TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukungu wa Gavt. Kazinda agaaniddwa okweyimirirwa

Omukungu wa Gavt. Kazinda agaaniddwa okweyimirirwa

Added 12th October 2012

Eyali omubazi w’ebitabo omukulu mu ofiisi ya Ssaabaminisita, Geoffrey Kazinda, agaaniddwa okweyimirirwa nga kigambibwa nti ayinza okweyingizi mu kunoonyereza ku misango egy’enjawulo egimuvunaanibwa.

Bya Prossy Nanziri 

Eyali omubazi w’ebitabo omukulu mu ofiisi ya Ssaabaminisita, Geoffrey Kazinda, agaaniddwa okweyimirirwa nga kigambibwa nti ayinza okweyingizi mu kunoonyereza ku misango egy’enjawulo egimuvunaanibwa.

Omulamuzi Irene Akankwasa owa kkooti ewozesa abali b’enguzi n’abakenuzi yagambye nti emisango egivunaanibwa Kazinda girimu ebiwandiiko bingi ebikyabuulirizibwako, nga n’ebimu birina kuggyibwa mu makaage, nga mu ngeri eyo, ayinza okulemesa okubiggyayo.

Ku Lwokusatu nga October 10, Kazinda yagguddwaako emisango mwenda egyekuusa ku kujingirira omukono gwa Pius Bigirimana, omuwandiisi ow’enkalakkalira mu ofiisi ya Ssabaminisita, wamu n’okweyambisa ofiisi ye obubi.

Bannamateeka ba Kazinda era baali basabye omusango guno guweerezebwe mu kkoooti etaputa Ssemateeka, nga beemulugunya ku ky’okuba nti omuntu waabwe yaggyibwa mu ddwaaliro nga tasiibuddwa ate n’akuumibwa ku poliisi okumala ebbanga erissuka mu ssaawa 48, kyokka omulamuzi nakyo yakigaanye n’agamba nti tewali kyetaaga kutaputibwa.

Bwatyo awadde bannamateeka bano amagezi okutwala okwemulugunywa mu kkooti enkulu basabe omuntu waabwe aliyirirwe, singa kizuulibwa nti eddembe lye lyalirinnyirirwa.

Omusango gwa Kazinda bwe gutyo guweeezeddwa mu kkooti enkulu ewozesa abali b’enguzi n’abakenuzi, era bwatyo n'azzibwayo e Luzira okutuusa lw'anayitibwa okuwulira omusango guno, oba ng’asabye okweyimirirwa mu kkooti y’emu.

Mu kusooka Kazinda yaggulwako emisango 29 omuli; okufiiriza Gavumenti ssente ezissuka mu bukadde 316, okujingirira, nga kigambibwa nti yagizza ne John Martin Owor, akola nga kaminsona mu ofiisi ya Ssaabaminisita ssaako Beatrice Kezabu,avunaanyizibwa ku kulaba ng’abantu ababundabunda bazzibwa mu maka gaabwe.

Omukungu wa Gavt. Kazinda agaaniddwa okweyimirirwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....