TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssekandi awolerezza Gavt. ku bintu bya Buganda ebyokebwa

Ssekandi awolerezza Gavt. ku bintu bya Buganda ebyokebwa

Added 9th September 2012

BANNAYUGANDA balaze ebizibu byabwe nga babiweereza ku ssimu mu Bukedde babyolekezza omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi era bwati bw’abizzeemu, Anthony Ssempereza n’abiwandiika bwati:

BANNAYUGANDA balaze ebizibu byabwe nga babiweereza ku ssimu mu Bukedde babyolekezza omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi era bwati bw’abizzeemu,  Anthony Ssempereza n’abiwandiika bwati:

Ekibuuzo: Ewaffe e Bujuuko - Bakka bwe tulima muwogo, ebijanjaalo, lumonde, ebitooke n’ebirime ebirala bigengewala bwe tuba tetubifuuyidde. Ssebo nsaba otudduukirire ng’ekizimba tekinnasamba  ddagala (0752 - 487979)

Mulina okukola lipoota ku nsonga eno ne mugiwa abakulembeze mu bitundu bino, bano bagiweereze mu gavumenti egenda kukola okunoonyereza ng’eyita mu bitongole byayo ebinoonyereza ku birime nga e Namulonge banoonyereze ku nsonga eno. Nsaba abantu mu kitundu kino banguwe okukola lipoota eno bagiweereze mu bakulembeze esobole okutuuka amangu mu gavumenti.

Ekubuuzo: Obubbi bw’emmundu n’okutta abasuubuzi obyogerako ki?

Nvumirira ebikolwa bino eby’okutemula abantu ate n’abo abalina emmundu mu ngeri emenya amateeka ate kirabika n’abo abazirina mu mateeka nabo wayinza okubaayo abazikozesa mu kuzza emisango. Wabula ffe mu gavumenti tugenda kwongera amaanyi  mu kulwanyisa ebikolwa bino eby’obumenyi bw’amateeka buno era tuli bamalirivu, tujja kubumalawo.

Ekibuuzo: Ssebo nsaba otubuulire ku nteekateeka ez’okuddamu okusima ebbibiro ly’amasannyalaze e Kassanda South we zituuse.( 0758-604519, Ntalo e Kinoni Kiganda.)

Eky’ebbibiro ly’amasannyalaze mu kitundu mu kitundu kino nkitegeddeko kati noolwekyo ng’enda kusindikayo omuntu  anoonyereze wa pulojekiti eno we yakoma, tugenda kugirondoola tulabe eky’okukola naye  abantu b’ekitundu babeere n’essuubi ensonga eno tujja kugikolako.

Ekibuuzo: E Bukomansimbi  mu kibiina kya VHT tuli kibiina kya bwannakyewa tusaba tuweebwe ku buyambi okuva mu NAADS n’obuyambi obulala ng’eggaali. (0752980447 Willy Muwonge.)

Abantu bano beeyanjule mu  kitongole kya gavumenti ekya NAADS basseeyo okwemulugunya kwabwe era bakirage nti nabo beetaaga okuyambibwa era balage n’ebisaanyizo byonna ebibasobozesa okufuna ku buyambi buno bagenda kuyambibwa.

Ekibuuzo: Njagala okunnyamba okufuna ente ez’amata nkole ntya? (0772432219 Taabalamule.)

Weebuze ku ba NAADS mu kitundu kyo. Ojja kubatuukirira obalage obwetaavu bwo bajja kukubuulira ebisaayizo by’olina okuba nabyo okufuna ente.

Ekibuuzo: Naye ddala ffe Bannabutambala oluguudo lwaffe okuva e Mpigi okutuuka e Gomba mulukuba ddi kkoolaasi (0782999494, Najeeb Luwandagga.)

Ensonga z’Oluguudo luno zaateekebwa mu mbalirira ya 2012/13. Bajeti eno ekyakubaganyizibwako ebirowoozo mu lukiiko lw’eggwanga olukulu, era lugenda kuteekebwa mu nkola mu bwangu.

Ekibuuzo: Gavumenti lwaki ffe ab’e Luweero tetukolerayo kkolero nga lisobola okukozesa abakozi nga 500?

Abantu b’e Luweero, gavumenti eri mu kaweefube w’okusikiriza,  bamusigansimbi bateeke wano amakolero gayambeko mu kwongera ku mutindo gw’ebintu ebirimibwa wano. Era bangi batandise okunoonyereza wa we batandikira. Ab’e Luweero balina ebibala bingi, bamusigansimbi bajja kubitunuulira balabe we batandikira era  mubeere n’essuubi gavumenti ensonga yammwe egirowoozaako (0778848557)

Ekibuuzo: Lwaki temutuyamba ku luguudo lw’e Musita Namayingo - Busia? (0773100411.)

Ensonga y’oluguudo ekwatibwako abeekitongole ky’enguudo mu ggwanga ekya UNRA. Ekirungi abantu b’ekitundu kino ensonga yaabwe bajanjudde mu mawulire nkakasa abeekitongole kino nabo bajja kugiraba, naye ekisinga obukulu tutegedde ekizibu ky’abantu b’ekitundu kino, tugenda kukwataganira wamu n’abakwatibwako tulabe ki gavumenti ky’esobola okubakolera ku nsonga y’oluguudo luno. Ate nsaba abakulembeze mu kitundu kino bakole ekisoboka okuyamba abantu bano ku nsonga y’oluguudo lwabwe.

Ekibuuzo: Waliwo abagamba nti gavumenti, erina akakwate ku kwokya ebintu bya Buganda. Okyogerako ki? (Dinana Muwalu e Luzira.)

Lwaki Gavumenti? Gavumenti tesobola kwenyigira mu kwokya bintu bya Buganda kubanga  essa ekitiibwa mu byobuwangwa n’ennono z’abantu. Wadde gavumenti erina obuvunaanyizibwa okukuuma abantu n’ebintu byabwe naye waliwo omubi eyasooba n’agiyitakon’ayokya ebintu bya Buganda. Gavumenti terina kakwate konna ku kwokya bintu bya Buganda.

Ssekandi awolerezza Gavt. ku bintu bya Buganda ebyokebwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...

Basse owa S3 ne balagirira ...

ABATEMU babuzizzaawo omuwala owa S3 okuva mu maka ga bakadde be ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta, omulambo...