TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekyanoonya Desh Kananura ali ku gw''okutta omukozi we

Poliisi ekyanoonya Desh Kananura ali ku gw''okutta omukozi we

Added 29th October 2012

POLIISI esabye abalina amawulire ku mayitire g’omugagga Desh Andrew Kananura agibuulire esobole okumukwata

Bya Eria Luyimbazi
POLIISI esabye abalina amawulire ku mayitire g’omugagga Desh Andrew Kananura agibuulire esobole okumukwata avunaanibwe omusango okwekuusa okutta eyali omukozi we Badru Kateregga

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Ibin Ssenkumbi yagambye nti Poliisi efubye okumunoonya avunaanibwe omusango gw’okutta eyali omukozi we Abdu Kateregga mu bbaala ye eyitibwa Panamera esangibwa e Nagguru kyokka n’okutaasa essaawa ya leero tebamanyi mayitire ge.

Sssenkumbi yagambye nti fayiro y’omusango yasindikiddwa eri looya wa Gavumenti okugyeekenneenya n’amalawo ebibadde bigambibwa nti omusango baaguvaako.

Yategeezezza nti mu kunoonyereza poliisi kweyakola, yagenda ku baala ya Kananura n’eyaza n’okufuna obumu ku bujulizi era olwamaliriza baala ne bagivaamu.


Kateregga nga bwe yali afaanana.

Yayongeddeko nti Poliisi egenda kukozesa amakubo gonna okulaba nti Kananura, ne bw’anaaba tali mu ggwanga bajja kweyambisa poliisi y’ensi yonna eya Interpol okumuzuula.

 

Amanyi amayitire ga Kananura tubuulire-Poliisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi (mu katono) empya.

Enkalu zeeyongedde ku mmoto...

EBY'EMMOTOKA ya Bobi Wine bijjulidde kkooti erina okuyisa ekiragiro ekiwaliriza nnannyini yo okugizzaayo mu kitongole...

Muzaata ne Bakazi be Kluthum ne Bugirita

Ekiraamo kya Muzaata kirees...

SHEIKH Umar Swidiq Ndawula asomye ekigambibwa okuba ekiraamo kya Sheikh Nuhu Muzaata ne kyongera okusajjula embeera...

Abayizi lwe baababuulidde ku Lwokutaano.

Abayizi ba S4 batandise lee...

OLWALEERO abayizi ba S4 lwe batandika okukola ebibuuzo by'akamalirizo bye bagenda okutuula okutuusa nga April 6,...

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...