TOP

Okulonda kwe Butambala kutandise

Added 12th September 2012

Okuddamu okulonda okujjuza ekifo ky’omubaka anaakikiirira Butambala mu paalamenti kugenda mu maaso nga bugolo.

By Henry Mukasa e Butambala

Okuddamu okulonda okujjuza ekifo ky’omubaka anaakikiirira Butambala mu paalamenti kugenda mu maaso nga bugolo!

Ekifo kino kya langirirwa nti kyereere oluvannyuma lwa kkooti okusazaamu obuwanguzi bwa Faizal Kikulukuunyu olw'okugulirira abalonzi okwefunza enkambi ye (Kikulukunyu) mu kulonda okwayita.

Kikulukunyu owa NRM azzeemu okwesimbawo era ng’ali ku mbiranye ya maanyi ne munna DP Muwanga Kivumbi.

Akakiiko k’ebyokulonda ne poliisi baatuusizza dda ebintu ebineeyabisibwa mu kulonda mu bitundu eby’enjawulo ebironderwamu, ng’obululu, ne ssanduuko mwebusuulibwa,

Akulira eby'okulonda mu Butambala Mwami Mark Muganzi agambye nti "leero basobodde okwanguya okutuusa ebikozesebwa mu bifo eby'enjawulo era nga zigenze okuwera saawa emu enkya ya leero ng'ebifo byonna awalonderwa bimaze okutuusibwako ebintu bino.’

"Mu kaseera kano abantu batandise okulonda era njagala okukakasa abantu nti akalulu kagya kugwa bulungi"

Kikulukunyu ng'ava okukuba akalulu e Ssala Kabasanda.

"Tutaddewo ekifo awo kwemuluguniza era tutaddewo kalabaalaba ku buli kifo awalondebwa okulaba nga’enteekateeka eno egenda bukwakku" Muganzi bwe yayongeddeko.

Wabula okunoonyereza okukoleddwa Bukedde kulaze nti okulonda kukereyeemu e Kabasanda mu Ggombolola y’e Kalamba.

Ku saawa 1:45 eyo ku makya abalonzi ababadde batuuse balabiddwako nga beemulugunya olwokukeerewa kw’abakakiiko okutandika omulimu gwabwe.

Abalonze baakedde mu nnyiriri okulonda e Butambala, Ekif; Ben Ssentongo.

Ku Ggombolola y’e Kibibi okulonda eno yo kutandise mu budde era abalonzi baakeredde ddala.

Poliisi nayo yayungudde abaserikale abawera mu magombolola gonna omukaaga agakola disitulikiti eno  okuli Gombe, Kibibi, Ngando, Budde, Kalamba ne Bulo.

Baasi za Poliisi, kabangali n'ebimotoka bya ttiya gaasi nabyo birabiddwako mu kitundu.

Eby'okwerinda biri gguluggu mu kulonda e Butambala, Ekif; Arthur Kintu.

Mu kaseera kano okulonda ku kyali kwa mirembe era tewanabaawo kajagalalo konna kaawuliddwa.

Muwanga Kivumbi owa DP asuubirwa okulonda ku ssaawa ssatu ez’enkya e Bugoye, ate ye Faisal Kikulukunyu asuubirwa okulonda ssaawa nga ttaano e Kalamba.
 

Okulonda kwe Butambala kutandise

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...