisi bw'emwetaaga akole sitatimenti ku bigambibwa nti alina kyamanyi ku mivuyo gya ssente mu Crane Bank ezaali ziwerezeddwa ku Western Union .
"Nsazeewo nereete ku poliisi neme kugimalira biseera ng'enoonya kuba yategezezza nti enetaaga nkole sitatimenti era nzuuno nzize ekole byeyagala" Nsereko bwe yategezezza oluvanyuma lw'okutuuka ku CPS n'abamu ku bawagizi be abamuwerekeddeko.
Wabula Nsereko bwe yayingidde mu kizimbe kya CPS DPC James Ruhweza n'ategeeza nga poliisi bw'etennaba ku muyita yadde okumuwandiikira ebbaluwa.
Ruhweza yagambye nti Omwegezi wa poliisi Ssenkumbi ayinza okuba nga yakoze ensobi naye nga babadde tebannafuna kutegeezebwa kwonna okuva mu bakama baabwe okulaga nti Omubaka Nsereko yabadde ayitiddwa okukola sitatimenti.
Nsereko yagambye poliisi erabika eri mu kumumalira biseera kuba yagenze mu ofiisi ya sipiika wa Palamenti okubeebuzaako oba baafunye ebbaluwa emuyita, n'ategeezebwa nti tebannafuna ku kiwandiiko kyonna bw'atyo n'asalawo okwetwala ku kitebe kya poliisi.
Yategezezza nti emisango gyonna gye banapaatiikako mwetegefu okugiwoza kuba ye alina obukakafu nti talina musango gwonna gwe yali azzizza.
Wabula omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emirirwano Ibin Ssenkumbi yayongedde okukakasa nti poliisi yawandiikidde Sipiika wa Palamenti ng'eyagala ategeeze Omubaka Nsereko nga bw'emwetaaga.
Ssenkumbi yayongeddeko nti okuyita omubaka yenna owa Palamenti balina okuyita mu mitendera emituufu so ssi ekyakoleddwa omubaka Nsereko bwe yeereese ku poliisi nga sipiika tannamutegeeza mu butongole nti yetaagibwa bw'atyo n'amusaba abeere muguminkiriza okutuusa olunaku Lwokuna poliisi lwe yategese.
Nsereko olwafulumye CPS yatambuza ebigere n'abawagizi be n'agenda mu paaka ya takisi empya gye yayogeredde eri abakoleramu n'abategeeza nti tewali alina kubasengula mu bifo bye bamazeemu emyaka n'ebisiibo nga bakoleramu.
Yagambye nti akizudde nga waliwo abagagga abaagala okwezza paaka eno y'ensonga lwaki bagobaganya abakoleramu n'okubawa nsalessale y'okusengukirako n'akiggumiza nti tewali alina lukusa lugoba basuubuzi.
Ebirala ku Nsereko:
Poliisi eyise Nsereko ku by'okufuna ssente mu bbanka
Nsereko alumbye poliisi ku by''okufuna ssente mu bukyamu