TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazungu ababbira ku ATM bagguddwaako emisango emirala 8

Abazungu ababbira ku ATM bagguddwaako emisango emirala 8

Added 2nd October 2012

Aba Bulgaria 3 abaakwatibwa gye buvuddeko nga batigiinya ebyuma bya ATM ebya Stambic bazzeemu buto okuggulibwako emisango.

BYA ALICE NAMUTEBI

ABAZUNGU basatu enzaalwa ya Bulgaria abaakwatibwa gye buvuddeko nga batigiinya ebyuma bya ATM bya bbanka ya Stambic okubbamu ssente bazzeemu buto okuggulibwako  emisango 8 emipya era nga kati  bali mu komera e Luzira.

Gye buvuddeko omulamuzi wa kkooti ku Buganda road yakkiriza abasajja bano okuli;  Milen Katsarski, Ivan Ganchev ne Adrian Dimitrov okweyimirirwa, kyokka pollisi yabateegera ku mulyango gwa kkooti n'eddamu okubakwata olw'emisango emipya gye baali bazudde.

E Nakawa bagguddwako emisango 8 omuli egy'obubbi, okwekobaana bazze omusango, ssaako  okufuna ebyama bya kompyuta nga tebafunye lukusa nga gyonna baagyegaanye, kyokka omulamuzi  Joy Baleebe n'agaana okusaba kwabwe okusobola okweyimirirwa.

Oludda oluwaabi lwategeezezza nti mu mwezi gwa February 2012 mu bifo ebyenjawulo omuli Nakawa, Kireka, Kansanga  abaami bano baagenda nga ku byuma bya Stanbic bank ebigaba ssente [ATM] ne babbako ssente ezisoba mu bukadde 6.

Beatrice Adongo ng'ono ye muwaabi wa gavumenti ku kkooti e Nakawa yategeezezza nti ssente zino baazigyanga ku akawunti ya Ajiku Angudua, Akurut Catherine ne Herbert Nkaija era n'asaba abavunaanibwa batwalibwe ku alimanda e Luzira kubanga okunoonyereza ku kyagenda mu maaso.

Baakudda mu kkooti nga 16 October 2012.

Abazungu ababbira ku ATM bagguddwaako emisango emirala 8: Bakyaleppuka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...