TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababaka beewuunyizza ebizimbe eby'ebbeeyi eby'okumenya

Ababaka beewuunyizza ebizimbe eby'ebbeeyi eby'okumenya

Added 21st September 2012

AMAYUMBA ag’ebbeeyi agaazimbibwa mu ntobazzi z’omu Kampala, KCCA g’eteekateeka okumenya gawuniikiriza ababaka ba Palamenti.

Bya Ahmed Mukiibi    

AMAYUMBA ag’ebbeeyi agaazimbibwa mu ntobazzi z’omu Kampala, KCCA g’eteekateeka okumenya gawuniikiriza ababaka ba Palamenti.

Kyokka ababaka bawagidde enteekateeka za Dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi okumenya amayumba n’ebizimbe ebyazimbibwa mu ntobazzi kiyambe okutereeza ekibuga naddala okulwanyisa omujjuzo gw’amazzi agaanjaala buli nkuba lw’etonnya.

MUSISI ALEESE OLUKALALA

Amayumba n’ebizimbe  188 bye byolekedde okumenyebwa era eggulo ku Lwokuna ababaka b’akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku nsonga ez’Obwapulezidenti baatudde n’omuduumizi wa Poliisi, Lt. Gen. Kale Kayihura ne bakkaanya ku kya Poliisi okuwa KCCA obukuumi okumenya ebizimbe ebiri mu ntobazzi.

Musisi yatutte mu Palamenti olukalala lw’ebizimbe ne Poloti 188 eziri mu ntobazzi mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo omuli; Nateete, Busega, Namungoona, Lugala, Kansanga, Bbunga, Kyambogo, Kinnawataka, Luzira, Butabika, Kyeitabya ne Bugoloobi 

Ababaka b’akakiiko ka Palamenti nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe, Barnabas Tinkasimire beesitudde ne balambula ebimu ku bifo ewali amayumba agaazimbibwa mu ntobazzi ne beerabirako engeri obutonde bw’ensi gye butyoboddwaamu.

“Twewuunyizza okusanga amayumba ag’ebbeeyi ag’abagagga n’abantu abalina ebifo eby’amaanyi mu Gavumenti omuli baminisita ne bannamagye, kyokka ffe tumaliridde tewali gwe tugenda kuttira ku liiso,” Tinkasimire bwe yagambye.

MUSISI ALOOPYE OMUGAGGA  

Ababaka bano basoose Kansanga  ne Bbunga  mu lutobazzi omugagga John Imaniraguha gye yakuba ebibati ku ttaka lya yiika nga 10 n’alijjuza ettaka nga kati ali mu kuzimbako ssundiro ly’amafuta.

Mu kifo kino Imaniraguha yasala dda Poloti 17 okuli:  3124, 1996, 5474, 71, 736, 735, 734, 733, 1035, 1036, 1031, 1037, 1038, 1036, 1029, 1040 ne 1023  nga zonna ziri ku block 254.

Omugagga ono y’omu ali mu lutobazzi e Nakawa mu maaso ga Spear Motor we yajjuza ettaka nga kati azimba ssundiro ly’amafuta era nawo ababaka baatuuseewo kyokka mu bifo byonna baalemeddwa okuyingira munda olw’obukuumi obuliwo.

Muky. Musisi bwe yabadde mu Palamenti yaloope omugagga ono nti alemesezza KCCA okutuuka mu bifo bino nga bikuumibwa ba mmundu abali mu ngoye ezaabulijjo.

Ababaka baatuuse n’e Luzira gye baasanze kalina ez’ebbeeyi eziyitibwa Miami Villas eziri mu Polot 7, Peninsula Close nga kigambiba nti nnannyini zo Minisita mu Gavumenti.

SARAH KIZITO ALUGUDDEMU

Okumpi ne Miami Villas we wali n’ekifo ekisanyukirwa eky’omugagga Sarah Kizito muka Meeya wa Kampala Central, Godfrey Amooti Nyakana. Ekifo kino kiri ku Polot 5 Peninsula Close.

Mu kitundu ekya Peninsula Close ekitunudde mu mwalo gwa Port Bell mulimu amayumba amapya ag’ebbeeyi ne Poloti eziri mu mazzi nga bannanyini zo bagagga n’abanene wabula ababaka baagambye nti byonna byakumenyebwa.

POLOTI EZ’OKUMENYA ZIIZINO 

Mu  kitundu kino mulimu Poloti  29  okuli:  24, 26, 28, 30, 32, 34, 36, 38, 40, 42, 44, 46, 48, 50, 52,  54, 56, 58, 60, 62 ku  Peninsula Road ne 52 Lake Drive, 5-11,  1-3, 1-5 Peninsula Crescent  ne Poloti 5, 7, 9, 11 ne 13 Peninsula Close.

Mu Luzira era mulimu ebizimbe ebiri ku poloti 14, 16, 18, 29, 22 ku Njobe Road ne  Poloti 35-55, 23-33, 11B, 13, 15, 17, 19, 21, 16-19, 1A, 1, 3, 5A, 7A, 7B, 9A, 9B, 11A, 11b zonna nga ziri ku Sports Road.

Poloti endala 35 ziri Kyeitabya nga kuliko 382, 53, 29, 184, 539, 538,51, 192, 165, 158, 562, 1366, 299, 367, 2053, 1549, 595, 596, 1196, 611, 824, 20, 47, 5203, 5018, 917, 224, 246, 200, 20,  461785, 1788, 2000 ne 1999  nga zino zonna ziri ku Block 246 era za muntu nga mugagga ow’amaanyi mu Kampala.

OMUGAGGA YEEFUZE ENTOBAZZI

Omugagga y’omu aliko poloti empya ze yasaze  mu lutobazzi e Bulogoobi  nga ziri ku Binayomba Close okuva  ku Plot 1 okutuuka ku 12 n’agattako n’endala  Plot 35, 37 39, 41 ku Mpanga Close n’endala M 539, 468, 469 .

KCCA  yategeezezza ababaka ba Palamenti nti omugagga ono alina yiika nga 30 mu lutobazzi  olw’omugga gw’e Nakivubo nga bw’anaaba tagambiddwaako omwala gwonna agenda kuyiwamu ettaka atunde poloti. Omuntu y’omu ono eyatwala n’ettaka eryali  erya UBC nalyo nga liri mu lutobazzi e Bulogoobi

Muky.  Musisi yatutte maapu ez’omwala gw’e Nakivubo mu Palamenti n’alaga ababaka nti olutobazzi olwo okuviira ddala e Nsambya, okuyitamu e Bulogoobi, okutuuka e Luzira, omugagga oyo agenda kumalawo.

Maapu era zaalaze nti n’entabozzi endala mu Kampala okuli olw’e Walufumbe, Kyetinda-Kinnawataka, Kiyanja, ne Nyanjerande abantu bazizimbyemu kyokka ekyewuunyisa abalina ebyapa okuva mu Gavumenti n’abamu balina amabaluwa okuva mu NEMA agabakkiriza okuzizimbamu.

Ezimu ku poloti ezo omuli eziri e Kyambogo ku luguudo, Kyambogo Link nga ziva ku 2A, 2, 4, 6, 8, 10, 12, 14, 16, 18, 20, 22, 24,26, 28, 30, 32, 34, 36, 38, 40, 42, 44, 46, 48, 50, 52, 54, 56, 60.

ALOOPYE DELMAS INVESTMENTS 

Musisi yaloope ne kkampuni aya Delmas Investments be yagambye nti bali mu kuyiwa ttaka  mu lutobazzi e  Bugoloobi  ku Plot 12A Luthuli Drive n’e Luzira ku Plot 78B Portbell Road  ne Poloti endala  okuli 5, 7, 8, 9, ne 11 ku Nalubaale Close, Plot 8 ku St. Kizito Close, Plot 18-26 ne 28-40 ku Plantation Road kyokka ekyewuunyisa  aba kkampuni eno balina ebiwandiiko okuva mu NEMA ebibakkiriza okuzimba.

Eno goloofa eri e Bugoloobi yaakumenya.

Esther Tumushabe ng’alaga ennyumba ye egenda okumenyebwa e  Bugoloobi.

Abapoliisi abakuuma abagagga abazimba mu lutobazzi e Ggaba.

 

 

Ababaka beewuunyizza ebizimbe eby’ebbeeyi eby’okumenya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...