TOP

Kyasusse; Embuutu y'Embuutikizi ecamudde

Added 29th October 2012

BUKEDDE amenye likodi endala mu kivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi bwe yajjuzza abantu mu kisaawe e Nakivubo n’abooga

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA , MOSES LEMISA NE JOSEPTHAT SEGUYA

BUKEDDE amenye likodi endala mu kivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi bwe yajjuzza abantu mu kisaawe e Nakivubo n’abooga ekyaddiridde likodi gye yamenya mu Mbuutu y’e Namboole 2010 mwe yayingirizza abantu abasoba mu mitwalo 10.

Ekisaawe kyajjudde ne kibooga ng’abantu balaga obwagazi bwe balina eri Bukedde mu Mbuutu y’Embuutikizi ani aluleeta eyatandise n’empaka z’akamalirizo z’ekigwo Ggumbya ezaawanguddwa Rajab Kyaka ow’e Kyaddondo n’afuna ekyapa ky’ettaka ekibalirirwamu obukadde 10 okuva mu Jomayi.

Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda Kaddu Serunkuuma bwe yabadde akwasa abawanguzi ebirabo yeebazizza Bukedde olw’okuzza omuzannyo gw’ekigwo n’asaba abasomesa batandike okugutwala mu masomero bagusomese abaana.

Lubinga nga yeeriga n’omumegganyi e Nakivubo.

Empaka z’akamalirizo mu Kigwo zaabadde wakati wa Junior Lule Lubinga okuva e Kyaggwe ne Rajab Kyaka owa Kyaddondo, era Lubinga eyakutte ekyokubiri yafunye pikipiki ya SENKE okuva mu kkampuni ya DURA Motors mu Ndeeba ate Livingstone Kansiime yafunye TV okuva mu Gayaza electronics (GETS).

Abayimbi baacamude abantu wamma olunaku ne luwooma ng’eno abawagizi ba Bukedde bwe basala obukonge mu lupapula lwa Bukedde ku Ssande bwe bajjuzza okwetaba mu kalulu okuwangula ebirabo eby’enjawulo.

Abadigize e Nakivubo nga banekedde mu mijoozi ga Karibu Waragi.

Bukedde nga bw’azze amenya likodi ez’enjawulo ne ku luno yatuusizza obweyamo n’awa abawagizi byonna bye yasuubiza ne watasigala alimu kakunkuna.

Abagoma nga banyumye mu mijoozi egyaweereddwayo aba kkampuni ya Century Bottling Company abakola Stoney.

Kyaka okuwangula ekigwo yalemaganye ne Lubinga mu kumeggana olwo abasazi ne bagaba bubonro Kyaka n’awangula Lubinga ku bugoba 9 ku 8.

Luno lwe lunaku Bukedde Fa Ma Embuutikizi eyategese ekivvulu kino kwe yajaganyirizza okuweza emyaka 4 ng’eweereza ku mpewo.


 

Leilah Kalanzi Kacapizo ng’alamusa Sipiika. Ku kkono ye mukyala wa Sipiika, Hajji Busagazi, Abbey Kibirango ne Bills Butoddene aba Bukedde Fa Ma.

Sipiika wa Buganda Kaddu Sserunkuuma ng’awuubira abantu mu Mbuutu y’Embuutikizi e Nakivubo ku Ssande.

Hellen Nakacwa owa Bukedde Fa Ma (ku kkono) ne Jajja Mwami, Flavia Namulindwa owa Bukedde Ttivvi.

Loodi Meeya Erias Lukwago ng’attunka ne Bills Butoddene owa Bukedde Fa Ma.

 

Abamu ku bawagizi ba Bukedde e Nakivubo.

Abawagizi b’ekigwo nga bacamuse.

Lubinga ng’alaga pikipiki gye yawangudde eyaweereddwaayo aba DURA Motors . Ku ddyo ye kitunzi wa Vision Group, Susan Nsibirwa.

Kyasusse; Embuutu y’Embuutikizi ecamudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abapoliisi nga baggya ente mu mmotoka mwe yabadde eteereddwa okukusibwa.

Poliisi ebasuuzizza mmotoka...

ABASAJJA basatu abateeberezebwa okubeera ababbi b’ente baakiguddeko bwe beesanze ng’ekkubo lye babadde bakutte...

Ennyumba ya Nakiberu  eyakoneddwa.

Bakanyama bakoonye enju y'o...

OMUTUUZE ali mu maziga oluvannyuma lwa bakanyama okukkakkana ku mayumba ge ne bagamenya n’okwonoona ebintu bye...

Batwala ng’alaga ennyumba ye eyatundiddwa.

Omupangisa atunze ennyumba ...

Ssentebe wa disitulikiti alumirizza omupangisa okutunda ennyumba ye gy’abadde yamupangisa era olumaze n’asibamu...

Ttakisi yasibidde ku mulyango gwa ssomero.

Babiri bafi iridde mu kaben...

ABANTU babiri baafi iriddewo n’abalala musanvu ne batwalibwa mu malwaliro ag’enjawulo nga bafunye ebisago, ttakisi...

Eby'omulambo gwa Looya eyaf...

Bya Stuart Yiga OMULAMBO gwa munnamateeka Bob Kasango eyafiiridde mu kkomera e Luzira ku Lwomukaaga oluwedde...