
Bya Faith Nakanwagi, Moses Leemisa ne Madiinah Ssebyala
Ensiitaano nga Sophie Nantongo ava mu maka g’omulangira Ssimbwa e Ntebettebe yatutte essaawa ezisoba mu 30 okukkakkana nga Nantongo awuzze bba Ssimbwa empi.
Kino kiddiridde omulangira Ssimbwa okuleka ng’alaalise Sophie obutamusanga mu maka agakaayanirwa bwe yabadde agenda okukola ku makya g’Olwomukaaga kyokka bwe yakomyewo ku ssaawa 10.00 ez’olweggulo ku Lwomukaaga n’amusanga ng’akyalemeddewo n’acankalana era mu kavuvung’ano akaddiridde Sophie n’amuwujja empi olwo enduulu n’eraya okuva ku ludda lwa mukyala mukulu eyawambye awaka.
Sophie yakubye Ssimbwa eriiso ne lirunguula kyokka oluvannyuma ne yeetonda nti, “Mulangira nsaba kunsonyiwa” Wabula Ssimbwa yagenze mu maaso n’okumusindiikiriza amuviire mu maka ge.
Okusooka Ssimbwa yabadde ategeezezza nga bw’agenda okutwala Sophie mu maka ge e Namugongo kyokka oluvannyuma kyategeerekese nti nayo eriyo omukyala omulala gw’alinamu n’omwana era obwedda awera nti w’alabira ku Nantongo agenda kusitula olutalo kasiggu.
Kino kyamuwalirizza n’okujja e Ntebettebe ayambeko mukyala mukulu Samalie Ssimbwa bafubutule Sophie.
Ssimbwa olwalabye bino kwe kufunira Sophie enju e Lungujja agira apangisa eyo okutuusa embeera lw’eneetereera.
Kigambibwa nti ekyavuddeko Sophie okutabuka akube Ssimbwa by’ebigambibwa nti Ssimbwa ye yapanze olukwe lwonna olwagobye Nantongo n’akomyawo mukyala mukulu ng’agamba nti akooye embeera.
Sophie yatandise okufulumya ebintu bye ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi n’ava mu maka ga Ssimbwa mw’abadde agenda okuweza omwaka.
Bino okubaawo abaana ba Ssimbwa abakulu ne nnyaabwe baasoose kuzingako maka gano ku Lwokutaano ne bagayingira ng’abaana bwe bayimbira waggulu nti “Tuwangudde.”
Zaabadde ssaawa nga munaana ez’emisana ku Lwokutaano essanyu n’emizira ne bibuutikira amaka ga Sam Ssimbwa abaana be nga bayingiddewo okweddiza amaka gaabwe gano oluvannyuma lwa kkooti okuwa ekiragiro nti amaka gano galina kubeeramu baana be bano. Amaka gano Ssimbwa yali yagawa Nantongo era olwali okuyingira n’agagobamu abaana abakulu okutuusa kkooti lwe yasazeewo eggoye n’eragira badde mu maka gaabwe.
Bano bazze ne muka Ssimbwa omukulu nga bwe bakuba enduulu nti bawangudde omukazi Nantongo eyali yabatwalako amaka gaabwe n’abakyaya ne kitaabwe.
Bino biddiridde abaana okuwaaba mu kkooti nga bawakanya eky’okubagoba awaka. Kyokka Ssimbwa yagaana okugenda mu kkooti ng’agamba nti tayinza kuwoza na baana be. Kuno kkooti kwe yasinzidde n’esala nti abaana baddeyo mu maka gaabwe.
Balagidde Sophie ne Ssimbwa bafulumye ebyabwe
Ensonda mu LC zaategeezezza nti akanyoolagano akaddiridde ng’abaana ne nnyaabwe bayingidde amaka kaatuusizza ssaawa munaana ez’ekiro ekyakeesezza Olwomukaaga nga tekannaggwa nga muka Ssimbwa omukulu alagira Ssimbwa ne Sophie Nantongo bafulumye ebintu byabwe kyokka nga bo bagamba tebalina gye babitwala nti baweebwemu wiiki bbiri. Nsalessale kkooti gwe yawa abaana okudda mu maka yaweddeko ku Lwakutaano.
Poliisi ebiyingiddemu
Poliisi y’e Bweyogerere yayingidde mu nsonga zino ne beetooloola ekikomera okusobola okulaba nga tewaba kuyiwa musaayi wakati w’enjuyi zombi.
Abasasi we baatuukidde mu maka ga Ssimbwa, Sophie yabadde tannatuuka kyokka ng’ebintu byonna ebikozesebwa mu maka yabadde abisibidde mu kisenge kyokka abaana abakulu ne nnyaabwe tekyabalobedde kweyazika bwambe n’ebikozesebwa ebirala ku miriraano olwo ne batandika okufumba.
Oluvannyuma bano beegattiddwaako ekibinja ky’abakazi okuva ku ludda lwa mukyala mukulu nga nabo boogerera waggulu nti ‘tuyingire tufumbe, amaka gaffe gatuddidde.’
Kati bafumba babiri
Ensonda zaategeezezza nti essaawa zaabadde ziwera nga 6.00 ogw’ekiro, Sophie Nantongo n’ajja ne bba Ssimbwa eyabadde amupikiriza okuggyamu ebintu mu nju ng’agamba nti tasobola kujeemera kiragiro kya kkooti era awo waabaddewo okusika omugwa okw’amaanyi, ng’ensonda mu LC zaategeezezza nti kwatuusizza ssaawa 8.00 ez’ekiro kyokka Sophie n’agaana okuggyamu ebintu era bonna, Sophie, Ssimbwa ne mukyala mukulu baasuze mu maka gano nga we tujjidde mu kyapa nga Nantongo yeesibidde mu kisenge tannavaamu bafumba babiri ne mukyala mukulu.
Ssimbwa yaleese poliisi ne bakanyama era beesibidde mu kikomera, tewali ayingira wadde okufuluma. “Ndi wa ddembe okubiggyamu we njagalira kubanga wano nasanga tewategeerekeka ate kati mmaze okulongoosaawo mmale gavaawo?” obwedda Sophie bw’abuuza.
Simbwa simuta - Sophie
Bino byonna obwedda bigenda mu maaso nga Sophie ali mu kisenge bw’aleekaana nti, ‘Ye mmwe abaamawulire mutwagaza ki? Eby’amaka gaffe bibakwatirako wa? Twakoowa. Kaabe Lubaale k’abe Katonda, sirita Ssimbwa, waakiri okufumba ababiri zaabike emipiira naye ng’obufumbo bwaffe bujja kugenda maaso.”
Ku Mmande Sophie ne Ssimbwa baategeezezza Bukedde nti Sheikh Nuuhu Muzaata abalemeddeko ng’abasabira dduwa embi baawukane kyokka obufumbo bwabwe bunywevu gulugulu.
Sophie Nantongo avudde ewa Ssimbwa